TOP

Corona Virus ereeseewo okutya mu nkambi y'okubaka

By Musasi wa Bukedde

Added 18th March 2020

Corona Virus ereeseewo okutya mu nkambi y'okubaka

Hot1 703x422

Bya Gerald Kikulwe

EKIBIINA ekifuga omuzannyo gw’okubaka mu ggwanga ekya Uganda Netball Federation(UNF) kifunye okwekanga oluvannyuma lwa Kenya okulangirira nga bw’etegenda kwetaba mu mpaka za East African Club Championship.

Uganda be bategesi b’empaka zino era nga zisuubirwa okubeera mu MTN Arena e Lugogo ku wiikendi eno,zaakwetabwamu ttiimu empanguzi ku lukalu lw’obuvanjuba bw’Afrika(Kenya, Tanzania, Zanzibar ne Uganda).

Olw’ekirwadde kya Coronavirus, Kenya yavudde mu mpaka zino ekireeseewo obweralikirivu eri abategesi nti n’amawanga amalala gandyefuula ne gatajja ekiyinza okubayingiramu kuba babadde bamaze okusasula buli ekyetaagisa empaka zino okuzannyibwa.

Wilberforce Mutete ayogerera ekibiina ky’okubaka mu ggwanga agamba nti enteekateeka zonna zibadde ziwedde wabula bali mu kutya ssinga empaka zino tezibaawo okuva Kenya bw’evuddemu.

 

“Bulijjo ensi emu bw’evaamu tekigaana ndala kuzannya, naye obweraliikirivu we buli, n’abalala bayinza obutajja, naye ttiimu zaffe zigenda mu maaso n’okutendekebwa,” Mutete bwe yategeezezza.

Agattako nti eggulo(Lwakubiri) yasobodde okwogerako  ne ssaabawandiisi wa Zanzibar ku ssimu n’amugamba nti nabo tebamanyi oba banajja naye nga ttiimu zaabwe ziri mukutendekebwa .

“Ttiimu zonna tuzisuubira okuba nga zituuse wano obutasussa Lwakutaano, bwe lunaazibira enkya(Lwakuna) tujja kuba tumanyi ekituufu.

Ttiimu za Uganda okuli; KCCA, Police, UPDF, Prison ne NIC abalina ekikopo kinoze zisuubirwa okwetabamu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...

1bc8d9398e5f4a07a3307fdfeb1d90ad 220x290

Kasujja omukulu w'ekika ky'Engeye...

OMUTAKA Hajj Mohamood Minge Kibirige Kasujja abadde akulira ekika ky’engeye obulwadde bwa sukaali ne puleesa bimugye...

Mkncov11 220x290

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira...

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira abateeberezebwa okuba ne Coronavirus

414009d1dd2349e0bd6b4678886a42d21 220x290

Kabaka awaddeyo obukadde 100 okuyamba...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II addukiridde Bannayuganda n’obuyambi obw’enjawulo obubalirirwa obukadde 100 ng’ensimbi...

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi