TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • ‘Kooko gwe tulima nga famire atunaazizzaako ennaku’

‘Kooko gwe tulima nga famire atunaazizzaako ennaku’

By Edward Sserinnya

Added 11th January 2016

OKULIMA kooko mulimu ogukutte akati ensangi zino naddala mu Disitulikiti y’e Mukono ne Kayunga.

Lima1 703x422

Namulindwa g’ayanjala kooko gw’akaza mu musana.

OKULIMA kooko mulimu ogukutte akati ensangi zino naddala mu Disitulikiti y’e Mukono ne Kayunga. Mu bitundu ebimu e Mukono batandise n’okutema emmwaanyi nga basimba kooko nga bagamba kati y’aliko ebifuna.

Kkampuni z’ebweru ze zisinga okumugula ne bagenda ne bamukolamu ebirungo ebigenda ku caayi n’obuwoowo obulala.

Zam Mulindwa gwe twayogerako naye gye buvuddeko ku nnima ya kooko agamba nti; Amulimira ku kyalo Lusera Omuluka gw’e Kitale, ggombolola Namuganga mu Disitulikiti y’e Mukono. Kooko tumulima nga famire, era tulina kooko ku bugazi bwa yiika 20, ennimiro yonna ejjudde kooko.

Okulima kooko twakutandika mu 2003, ensigo twazifuna okuva mu NAADS. Emabegako twali tetumanyi Kooko, era bwe baatandika okumusomesa olwo ne tumuyiga era omulmisa Henry Lwanga ye yatuyigiriza okukola nassale n’okulima Kooko.

OKUKOLA NASSALE

Ofuna obuveera sayizi ennene, n’oteekamu ettaka eriddugavu nga liyiikayiika nga singa oba oluddewo okufukirira terikwata kutta nsigo. Awo ekiddako kuba kufuna mabeere ga kooko agasobola okukola ensigo ennungi ate ng’ekuze.

 am amulindwa ngasalira kooko Zam Namulindwa ng’asalira kooko.

 

Gisimbemu ng’ogyebasizza, ejja kusobola okukuba emirandira n’okwenoonyeza ekkubo Wabula tosimba wala nnyo, otakulako katono kuba bw’ogiteeka wansi ezimu zigaana okumera ate bw’oba okuba ettaka tolina kulikkatira kukwata mu kaveera.

Oluvannyuma lwa wiiki bbiri ensigo eba emeze, olwo otandika okugirabirira ng’ofukirira nga buli luvannyuma lwa nnaku ssatu oba ofukirira naye olumu kisinziira ku mbeera y’obudde. Mu nassale ejja kumalamu emyezi esatu eba etuuse okusimbulizibwa.

Mu kusimbuliza osima ekinnya ekya ffuuti bbiri ku bbiri obuwanvu n’obugazi bw’oba olina ebigimusa oyinza okuteekamu ng’obusa oba nnakavundira naye bw’oba nga tolina ate nga n’ettaka ggimu osimbirawo.

Okuva ku kinnya okutuuka ku kirala olekawo ffuuti 10 ku 10, mu kinnya zzaamuuko ku ttaka eriddugavu. Oluvannyuma ggyako akaveera, labirira mu ndabirira eya bulijjo okukuuma nga temuli muddo era oluvannyuma lw’emyaka ebiri n’ekitundu ku esatu ku ttaka eggimu oba onogako kooko.

Ebbeere kasita liteekako, limala emyezi mukaaga ne likula n’oba ng’osobola okunoga n’okulya.

OKUKUNGULA N’OKUTUNDA

Kasita onogako ebbeere erikuze era likyusa langi ne lifuuka erya kyenvu. Okikoona n’oggyamu ensigo n’ekitima tebakitwaliramu batwala nsigo zokka. Wabula ekirungi ekibaawo, amabeere ago omuva kooko ate osobola okugakozesa mu nnimiro kubanga gavunda mangu olwo ne kifuuka ekigimusa.

 amulindwa ngalaga bwosimbuliza endokwa ya kooko Namulindwa ng’alaga bw’osimbuliza endokwa ya kooko.

 

OKUSOOMOOZEBWA

Twagala waakiri okufunayo akuuma akasaawa omuddo kubanga kooko ne bw’oba nga tomulimyemu naye ng’olima ku kikolo kyokka kyanguwa kubanga okendeeza ku bakozi okutwala ssente ennyingi.

Okufuna bbomba efuuyira, ey’amasannyalaze ng’esobola okukuba waggulu mu makoola ga kooko bw’aba awanvuye ne kiba nga kimuyamba obutakwatibwa buwuka.

OKWANIKA N’AKATALE

Jonathan Mukoomya, akulira ebyensimbi mu kkampuni ya ESCO Uganda Ltd ku ttabi e Ntenjeru agamba: Awo ekiddako kuba kumwanika, oyinza okutunda omubisi oba omwanike wabula kkampuni ntono ezigula omubisi.

Kasita omala okumukungula n’ofunaamu ensigo awo ekiddako kumubikkira mu bibookisi n’akenenuka ssupu, okutta akatima akamera, okukyusa langi n’okukola akawoowo ka cokoleeti.

Oluvannyuma lwa wiiki emu olwo n’olyoka omuteeka mu musana, oyinza okwanika mu kasana oba mu dulaaya wabula olw’okuba kooko kyakulya talina kwanikibwa ku ttaka, alina kubeera ku bitandaalo oba ku matundubaali ate nga biyonjo. Wano abalimi abamu we basuulira obubonero ne batta omutindo gwa kooko.

Mukoomya ayongerako, mu kiseera kino kkiro enkalu eya Kooko egula 8,000/-okuva ku mulimi.

Ekirungi ekiriwo kati, Gavumenti nayo erabye obulungi bwa kooko era eyongeddemu amaanyi mu kukubiriza abantu okumulima nga mu mwaka oguwedde esobodde n’okugabira abalimi endokwa ne bongera okumusimba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kap1 220x290

Abadde yefuula omusawo n'abba abalwadde...

Abadde yefuula omusawo n'abba abalwadde mu ddwaliro Poliisi emukutte

Jingo1 220x290

Embaga za ba ssereebu; Eya Rebecca...

BW’OBALABALAMU embaga za basereebu, eya Joel Isabirye ne Rebecca Jjingo yekyasinze okumenya likodi.

Mentees4webuse 220x290

Abawala abazaala nga tebanneetuuka...

Abazaala nga tebanneetuuka e Kamuli basomeseddwa emirimu eginaabayamba okulabirira abaana ababazaalamu be babalekera...

Blick002 220x290

Blick ayagala kuwangula mpaka z'e...

Blick agamba nti ssinga awangula empaka z'e Hoima, kyakutangaaza emikisa gye egy'okusitukira mu ngule y'eggwanga...

Rdcwemukonokuddyofredbamwinengakwasageorgentulumeekirabokyesaawaekyamuweereddwaokumwebazaolwemirimugyewebuse 220x290

Ab'e Mukono baanirizza CAO ne RDC...

Ekitebe kya disitulikiti y’e Mukono kyanirizza CAO omuggya ssentebe wa LC V n'amulabula obuteesembereza ba ng’ambo...