TOP

Okwo kuwemula Kabaka

By Musasi Wa

Added 6th January 2009


Nkoyoyo yagambye nti abantu okusindira omukwano mu Lubiri tekikoma ku kukontana na byabuwangwa n'empisa za Buganda n'ezeddiini, wabula kinafuya ne kaweefube gwe baliko ow'okusonda ssente ezikulaakulanya Olubiri.


Nkoyoyo yagambye nti abantu okusindira omukwano mu Lubiri tekikoma ku kukontana na byabuwangwa n'empisa za Buganda n'ezeddiini, wabula kinafuya ne kaweefube gwe baliko ow'okusonda ssente ezikulaakulanya Olubiri.

""Abo abantu bandibadde babakunga kusonda ssente za kuzimba Lubiri. "" Nkoyoyo bwe yagambye.

Eyali Katikkiro Dan Muliika naye yavumiridde ebikolwa by'effujjo mu Lubiri wabula n'agamba nti abantu abatuufu abalina okubinogera eddagala be bakungu Kabaka be yalonda abakulirwa Katikkiro Ying. J.B Walusimbi.Brig. Kasirye Ggwanga eyali ayagala Obwakatikkiro anenyezza abategesi b'Enkuuka olw'okuyingizanga Kabaka mu nteekateeka z'ekivvulu nga tebasobola kukugira bantu kwolesezaamu mayisa ga bugwenyufu. "" Kabaka waffe bamuggye mu bivvulu ebirimu effujjo,"" Kasirye bwe yagambye.

Omusumba David Kiganda eyategese okusaba okwabadde e Nakivubo yagambye nti, ""Kiruma okugoba sitaani mu bantu e Nakivubo ate ng'abali mu Lubiri lwa Kabaka bawa sitaani kyanya yeegazaanyizeemu.""

Yayongeddeko nti: ""Abategesi bwe baba tebasobola kuziyiza bikolwa bya bugwenyufu, babiggyemu Kabaka.""

Mubiru Njuki ow'ekibiina kya Bazzukulu ba Buganda yagambye nti abategeka ebivvulu mu Lubiri bagenderera kusaanyaawo Bwakabaka bwa Buganda, ng'abakitegeka baagala okufunamu ensimbi ze yagambye nti tezimanyiddwa na gye ziraga.
Minisita ow'ebyobuwangwa e Mmengo, Yusuf Nsubuga Nsambu yagambye nti agenda kwebuuza ku bategesi bamunnyonnyole ekyabaddewo, basale

Okwo kuwemula Kabaka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dav1 220x290

Museveni beyakuzizza bambaziddwa...

Museveni beyakuzizza bambaziddwa ennyota zaabwe

Mum2 220x290

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku...

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku kakalu ka kkooti tewayise n'addakiika n'addamu okukwatibwa

Lab2 220x290

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa...

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa alaajanye

Kab2 220x290

Ssewungu akubirizza bannaddiini...

Ssewungu akubirizza bannaddiini okuvumirira empaka

Lwa2 220x290

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo