TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Engeri eby'obulamu gye bigenda okunywezebwamu ku misinde gya Kabaka

Engeri eby'obulamu gye bigenda okunywezebwamu ku misinde gya Kabaka

By Dickson Kulumba

Added 16th March 2020

Engeri eby'obulamu gye bigenda okunywezebwamu ku misinde gya Kabaka

Tap2 703x422

ABATEGESI b’emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka bafulumizza enteekateeka mwe bagenda okuyita okunyweza eby’obulamu lweginabeerawo nga April 5,2020 mu lubiri e Mmengo.
 
Bwabadde ayogerako ne Ronald Kawadwa nga y’akulira Majestic Brands,ekitongole ekivunanyizibwa ku nteekateeka y’emisinde gino ategeezezza nga bwebali mu kwogerezeganya n’ebitongole by’ebyobulamu mu ggwanga okulaba ng’abantu bayita bulungi mu misinde gino.
 
“Tugenda kufuna Ebimmotoka bya UNRA ebiyiwa amazzi amangi kisobozese abantu bangi abajja nga basobola okunaaba ebitundu by’omubiri byonna,okukuuma obuyonjo,” Kawaddwa bweyategezezza.

Katikkiro Charles Peter Mayiga ku ddyo, akulira ba kitunzai ba Vision group mukyala Muttu n'omukyaka w'atuukirwako amawulire mu lupapula lwa Bukedde

 
Emisinde gino giwagirwa Bukedde afulumizibwa Vision Group,Airtel, DFCU Bank,emikutu gy’Obwakabaka egy’empuliziganya,Events warehouse ne bannamikago abalala n’ekigendererwa ky’okukwatira ku Bwakabaka okubunyisa amawulire n’okulwanyisa obulwadde bwa mukenenya obufuuse ekyonga.
 
Mu ngeri y’emu bakolaganye ne minisitule y’ebyobulamu mu gavumenti eyawakati ng’eno yawaddeyo abantu 150 abagenda okubeera ku mulimu gw’okuwa abantu obuddagala obwesigwa mu ngalo era mu kaweefube w’okwetangira obulwadde bwa ssenyiga w’e China.
 
“Munda mu Lubiri tugenda kuteekamu weema  omugenda okubeera eddagala erinaweebwa mu ngalo okukuuma abantu nga balamu. Kabuyonjo ezigenda okuleetebwa buli emu twategezeddwa nti erina  okukozesebwa abantu 20 nekiba nga tugenda kuteekawo zi kabuyonjo 300,” Kawaddwa bweyanyonyodde.
 
Guno gugenda kubeera mwaka gwa musanvu ng’emisinde gino gitegekebwa era okugyenyigiramu ku mulundi guno omujoozi n’ebigenderako bigulibwa 15,000/- era nga gisangibwa e Bulange- Mmengo,ku kitebe kya Vision Group mu kibangirizi kya bannamakolero,amadduka ga Airtel okuli eriri ku Thoban Centre ku luguudo Kampala,Ben Kiwanuka n’amalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...

1bc8d9398e5f4a07a3307fdfeb1d90ad 220x290

Kasujja omukulu w'ekika ky'Engeye...

OMUTAKA Hajj Mohamood Minge Kibirige Kasujja abadde akulira ekika ky’engeye obulwadde bwa sukaali ne puleesa bimugye...

Mkncov11 220x290

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira...

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira abateeberezebwa okuba ne Coronavirus

414009d1dd2349e0bd6b4678886a42d21 220x290

Kabaka awaddeyo obukadde 100 okuyamba...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II addukiridde Bannayuganda n’obuyambi obw’enjawulo obubalirirwa obukadde 100 ng’ensimbi...

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi