TOP

'Nja kudda na nkuba mpya'

By Musasi wa Bukedde

Added 12th March 2020

'Nja kudda na nkuba mpya'

Tap17 703x422

Chelangat lwe yawangula omudaali.

Byas Nsubuga Micheal

OMUDDUSI wa Uganda, Marceline Chelangat asuubizza okudda n'amaanyi, oluvannyuma lw'okuzaala.

Ono yawangulira Uganda omudaali ogw'ekikomo mu mizannyo gya Commonwealth egyali mu Australia mu 2018. Omwaka oguwedde, Chelangat yazadde omwana omulenzi kyokka bannabyamizannyo abakazi abamu bwe bazaala, batera okuddirira.

Wabula Chelangat agumizza abawagizi be n'agamba nti ye waakudda nga yeetegese asingeko ne bwe yali. "Okulabirira omwana si kwangu naye nnyambiddwaako maama ne nfuna obukugu," Chelangat bwe yategeezezza n'ayongerako nti omwana we awezezza emyezi 8 nga bw'anaakoona omwaka, waakumulekera nnyina, addemu okudduka akakase nti akyali kalaso.

Chelangat yasangiddwa Kapchorwa, awaabadde emisinde gy'okutongoza enteekateeka za ttiimu ya Uganda egenda mu Olympics. Stephen Kiprotich naye eyabaddeyo, yagambye nti asuubira Uganda okuwangula emidaali egitakka wansi w'etaano mu Olympics

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...

1bc8d9398e5f4a07a3307fdfeb1d90ad 220x290

Kasujja omukulu w'ekika ky'Engeye...

OMUTAKA Hajj Mohamood Minge Kibirige Kasujja abadde akulira ekika ky’engeye obulwadde bwa sukaali ne puleesa bimugye...

Mkncov11 220x290

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira...

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira abateeberezebwa okuba ne Coronavirus

414009d1dd2349e0bd6b4678886a42d21 220x290

Kabaka awaddeyo obukadde 100 okuyamba...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II addukiridde Bannayuganda n’obuyambi obw’enjawulo obubalirirwa obukadde 100 ng’ensimbi...

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi