TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Emipiira gya CAF okuli n’ogwa Cranes giggyiddwaawo: Coronavirus abizadde

Emipiira gya CAF okuli n’ogwa Cranes giggyiddwaawo: Coronavirus abizadde

By Musasi wa Bukedde

Added 15th March 2020

ABAKULIRA omupiira mu Afrika, aba CAF, baggyewo emipiira gyonna egibadde egy’okubaawo wiikendi ejja oluvannyuma lw’ekirwadde kya ssennyiga w’e China okusensera ensi yonna.

Kona 703x422

Onyango (wansi) ng’anyize ennyanda ya Zimbabwe mu mpaka za Afrika ezaali e Misiri omwaka oguwedde.

Cranes, ebadde yaakuzannya South Sudan nga March 28 kyokka kino tekikyabaddewo nga CAF yaakulangirira olunaku olulala emipiira gino lwe gigenda okubeerawo.

“Twekkennenyezza buli kimu, twogerezeganya bulungi n’ekibiina ekikulira eby’obulamu mu nsi yonna (World Health Organisation) era tukizudde nti embeera eri mu nsi yonna tetusobozesa kutegeka mipiira wiikendi ejja,” Ekiwandiiko ekyateekeddwaako omukono akola nga ssaabawandiisi wa CAF, Abdel Bah, bwe kya nnyonnyodde.

CAF egamba nti kiraabu nnyingi zigaanyi abazannyi baayo okuvaayo mu kiraabu olw’ekirwadde, nnyingi ku nnyonyi tezikyatambula ate abazannyi baffe abasing bava mu gamu ku mawanga agasumbuyiddwa ennyo ekirwadde kino.

Empaka nnyingi mu nsi zonna zigenze zongezebwawayo olw’ekirwadde kino.

ABAZANNYI BAABADDE BAAGAANIDDWA:

Kino we kituukiddewo ng’abazannyi ba Cranes bali mu mawanga agalimu akawuka ka coronavirus babadde bagaaniddwa okujja oluvannyuma lwa Minisita w’ebyobulamu, Jane Ruth Aceng okuyisa ekiragiro ku Lwokuna nti tewali muntu agenda kuddamu kuyingira Uganda ng’ava mu nsi 9 okumala ebbanga eritali ggere wadde nga Munnayuganda oba mugwira.

Yannyonyodde nti amawanga okuli; Spain, Yitale, Bufalansa, China, San Marino, South Afrika, Belgium, Amerika, Budaaki, Sweden, Norway, Iran, Austria, Malaysia ne Bungereza.

Kino kitegeeza nti abazannyi ba Cranes mukaaga nga bakulembeddwaamu kapiteeni waayo Denis Onyango (South Afrika) babadde si baakukkirizibwa kuzannya gwa South Sudan. Onyango ne Moses Waiswa bali South Afrika, Mike Azira (Amerika), Ronald Mukiibi ne Alexis Bakka (Sweden) Elvis Okello Bwomono ne Jayden Onen (Bungereza).

“Ekiragiro kino tekitaliza muntu yenna kasita abeera ng’ali mu mawanga ago era tulina okukigondera okutuusa ng’ekirwadde kino kiweddewo,” Minisita Aceng bwe yagambye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Masese11 220x290

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde...

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde wansi ebikola

Mabikengaanyonyolaabakampuniyacceccabakolaoluguudolwabusegampigi 220x290

Kkampuni y'Abachina esenze ebirime...

ABAKOLA oluguudo lwa Busega – Mpigi basenze ebirime by'omutuuze n'alaajanira UNRA okumuliyirira.

China1 220x290

Abachina abaakwatiddwa babagguddeko...

POLIISI yakwongera emisango emirala ku Bachina abaatwaliddwa mu kkooti ku Lwokutaano ne basindikibwa e Luzira....

Kangaliyapoliisingaesazeekoekigokyempigiewabaddemmisa 220x290

Poliisi eggalidde Faaza lwa kujeemera...

POLIISI esazeeko Faaza Kiibi ng'akulembeddemu mmisa mu Klezia y'ekigo ky'e Mpigi n'emukwata n'atwalibwa ku poliisi...

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo