TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Engeri gy’oyinza okulima nga tofuuyiddeEngeri gy’oyinza okulima nga tofuuyiddeEngeri gy’oyinza okulima nga tofuuyidde

Engeri gy’oyinza okulima nga tofuuyiddeEngeri gy’oyinza okulima nga tofuuyiddeEngeri gy’oyinza okulima nga tofuuyidde

By Ruth Nazziwa

Added 11th January 2016

Abalimi 35 abeegattira mu kibiina kya Save the Rural Out of Poverty International (SROP)baalambudde bannaabwe e Rwanda ne bayigayo engeri gy’olima nga tofuuyidde.

Okulima1 703x422

Omulimi ng’alaga ettaka ly’amaze okufumbako eddungi okulimirako enva endiirwa.

Ennaku zino kizibu okulima n’obaza ebirime nga tobifuuyidde. Embeera eno etadde obulamu bw’abantu bangi ababirya mu matigga ne bafuna n’ebirwadde bye baali batafuna.

 

Eno y’emu ku nsonga lwaki amawanga mangi mu Bulaaya ne Amerika gaawera ebirime ebimu okuva mu Afrika kubanga babisangamu eddagala ery’obulabe.

 

Abalimi 35 abeegattira mu kibiina kya Save the Rural Out of Poverty International (SROP)baalambudde bannaabwe e Rwanda ne bayigayo engeri gy’olima nga tofuuyidde.

 

Sam Ssegirinya, ssentebe w’ekibiina kino agamba nti kino baakikoze okwongera okwagazisa bammemba b’ekibiina ennima eyomulembe n’okuyiga okulima nga tebafuuyidde.

 

Abalimi e Rwanda bassaawo enkola ey’okulima nga tofuuyidde gye bayita “SMART horticulture". Prosper Mulindwa, amyuka meeya w’ebyenfuna n’enkulaakulana mu kitundu ky’amambuka ga Rwanda mu disitulikiti y’e Rulindo agamba nti abalimi bafuna mu bulimi nga balimira mu kifo ekitono kyokka ne bafuna kinene.

 

Jean Claude Ruzibiza, nnannyini Rwanda Best Farm esangibwa e Rulindo agamba nti ku ffaamu eno okuggyako okulima n’okulunda, batendekerako abantu ennima eyomulembe.

 

“Natandika n’enkoko 100 ez’amagi mu 1998, bwe nagenda nkuguka, kwe kuteekawo ejjalulizo nga buli mulundi ekyuma kyalula obukoko 4,600 omulundi gumu ez’amagi n’ennyama. Nnina obusobozi obwaluza buli mwezi.

 

Bwe nakizuula nga kalimbwe waazo akola bulungi ng’ekigimusa ky’ettaka, kyampaliriza okutandika okulima. Nnima kasooli, obutungulu, doodo, ebitooke, kaamulali, emboga, ccukamba, beetroot n’ebirala bingi.

 

Emmere

 

Emmere y’ebisolo n’enkoko nga kasooli tugyerimira ku ffaamu olwo bye twongeramu ne mbigula mu katale.

 

Mu Uganda ngulayo mukene, cotton Seed cake, obusonko, sunflower cake ate ebirala mbigula Kenya oba mu Budaaki.

 

Bino byonna mbikolera ku bugazi bw’ettaka bwa yiika musanvu.

 

Bwe nnakyalirako bannange bwe tuli mu mulimu guno ne nkizuula ng’ate bo balimira mu biyumba. Nagenda okukyetegereza nga  nafirwa dda,  kubanga bw’olimira mu kiyumba (green house), okozesa amazzi matono ate olima sizoni ku sizoni. Enkola eno nnagitandika era ennyambye nnyo.”

 

Bw’otegeka ettaka mu ngeri y’obutonde

 

Baptiste Tuyishimire, omukugu mu kwekenneenya ebirime (agronomist ) okuva ku ffaamu ya Rwanda Best Farm agamba nti bw’oba ogenda okulimira mu “Green house” sooka okuteeketeeka ettaka mw’ogenda okusimba ebirime byo.

 

“Tufuna ettaka eddungi ne tulitabula wamu n’obukuta bw’omuceere oba obwa kooko lisobole okukola obulungi n’oluvannyuma ne tulifumba ku kyuma okuta obuwuka.

 

Obukuta bw’omuceere bwe businga obulungi, tebwekwata ekiziyiza okusikiriza obuwuka.

 

Ettaka n’obukuta birina okuba nga byenkanankana mu bipimo (1:1).

 

Bwe tumala okupima ettaka, tupima ebidomola by’amazzi mwenda (9) ne tugateeka mu ppipa y’amazzi ey’ebidomola 10.

 

Ttanka eno eyungibwako payipu empanvu eyakula nga wuuma ate ng’ebigalo byayo birimu obutuli. Kuno kwe tuyiwa ettaka lye yugenda okufumba n’oluvannyuma ne tulibikkirako awo obutayisa mukka .

 

Tufumba mazzi, omukka oguvaamu ne guyita mu payipo ne gufumba ettaka ne gutta obuwuka.Ettaka lino lifumbibwa okumala essaawa bbiri, lirinde liwole lyokka n’oluvannyuma olipakire mu bukutiya olitereke mu kifo ekiyonjo muleme kuyingiramu buwuka .

 

Ebiwuka mu nnimiro

 

William Muchana, eyeebuuzibwako ku birime agamba nti ebirime ebitali bifuuyire biri ku ttunzi era kisoboka okulima nga tofuuyidde ng’okozesa sitiika eza langi ez’enjawulo ezikwata ebiwuka.

 

Obupapula buno buteekebwa mu nnimiro mu langi ez’enjawulo era nga buli langi erina ekika ky’ebiwuka kyesikiriza.

 

Sitiika zino ziriko gaamu, singa akawuka kagwako, tekavaako , kafiirako kubanga tekasobola kufunirako byakulya.

 

Muchana annyonnyola nti obupapula buno buteekebwa mu nnimiro mu bbanga lya mmita nnya okuva ku buli kimera.

 

Sitiika oba obupapula obwa kyenvu busikiriza obuwuka obweru (white fly oba aphids ) . Obuwuka buno bwe bulya ebikoola ne bifuuka bya kyenvu era ke kabonero k’osooka okulabirako.

 

Ate obupapula obwa bbulu busikiriza obuwuka obuddugavu obuyitibwa (thips ne leaf minor) era ng’obuwuka buno bwe buba bulumbye ebirime, osanga ebikoola nga birimu amakubo gaabwo.

 

“Tukozesa enkwanso (delta trap), akatego kano kko kalimu enkwanso (hormone) efuuwa akawoowo akasikiriza obuwuka obusajja bwokka. Munda mu katego kano mulimu ggaamu, buli kiwuka ekisajja ekiyingirayo, tekisobola kuvaayo . Ekitegeeza nti ebikazi ne bwe bisigala wabweru tebisobola kuzaala biwuka birala ekibiremesa okwala.

 

Amazzi

 

Wadde Ruzibiza agamba nti bali mu kitundu kya nsozi noolwekyo amazzi si kizibu era ye yafuna engeri gy’agalembeka n’agassa mu ttanka.

 

Wabula awa abalimi amagezi okufuna amazzi nga bagalembeka oba okutema emifulejje mu nnimiro zaabwe kubanga bwe gatabaawo olwo nga sizoni efudde.

 

Ku ffaamu ya Ruzibiza kuliko ttaka nnya, buli emu ya ‘cube metre’ 10. “Ttanka zino nziteeka awali ‘green house’ n’ebiyumba by’enkoko ebinene  ate ku “green houses” n’ebiyumba by’enkoko ebitono, we nteeka ttanka entono eza liita 1,200 buli emu,” bw’agamba.

 

Ofunamu otya?

 

“Green house emu erimu ebikolo by’ennyaanya 1000 era nga buli muti gwa nnyaanya ngukungulako kkiro munaana mu myezi mukaaga.

 

Ate emboga ez’ekika kya Gloria F1 buli emu ebeera n’obuzito bwa kkiro musanvu. Nnima n’obutiko nga bukulira mu wiiki, nnina ne ffaamu y’ente. Ninako obulimiro bwe nsomesezaako abayizi, nnima enva endiirwa, ebirungo, ebibala ng’emicungwa n’ebirala nga byonna buli ku bugazi bw’ettaka bwa yiika musanvu.

 

Akatale kange akasooka ke kabuga akanninaanye, era gye nsooka okutunda ebyamaguzi byange ne ndyoka nneeyongerayo.

 

Ngabira supamaketi, ebirabo by’emmere, wooteeri ne mu butale n’amaduuka mu bibuga ebitali bimu mu Rwanda. Buli mwezi , nnyingiza obukadde 24 okuva mu ffaamu eno,” Ruzibiza bw’agamba.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga