TOP

Okunoonya omulimi asinga kutandika wiiki ejja

By Herbert Musoke

Added 25th January 2016

Mu lukiiko lw'abakungu abassa ssente mu mpaka zino olwabaddemu Paul Van Apeldoorn okuva mu bbanka ya DFCU, Dick Van Nieuwenhuyzen maneja wa kkampuni y'ennyonyi eya KML n’omukungu okuva ku kitebe kya Budaaki mu Uganda olwakubiriziddwa akulira Vision Group Robert Kabushenga wiiki ewedde, baasazeewo okutongoza empaka zino kukolerwe e Gulu okusobola okussa ekitiibwa mu mulimi eyasinze omwaka oguwedde.

Wanika 703x422

Kabushenga (ku ddyo), Dick Van Nieuwenhuyzen maneja wa KML n’omukungu okuva ku kitebe kya Budaaki mu lukiiko.

EMPAKA z'omulimi asinga ezitegekebwa kkampuni ya Vision Group ez'omwaka guno (2016) za kutongozebwa nga February 2-4 ku ffaamu y'omulimi eyasinze omwaka oguwedde, Tony Kidega e Gulu.

Mu lukiiko lw'abakungu abassa ssente mu mpaka zino olwabaddemu Paul Van Apeldoorn okuva mu bbanka ya DFCU, Dick Van Nieuwenhuyzen maneja wa kkampuni y'ennyonyi eya KML n’omukungu okuva ku kitebe kya Budaaki mu Uganda olwakubiriziddwa akulira Vision Group Robert Kabushenga wiiki ewedde, baasazeewo okutongoza empaka zino kukolerwe e Gulu okusobola okussa ekitiibwa mu mulimi eyasinze omwaka oguwedde.

Kabushenga yalaze essanyu olw'engeri abavubuka gye beeyongedde okwenyigira mu bulimi n'obulunzi nga kyeyolekedde mu bawanguzi bw'omwaka oguwedde.

Ku bawanguzi 10, musanvu baabadde bavubuka ky'agamba nti kyakwongera okutwala eggwanga mu maaso.

“Enteekateeka zonna ziwedde okulaba ng'okunoonya omulimi asinga owa 2016 kutandika era nga n'ez’okutwala abawangizi ba 2015 okulambula abalimi n'abalunzi mu Budaaki zigenda mu maaso okulaba nga bongera okubangulwa mu kulima n'okulunda”, Kabushenga bwe yagambye.

Bo abakungu ba kkampuni ezissa ssente mu mpaka zino beeyamye okwongera okuwagira empaka zino era ne basaba Vision Group okwongera okukuuma omutindo gw'amawulire naddala akatabo ka Enkumbi Terimba mu lupapula lwa Bukedde ne Harvest Money akafulumira mu The New vision omufulumira ebyobulimi n'obulunzi.

Wabula alaze obweraliikirivu ku mbeera y'obudde n'ategeeza nti abalimi n'abalunzi ku mbeera y'obudde erabika ng'egenda kubeeramu ekyeya eky'amaanyi n'agamba nti bandibadde bafaayo nnyo okulaba nga bayiiya engeri gye basobola okufunamu amazzi okusobola okusigala mu bizinensi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Soma 220x290

Abatuuze katono batte be balumiriza...

ABATUUZE ku kyalo Kiryamuli mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso bakkakkanye ku basajja babiri abagambibwa...

Panda 220x290

Maneja Kavuma ayagala Abtex amuliyirire...

Olutalo lw’abategesi b’ebivvulu, Musa Kavuma (KT Events) ne Abby Musinguzi amanyiddwa nga Abtex lusituse buto....

Panta 220x290

Gavumenti ereeta amateeka amakakali...

Amateeka gavumenti g’ereeta okulung’amya ensiike y’okuyimba gasattiza abayimbi. Waliwo abatandise okuyomba nga...

Thursday991633393 220x290

Abalenzi baleebezza abawala mu...

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kifulumizza ebyavudde mu bibuuzo bya PLE ebiraze nti...

105190074ibraronepa 220x290

Zlatan acoomedde Ronaldo: 'Tolina...

ABAALIKO ba Sitta ba Man U batabuse omu n’acoomera munne okweyita kafulu nga talina ttiimu nafu mwe yali azannyidde....