TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • ‘Emmwaanyi zikyaleebya ebirime ebirala mu kuvaamu ssente’

‘Emmwaanyi zikyaleebya ebirime ebirala mu kuvaamu ssente’

By Musasi wa Bukedde

Added 1st February 2016

‘Emmwaanyi zikyaleebya ebirime ebirala mu kuvaamu ssente’

Mwa2 703x422

Kasiita (wakati) ng’alaga minisita Ssempijja ( ku ddyo) ne Ssentamu ekikolo ky’emmwaanyi ekibaze.

ABALIMI baweereddwa amagezi nti nga baagala okufuna mu bulimi, bafissengayo obudde bakyalireko bannaabwe ababukoze obulungi babakopppeko obukodyo obupya.

Minisita omubeezi ow’ebyobulimi, Vincent Ssempijja n’omukungu mu kitongole ky’omutindo gw’emmwaanyi mu ggwanga ekya UCDA, Edward Lutaakome Ssentamu baasinzidde mu nnimiro z’omulimi Francis Kasiita ow’e Kizigo-Kyanjovu e Kyanamukaaka mu Masaka gye buvuddeko ne bawa abalimi amagezi okuyigira ku bannaabwe.

Kasiita yabannyonnyodde obukodyo bw’akozesezza okubaza emmwaanyi mu bungi okuva lwe yazitandika mu mwaka gwa 2000 nga wadde eza sizoni eno zaakoseddwaamu omusana naye era yazifunyeemu.

Kasiita yawadde balimi banne amagezi nti okufuna mu mmwaanyi balina okuziwa obudde obumala nga tebaziganyiza ddala kumeramu muddo ate n’okweyambisa ebigimusa mu bipimo ebituufu n’agamba nti omumwe asinga kweyambisa busa ng’atabuddemu ebigimusa ebizungu.

Kasiita agamba nti ye obulimi yabufuulira ddala mulimu mw’assa ssente ng’akimanyidde ddala ze zinaamukolera amagoba n’agamba nti emmwaanyi takyazirabamu buzibu. Aweza yiika 11.

Minisita Ssempijja yakkaatirizza ekibalo kya Pulezidenti Museveni ky’asinziirako okwettaniza abantu obulimi bw’emmwaanyi nti buli kikolo kivaako kkiro 10 sso ng’eza Kasiita zivaako kkiro 25. “Singa mu buli kyalo tufunako abalimi 20 abaweza yiika y’emmwaanyi ne bazikola ku mutindo ng’ogwa Kasiita, ng’ekikolo kimu kivaako kkiro 25 awatali kulonzalonza obwavu mu bannansi bufuuka lufumo”, Ssempijja bwe yagambye.

Omukungu wa UCDA, Ssentamu yakunze Bannayuganda bagoberere ekisinde kya Pulezidenti Museveni ku byobulimi naddala obw’emmwaanyi nga baziwa ekifo kya ku mwanjo kubanga gye bakoma okuzikuumira mu mutindo n’amagoba gye gakoma obungi.

Mw. Ssentamu yayongeddeko nti emmwaanyi tebalina kuzigayaalirira kuba ky’ekirime kyokka omuntu ky’akaddiwa nakyo ng’akiganyulwamu n’akirekera abaana n’abazzukulu nabo ne bakyeyagaliramu. ATE abalimi mu disitulikiti y’e Mayuge bafunye ente 52 okuva mu pulogulaamu ya Operation Wealth Creation okulwanyisa obwavu mu bantu.

Ssentebe wa disitulikiti y’e Mayuge, Omar Bongo Muwaya ye yakulebeddemu okugaba ente ng’ali wamu ne RDC Sulaiman Ogajjo Barasa. Muwaya yasabye abaafunye ente zino obutazitunda kubanga kizuuliddwa nti abantu bangi be bawa ebintu okuva mu Gavumenti ng’ente, embuzi n’ebirala bamala ne babitunda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pi3 220x290

Apass ajereze Kenzo ne Fik Fameica....

Apass ne Eddy Kenzo bawakana ani asinga okwesala emisono wabaluseewo olutalo lw'ebigambo

Sev2 220x290

Pulezidenti asisinkanye abagagga...

Pulezidenti asisinkanye abagagga abalwanira ebizimbe mu Kampala

Muh1 220x290

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo...

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo Muhangi bw’abataddeko

Hop2 220x290

Abayizi boogedde eyabookezza

Abayizi boogedde eyabookezza

Bah3 220x290

Don Bahat akomyewo ku maapu.

Don Bahat awangudde engule mu mpaka za baseerebu e South Africa ne yewaana “abangoba bakongojja…”