TOP

Aba tena baagala kutaasa kya East Africa

By Silvano Kibuuka

Added 2nd March 2020

Aba tena baagala kutaasa kya East Africa

Ten1 703x422

EMPAKA za ttena eziri ku mutindo gw’ensi yonna ogwa International Tennis Federation (ITF) zitandika nkya e Lugogo nga zakwetabwamu amawanga mukaaga.

Bamusaayimuto abali wansi w’emyaka 12 be bagenda okusindana mu bawala n’abalenzi okunoonya abawanguzi abanaakiikirira East Africa mu mpaka za Africa yonna ezigenda okubaawo mu September.

Empaka zino za mulundi gwakuna okutegekebwa nga Uganda ye yawangula ez’omwaka omwaka oguwedde mu bawala ate abalenzi ne bakwata kyakubiri mu nsitaano eyali e Nairobi mu Kenya.

Uganda ekiikiriddwa abazannyi abawala, Charity Akot, Eseza Muwanguzi, ne Edna Nabiryo ate abalenzi ye Juius Nyaata, Nasser Ochom ne Francis Agonzibwe.

Ebazannyi bavudde mu mawanga okuli Kenya, Burundi, Tanzania, Ethiopia, Seychelles ne Sudan nga ttiimu eneewangula mu balenzi wamu n’ebbiri ezinaawangula mu bawala ze zigenda okuvuganya mu mpaka za Africa yonna mu September.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....