TOP

Enkwa nzirwanyise ntya mu kiraalo?

By Musasi Wa

Added 25th March 2013

BIKI bye nnyinza okukozesa okulwanyisa enkwa?

2013 3largeimg225 mar 2013 091827187 703x422

 

 

 

 

BIKI bye nnyinza okukozesa okulwanyisa enkwa? Joan Nakitende, Luweero

1. Bwe zitaba nnyingi oyinza okuzikongola n’engalo n’ozookya. Kino kirumya ente n’okwonoona eddiba.

2 . Okukkiriza ennyonyi ennyange mu ddundiro okulya enkwa. Bwe ziba nnyingi;

3 .Fuuyira enkwa ng’okozesa eddagala eritabuddwa ng’ogoberera ebiragiro ebiri ku ccupa oba omukebe gwa kkampuni ekola eddagala. Abalunzi abakozesa ennunda ekuuma obutonde beekolera eddagala okuva mu bimera n’ebintu ebirala lye bafuuyiza enkwa

4 .Teeka eddagala eritta enkwa ku mugongo gw’ente. Obungi bw’eddagala bw’okozesa businziira ku buzito bw’ente.

5 .Okunnyika ente mu kidiba omuli eddagala eritta enkwa. Kakasa nti eddagala lirina obuka obutuufu era nga liita z’amazzi g’otaddemu ntuufu. Singa ebipimo bikyamu enkwa ziyinza obutafa oba ente okufuna obuzibu.

6 .Weewale ensiko okumpi n’ekiyumba mw’olundira ente. Enkwa eziruma emmese, eminya, amakonkome n’ensolo endala ez’omu nsiko ze zimu n’ezo eziruma ente.

7 .Omulunzi ebiseera ebisinga akozesa enkola esukka mu emu okwewala enkwa. Okunnyika ente ye nkola essinga okubunya eddagala erifuuyira ku mubiri gw’ente ate era ekekkereza eddagala.

Enkwa nzirwanyise ntya mu kiraalo?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Uni 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUNA AKULEETEDDE...

Bobi Wine olusimbudde okuva mu Amerika, abawagizi be ne batandikirawo okujeemera poliisi. Amagye gakutte owa Flying...

Abanywarwanda basabye Kabaka ettaka,...

ABANYARWANDA ababeera mu Uganda basabye Kabaka asiime abawe ettaka Ssekabaka Muteesa II lyeyali abawadde e Kibuye...

Fortunessentamu2 220x290

Abagwira 6 bakuvuganya ne Bannayuganda...

Laawundi y'empaka za ddigi eyoomukaaga ku kalenda ya Uganda yakwetabwaamu abagwira 6.

Kkooti zonna zaakujjukira Benedicto...

Mu 1972 abajaasi ba Amin baalumba Benedicto Kiwanuka mu ofiisi ye ku Kkooti Enkulu ne bamuwalawala mu kifo ekitaategeerekeka...

Omwanangasenaamazzikuluzziwebusemwana 220x290

Ab'e Birinzi balindiridde kulwala...

Kaabuyonjo ze tusima mu musenyu okw'enkuba zibooga kazambi n'ajjula enju zaffe