TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Ibrahim Kirya olwazzeeyo ku butendesi bw'essaza lwa Gomba na'wera

Ibrahim Kirya olwazzeeyo ku butendesi bw'essaza lwa Gomba na'wera

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd April 2020

Ibrahim Kirya olwazzeeyo ku butendesi bw'essaza lwa Gomba na'wera

Kat1 703x422

Bya Gerald Kikulwe

OMUTENDESI Ibrahim Kirya azzeeyo mu ssaza ly’e Gomba n’awera nga bw’azze n’obukodyo obupya okubawangulira ekikopo kya Airtel Masaza Cup eky’omulundi ogwokutaano mu byafaayo okuva 2004.

Ku wiikendi omukungu wa Ssaabasajja ow’essaza ly’e Gomba,Celestino Jackson Musisi yayungudde olukiiko lw’abantu 32 abagenda okuyambako essaza lino okusitukira mu kikopo era ng’omutendesi wa SC Villa Kirya ye yalangiriddwa okutwala ttiimu y’essaza mu maaso.

Kirya yaliko omutendesi ku ssaza lino mu mwaka gwa 2018 era n’abakomya ku ‘quarter’ wabula ku luno agamba nti omupiira kati gukyuse era naye azze na nkuba mpya yaakuwangula kikopo sizoni eno.

“Omupiira gukyuka buli kadde era ng’omutendesi olina okutambula n’omulembe, nsuubira nga Gomba egenda kuba ya njawulo era n’ekikopo tukisuubira,” Kirya bwe yategeezezza.

Kirya azze mu bigere by’omuzungu Omer Selli eyakwatibwa ku nkoona oluvannyuma lwa sizoni ewedde olw’omutindo ogw’ekiboggwe nga newankubadde endagaano yali ya myaka ebiri.

Abalala abaalondeddwa kuliko;Mansoor Kabugo(Ssentebe),Jafari Kalule(Maneja), Sam Rwakoojo(omuyima),Gerald Byansi, Robbina Rwakoojjo(muwanika), Rogers Yiga, Robert Barigye(muwandiisi), David Isabirye(w’amawulire), Mohammed Ssali, Bashir Musoke Nsubuga, Eric Tusabe, Rev. Wilberforce Ssekasiko, Latif Lubega, Kalebu Ssonko, Amina Nabiddo, Issa Ssemanda n’abalala.

Gomba be bakyasinze okuwangula ekikopo ky’amasaza ga Buganda emirundi ena (2004, 2009, 2014 ne 2017).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabakafitri1 220x290

Kabaka ayagalizza Abasiraamu Idd...

KABAKA Ronald Muwenda II alagidde Bannayuganda okukuuma emirembe n’okusonyiwagana mu kiseera kino ng’Abasiraamu...

Mknded4 220x290

Famire eziyiridde mu nnyumba nga...

Abasiraamu mu kibuga ky’e Mukono baaguddemu encukwe ku Iddi munnaabwe eyabadde akedde ku maliiri okufumba emmere...

Mknmm3 220x290

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa...

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa Mukono ng’alina Corona virus-atwaliddwa mu kalantiini n’abalala babiri be...

Ssaavasennyonga 220x290

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere...

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere ya bukadde 300 okudduukirira abali ku muggalo

Lockdown309 220x290

Eyali awola ssente azzeeyo mu nnimiro...

ENSWA bw'ekyusa amaaso naawe ng'envubo okyusa ne Charles Tamale envubo agikyusirizza mu nkumbi okubaako ettofaali...