TOP

YMCA ezze kwesasuza St lawrence mu za University liigi

By Gerald Kikulwe

Added 4th March 2020

YMCA ezze kwesasuza St lawrence mu za University liigi

Sit112 703x422

Mu Pepsi University League

YMCA – SLAU(Leero Lwakusatu)

Bugema – Gulu(enkya Lwakuna)

OKUDDA kw’abasambi basatu ku ttiimu ya St.Laurence University(SLAU) kuwadde omutendesi Davis Nnono amaanyi g’okufuna obuwanguzi obwokubiri obw’omuddiring’anwa mu liigi ya yunivasite sizoni eno.

SLAU eyakubwa UCU ku fayinolo omwaka oguwedde, yakubye Bishop Stuat Univasity(BSU) 4-1 mu gwagguddewo sizoni nga terina Bruno Bunyaka, Umar Kayemba ne Isiah Ssabbiiti abakomyewo okuva mu buvune.

Leero(Lwakusatu) bakyalidde YMCA ku kisaawe ky’e Buwambo nga baagala kufuna buwanguzi bwakubiri sizoni eno okutangaaza emikisa gy’okuva mu kibinja D. Baakasisinkana emirundi ena, SLAU ewanguddeko esatu n’amaliri ga mulundi gumu.

“Neeyongedde amaanyi olw’abazannyi bannge abawonye obuvune,okusobola okuva mu kibinja tetwagala kusuula yadde akabonero, gyonna twagala busatu era olwa leero zinadda okunywa,” Davis Nnono atendeka SLAU bwe yategeezezza.

Ate Dancan Bwabye atendeka YMCA naye awera nga bw’alina ebbanja ku SLAU nti tagiwangulangako okumala sizoni bbiri emabega. “SLAU yatumannyiira nnyo sizoni ewedde bwe yatukubira awaka ne kubugenyi (2-0),era twagala kubeesasuza,” Bwabye bwe yakkaatirizza.

Simon Tabu Orem, Tito Ssematimba ne Mark Nsubuga aba SLAU balwadde ate Rashid Mbahabwe owa YMCA naye mulwadde.

SLAU y’ekulembedde ekibinja D n’enjawulo ya ggoolo 3 z’esinza YMCA gye benkanya obubonero(3).  

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’