TOP

‘Kasooli mmukolamu buwunga bwe ntunda’

By Samuel Balagadde

Added 11th January 2016

Yusufu Lubaale (39), omutuuze w’e Bukuluba mu muluka gw’e Bugenywa mu ggombolola y’e Butansi mu disituliki y’e Kamuli agamba nti okulima kasooli kwamusingira obusomesa bwe yalimu okumala ekiseera mu ssemero erimu mu disitulikiti y’e Mpigi,

Kasooli 703x422

Yusufu Lubaale (owookubiri ku ddyo) alaga ekyuma ekikongola kasooli kye yaguze.

NGA  sizoni  y’okukungula kasooli  ekubye koodi, bangi ku balimi olw’okuba bamaze ebbanga ddene nga tebafuna ate nga n’ebiseera bya fiizi bituuse,   bafa ku kyakufuna nsimbi omutindo  ne bagusuula muguluka.

 

Olwa bbeeyi ya kasooli okuba ng’ekyali wagguluko ate nga n’ebintu ebirala  ebiva ku kasooli omuli obuwunga ne ccacu  eyeeyambisibwa mu kukola emmere  y’enkoko n’ebisolo okuba ku bbeeyi,  bangi ku balimi batandise  okutunda  oyo atannakala bulungi.

 

Kino tekikoma ku kutta mutindo gw'ebyo ebiva mu kasooli   wabula    kitta n’akatale.

 

Yusufu Lubaale (39),  omutuuze w’e Bukuluba mu muluka gw’e Bugenywa mu  ggombolola y’e Butansi mu disituliki y’e Kamuli  agamba nti  okulima  kasooli   kwamusingira  obusomesa bwe yalimu okumala ekiseera mu ssemero erimu mu disitulikiti y’e Mpigi,

 

Agamba bwe yali asomesa  yafunanga ssente  ezitasukka 120,000  wabula nga ku mulimu guno   yagattangako okulima  kasooli  ku yiika ttaano   mwe yasobolanga okuggya  ensawo za kasooli eziri wakati wa 25 ne 30  buli sizoni

 

Lubaale agamba nti oluvannyuma obusomesa yabuvaamu  n’asigalira kulima kasooli ng’amaze n’okutendekebwa engeri gy’alimwamu eyomulembe, engeri ennungi ey’okumukungula n’okumukubamu obuwunga okusobola okwongera ku nfuna ye.

 

Lubaale agamba nti aba Sasakawa Global 200 bwe baamutendeka yayongera  okuganyulwa mu bulimi  kuba    n’obungi bwa kasooli   okuva mu buli yiika bweyongera. Mu kasooli atabikamu ebirime ebirala omuli Ssoya.

 

“Bwe nnatandika okusimba kasooli omulongooseemu, kati buli yiika ya kasooli nfunamu kkiro m 5,200 era sikyajulirira busomesa,”Lubaale bw’agamba.

 

Engeri esinga ey’okungulamu  kasooli

 

Oluvannyuma lw’obungi bwa  kasooli  Lubaale gw’akungula okweyongera   nga kati atuuse mu  kkiro 9,000, yasalawo   okufuna ekyuma ekimukongola.

 

Ekyuma kino yakigula  doola1,429 (5,000,0000/-), akikongoza kasooli owuwe n’ow’abalimi abalala mu kitundu.

 

“Kino kinnyambye okwongera okufuna mu kasooli n’obutakosebwa nnyo bbeeyi ye bw’egwa kuba nze ntunda kawunga,” Lubaale bwe yahhambye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga