TOP

Abaza sizoni y’ennyaanya eya April siga kati

By Edward Sserinnya

Added 18th January 2016

ROBERT Ssenyonga ((0783691700) ow’e Kabuwoko-Masaka ku ludda e Kyotera, yabuuzizza ebikwata ku kulima ennyaanya n’emyezi mw’ayinza okusimbira okufuna akatale akalungi.

Fuka 703x422

Omulimi ng’afukirira ennyaanya eziri mu buveera.

ROBERT Ssenyonga ((0783691700) ow’e Kabuwoko-Masaka ku ludda e Kyotera, yabuuzizza ebikwata ku kulima ennyaanya n’emyezi mw’ayinza okusimbira okufuna akatale akalungi.

Okuva mu September okutuuka ku ntandikwa ya January, ennyaanya ebadde n’akatale akatatera kubeerawo.

Obuzibu bubudde ku musana ogubadde gwaka ennyo abalimi ne balemererwa okulima amangu ate oluvannyuma enkuba n’etonnya nnyo n’etta emisiri gy’abantu abamu era bookisi etambulidde wakati w’emitwalo 20 ku 30 ku mulimi.

Mu kiseera kino ennyaanya yasseemu ebbeeyi ng’obutale obw’enjawulo eguze wakati wa 80,000/- ku 130,000/-.

Okubala akatale kye kimu ku bikyalemesezza abalimi okufuna mu kulima ennyaanya, okuzifunamu kisaanye okubaza sizoni, ennyaanya ezifuna zikungulwa wakati wa March-April ne September- October era bookisi emu mu biseera bino egula wakati wa 150,000/- ne 250,000/-.

Kino kitegeeza nti ggwe anaabaza okufuna mu sizoni ya September-October wandibadde otandika kati okuyiwa beedi.

Ennyaanya za March zifuna nnyo kuba omusana ogwaka mu December ne January bangi abalimi tebasobola kuzifukirira, ate eza October nazo zifuna olw’omusana ogwaka mu July.

Kino kiraga nti ggwe anaalima ennyaanya kati olina okuba omwetegefu okufukirira.

Olw’okuba abalimi baba bamaze okweyiwa mu nnimiro mu March enkuba ng’etandise okutonnya, ggwe ate awo okwatiriramu n’otandika okuyiwa beedi wakati wa May oba ku ntandikwa ya June ate awo ennyaanya ziba wansi.

Kyokka olw’omusana gwa July n’abantu okuba nga baalima eza March nga tebasobola kulabirira nnimiro za njawulo, ennyaanya zaabwe zitandika okukamiza mu July ate mu makkati ga August akatale katandika okulinnya waakiri bookisi n’egula emitwalo 15 ku 17.

Ezo ssente teziba mbi kubanga ennyaanya ezoogerwako ziba za nkuba.

SIZONI Z’ENNYAANYA ZIRI MMEKA?

Kino kirime ky’osobola okukyusa ne kitabaako sizoni singa oba ofukirira ng’ozirimira ebweru oba okulimira mu kiyumba (Green House).

Wabula nga bw’olaba ebijanjaalo singa oba ozirima kwa nkuba, bw’osimba mu March oba okungula mu June oba May ng’aggwaako okusinziira ku kika ky’ennyaanya ky’oba walima.

Ate abasimba mu August bo bakungula mu November.

OKUYIWA BEEDI

Joseph Bukenya, omulimu w’ennyaanya e Galamba mu ggombolola y’e Gombe mu Disitulikiti y’e Wakiso, agamba nti okuyiwa beedi, olina kusooka kutegeka nnimiro w’ogenda okuyiwa, mu kalimiro kano olina okutemaatema ettaka ne ligonda bulungi era kikulu nnyo okuteekamu nnakavundira oba obusa nga buyidde bulungi.

Bino bikola ekigimusa ne zikula mangu, era singa olaba nga tezikula bulungi oyinza okufuuyirako Rapid Grow ne zidduka mnangu.

Bw’oba oyiwa ensigo z’ennyaanya, osobola okuyiwa beedi ng’omansa bumansa mu kalimiro, oba okuyiwa mu layini era enkola eno y’esinga okuba ennungi. Ssinga beedi ogirabirira bulungi, mu wiiki ssatu oba osimbuliza.

Mu mbeera eno olina kulondamu bulokwa bunyirira bwokka okusobola okukwata n’okukula n’okudduka amangu. Ssinga obudde buba bwa musana, olina okufukirira beedi yo buli ku makya n’akawungeezi ate ne bw’oba omaze okusimbuliza nga biseera bya musana kuuma ng’ofukirira.

Ng’omaze okuyiwa, bikkako ebisubi ofukirireko amazzi singa ettaka liba temuli mazzi bulungi. Bwe wayitawo ennaku nga ssatu bubikkule ozimbeko akayumba waggulu, serekako na ssubi, naye olina okumanya nti muyitamu amazzi n’ekitangaala okusobola okukula.

Ate osobola okuyiwa beedi ng’okozesa obuveera mw’oteeka ettaka nga bw’olaba kalittunsi olwo n’osimba ensigo emu oba bbiri mu kinnya okusinziira ku ky’oyagala.

Akaveera kalungi kubanga kanguya omulimu ate kakuza mangu ennyaanya, ekirala ennyaanya zanguwa okukwata kuba okuzitwala mu nnimiro zibaako ettaka kwe zitandikira ne kiyambako n’obutafi irwa nsigo nnyingi mu beedi kuba ezimu osobola okuzikuula mu butanwa nga tezinakula ekitasoboka singa ennyaanya oba wazisimba mu buveera.

ENYAANYA Y’ENKUBA

Bukenya agamba nti, abantu abasinga basobola kulima nnyaanya ya nkuba kyokka nayo eriko ebizibu byayo naddala okutwala ennyo eddagala kuba enkuba oluba okufuuyira ku nnaanya ate ng’erinazaako.

Kino kitegeeza nti okuzirima olina okubaawo ne ssente enkalu ezisobola okugula eddagala ekiseera kyonna w’olyetaagira. Era kino kye kisinga okufi iriza abantu kubanga zibabuka olw’eddagala ettono oba obutafuuyira ne zifa.

Agamba nti wadde ennyaanya zino za ku bbeeyi ya wansi, omulimi talemwa kufunamu ku nsimbi ate ssinga obaako n’ebifo gy’otunda ng’amasomero oba amaduuka amanene kiba kikuyamba nnyo.

Ekirala ennyaanya zirime mu mitendera, ezimu ziba zituuka ate ng’endala zikyali.

OKUFUKIRIRA

Singa oba ozirimye kumpi n’ekidiba ggwe oli bulungi kuba osobola okukuba amazzi ng’ogatwala butereevu mu nnimiro.

Jjukira nti waliwo pampu ezikozesa ebigere ng’osamba n’endala ezikozesa emikono.

Zino zigula wakati wa 180,000/- ne 350,000/- ate ezikozesa amafuta zigula wakati w’emitwalo 80 n’okweyongerayo.

Gwe atali ku mazzi, oyinza okusima ekidiba okumpi n’ennimiro yo n’ofukirira ng’amazzi ogakuba gava omwo n’obunya ennimiro, naye osaanye okupima obungi bw’amazzi n’ennimiro kuba singa gakuggwaako ng’ate omusana gukyayaka omanya obuzibu bukujjidde.

Ebiba by’oyinza okusimba mulimu Tengeru, Rio Grande, Heinz, Cal - J, Roma oba Money Maker.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Grav 220x290

Mujje mbalage ekitone ly’okuyimba...

Oluvannyuma lw’emyezi ebiri ng’ali mu kutendekebwa okwa kasammeme n'okugoggola eddoboozi, Gravity Omutujju ayise...

Uni 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUNA AKULEETEDDE...

Bobi Wine olusimbudde okuva mu Amerika, abawagizi be ne batandikirawo okujeemera poliisi. Amagye gakutte owa Flying...

Banyarwanda2 220x290

Abanyarwanda basabye Kabaka ettaka,...

ABANYARWANDA ababeera mu Uganda basabye Kabaka asiime abawe ettaka Ssekabaka Muteesa II lyeyali abawadde e Kibuye...

Fortunessentamu2 220x290

Abagwira 6 bakuvuganya ne Bannayuganda...

Laawundi y'empaka za ddigi eyoomukaaga ku kalenda ya Uganda yakwetabwaamu abagwira 6.

Courtgavelscales1024683 220x290

Kkooti zonna zaakujjukira Benedicto...

Mu 1972 abajaasi ba Amin baalumba Benedicto Kiwanuka mu ofiisi ye ku Kkooti Enkulu ne bamuwalawala mu kifo ekitaategeerekeka...