TOP

Omusujja gw’embizzi gulumbye Luweero ne Nakaseke

By Herbert Musoke

Added 25th January 2016

Omwaka oguwedde ekirwadde kino kyasaanyaawo ffaamu z'abalunzi eziwerako mu disitulikiti y’e Wakiso mu miruka Kabonera 'B', Kiziba, Kasanje ne Kyamuyimbwa ekyaviirako abakulira ebyobulamu bw'ebisolo okuwera okutunda n'okutambuza embizzi mu disitulikiti.

Mbizzi 703x422

Bw’oba onoowona omusujja gw’embizzi olina okukuuma obuyonjo mu kiyumba kyayo.

ABALUNZI b'embizzi basattira olw'ekirwadde ky'omusujja ekitandise okutambula mu bitundu ebitali bimu naddala mu disitulikiti ya Luweero ne Nakaseke.

Omwaka oguwedde ekirwadde kino kyasaanyaawo ffaamu z'abalunzi eziwerako mu disitulikiti y’e Wakiso mu miruka Kabonera 'B', Kiziba, Kasanje ne Kyamuyimbwa ekyaviirako abakulira ebyobulamu bw'ebisolo okuwera okutunda n'okutambuza embizzi mu disitulikiti.

Dr. Godfrey Gandugga, omusawo w'ebisolo mu Luweero era ng'akola n'ekitongole kya Luweero Plan for Modernisation of Agriculture Action Team (LUPMAT) agamba nti wadde tewannabeerawo kitundu kirangirirwa mu butongole nti kirimu omusujja gw'embizzi, waliwo abalunzi abagulina ku ffaamu zaabwe mu bitundu nga Kikyusa ne Nakaseke.

Ono alabula nti omulunzi wenna singa okizuula nti ffaamu yo erumbiddwa obulwadde buno, totawaana kujjanjaba kubanga tewali ddagala liguwonya okuggyako okuggyawo ezikyali ennamu. Dr. Gandugga agamba nti mu kiseera kino abantu kye balina okukola kwe kufuba okutangira omusujja guno okwongera okusaasaana.

KW’OLABIRA OMUSUJJA

Dr. Gandugga agamba nti ng'ekirwadde kino kyakayingira ffaamu yo, embizzi 2-3 ze zisobola okulabibwa nga ndwadde mu nnaku ebbiri ezisooka, wabula oluvannyuma embizzi zo zitandika okulaga obubonero nga:

1. Okukolola kabonero akakulaga omusujja gw’embizzi. Wadde zitera okukolola naddala nga zirina enjoka, ssinga olaba ng'etandise okukolola, yita omusawo okugyekeneenya.

2. Okukaluubirizibwa mu kussa, okwasimula n'okuva amazzi mu nnyindo agalinga eminyira.

3. Omusujja ogw’amaanyi era ng'ezimu zitandika okukankana n'okwokya. Ku ntandikwa ezimu zitera okusesema ate oluvannyuma zitera okwesiba olubuto.

4. Obutayagala kulya n'okumenyeka amagulu nga tesobola kuyimirira wabula okwebaka ekiseera kyonna.

5. Zisobola okuvaamu amawako naddala ku myezi emito n'okuzaala omwana obufu n'obutayagala kuyonsa.

6. Ebeera terya bulungi, emyukirira naddala enjeru nga n'ennyama ebeera mmyuufu.

ENSAASAANA

Obulwadde buno businga kutambulira mu mpewo naddala mu kiseera ky'akasana era nga kino ky'ekiseera abalunzi we balina okubeerera abeegendereza ku ffaamu zaabwe.

Guyinza okutambuzibwa abantu okuyita mu ngoye, engatto n'ebyambalibwa ebirala.

Agulina ssinga akyala ku ffaamu yo n’atasooka kunaaba n'eddagala eritta obuwuka buno, oba ssinga ebinyonyi ng’enkoko bibeera n’omusujja ne bijja ku ffaamu yo era embizzi zibufuna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Grav 220x290

Mujje mbalage ekitone ly’okuyimba...

Oluvannyuma lw’emyezi ebiri ng’ali mu kutendekebwa okwa kasammeme n'okugoggola eddoboozi, Gravity Omutujju ayise...

Uni 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUNA AKULEETEDDE...

Bobi Wine olusimbudde okuva mu Amerika, abawagizi be ne batandikirawo okujeemera poliisi. Amagye gakutte owa Flying...

Banyarwanda2 220x290

Abanyarwanda basabye Kabaka ettaka,...

ABANYARWANDA ababeera mu Uganda basabye Kabaka asiime abawe ettaka Ssekabaka Muteesa II lyeyali abawadde e Kibuye...

Fortunessentamu2 220x290

Abagwira 6 bakuvuganya ne Bannayuganda...

Laawundi y'empaka za ddigi eyoomukaaga ku kalenda ya Uganda yakwetabwaamu abagwira 6.

Courtgavelscales1024683 220x290

Kkooti zonna zaakujjukira Benedicto...

Mu 1972 abajaasi ba Amin baalumba Benedicto Kiwanuka mu ofiisi ye ku Kkooti Enkulu ne bamuwalawala mu kifo ekitaategeerekeka...