TOP

Vanilla azze engulu , kkiro kati egula 35,000/-

By Musasi wa Bukedde

Added 9th February 2016

Vanilla yacaaka nnyo wakati wa 1997 okutuuka mu 2001, kkiro n’etuuka okugula emitwalo 17, kyokka abantu baggwaamu essuubi bwe yakka n’atuuka ku 1,500/- n’olumu okubulwa agula.

Vanilla1 703x422

Watermark Converted Successfully

‘NATUNDA kkiro 87 eza Vanilla ku 35,000/- buli emu ne nfuna obukadde busatu. Ezo bannange ziba ssente mbi?’ David Walusimbi, omutuuze ku kyalo Kyamutakasa ekisangibwa mu disitulikiti y’e Nakaseke kye yanzizeemu bwe nabadde mubuuzizza ensonga emulemezza ku kulima Vanilla. Era ye bw’atandika okukutendera Vanilla ne by’amufunyeemu omuli n’okuzimba amaka ge yali talootangako, amukwagazisa era tomubuulira kireme kirala.

Vanilla yacaaka nnyo wakati wa 1997 okutuuka mu 2001, kkiro n’etuuka okugula emitwalo 17, kyokka abantu baggwaamu essuubi bwe yakka n’atuuka ku 1,500/- n’olumu okubulwa agula.

Naye nga obuguminkiriza bwe buwangula ebingi, abaasigala mu mulimu gwa Vanilla kati basambira mabega nga jjanzi anti kkiro egula wakati wa 35,000/- ne 40.000/- era beeriira bukadde.

VANILLA OKULINNYA N’OKUGWA

Aga Ssekalala, asuubula Vanilla n’amutwala ebweru wa Uganda naddala mu Amerika ng’ayita mu kkapuni ye eya Uvan agamba: Ekibi ekyaliwo kwali kucamuukirira ate abantu ne bayingira mu Vanilla nga tebamaze kulaba nsonga evuddeko katale kulinnya. Abantu bonna Vanilla be yasala baali tebamugoberera bw’atambula ku katale.

Ekintu okulinnya akatale kitegeeza nti tekiriiiwo oba kya bbula olwo bbeeyi yaakyo n’erinnya. Naye ekirime nga kirinnye sooka weebuuze lwaki kirinnye? Abamu ekibuuzo ekyo tebakyebuuza! Madagascar, emu ku nsi ezisinga okulima Vanilla baalina ebizibu ne baba nga tebakyasobola kufulumya Vanilla.

Ekyo kyaleetawo obwetaavu ku katale naye ate bwe baddamu ne batereera obwetaavu tebwaggwaawo wabula bwakendeera bbeeyi n’ekka.

Oba oli awo Vanilla wa Uganda yandisigadde ng’atunda ku ssente ezitegeerekeka, naye ekyamala eggobe mu kibya ne tutandika okutwala ku katale Vanilla atannaba kukula. KYE

BAAGALA MU VANILLA

Vanilla alimu ekirungo ekiyitibwa ‘Vanillin’ nga kino abaguzi kye beetaagamu kubanga kye kikola akawoowo ke beetaaga.

Wabula ekikulu ku kirungo kino okukola akawoowo akatuukana n’omutindo gw’ensi yonna, Vanilla aba wa myezi waakiri mwenda (okuva lw’otundudde ekimuli) Singa onoga Vanilla akka wansi w’emyezi mwenda, Vanillin oyo aba tatuuse, bw’atwalibwa okumugezesa agwa akatale.

Kati ekibi omuntu bw’atwala omuto n’agwa akatale olwo bamanya nti eyo y’enkola y’ensi eyo, tebaddamu kumwettanira ate jjukira nti ensi yaffe yali tevaamu Vanilla mungi nnyo awo ebizibu we byava n’akka ebbeeyi.

ENNIMA YA VANILLA

Walusimbi amaze emyaka 17 ng’alima Vanilla era annyonnyola bwati: Ng’omaze okutereeza ennimiro, bw’eba ebadde nsiko sooka okabalemu. Simbamu ebiroowa kubanga byanguwa okukwata ate Vanilla abyekwatako bulungi ng’alanda.

Naye osobola okusimbamu emiti emirala ng’ogiwadde amabanga naddala emituba okusobola okuleetamu ebisiikirize n’okukola obunnyogovu.

Funa olubowabowa oluliko obuwanvu wa ffuuti nga 8, sima akagegere, oyinza okukozesa ejjambiya oba enkumbi. Simbamu olubowabowa ekitundu kya ffuuti ssatu ate, ettaano ozirandize ku kiroowa.

Ekirungi ky’olubowabowa oluwanvu lwanguwa okulanda, ate bwe lukka n’oluziika okuddamu okwambuka nga luleeta ebimuli bya Vanilla, ng’omaze okuziika ettaka obikkako ebisubi omusana obutamukosa.

Kyokka tolina kukugira Vanilla kwambuka waggulu kubanga gy’akoma okwambuka n’okubala. Kikulu okumugerera ekiseera n’akka n’omuziika n’oluvannyuma n’obikka ebisubi omusana obutamukaza.

Embowabowa enkulu osobola okuziggyamu n’ozitunda, olwa ffuuti 8 mu kiseera kino lugula 1,000/-. Singa omulabirira bulungi oluvannyuma lw’omwaka aba atandise okubala ng’otundula.

Bw’oba olina enkoko awaka kirungi okusimbamu amalagala ne zitamutakula mirandira kuba giriira kungulu.

OKUTUNDULA

Wano we wali bizinensi ya Vanilla, bw’olemwa okutundula ebimuli bifa ne bitakwata kuleeta bijanjaalo. Kasita ekimuli kya Vanilla kyanjuluza olina okukitundula ku olwo lwennyini kuba bw’otokikola omanya kifudde kuba empumbu efa.

Bw’oba otundula osooka kukiyuza olwo n’otundula ng’empumbu ogyambusa waggulu n’oluvannyuma n’oginyiga okusobola okukwata. Tundula ng’omusana gwaka, ku makya ate enkawungeezi nga gusse totundula.

Ekimuli ekitunduddwa kirina okwakako akasana okusobola okukwata ssinga kifuna omusulo, kivunda ne kigwa.

Mu mwezi gw’okutundula tolina kuva mu nnimiro kubanga olina okulamba ebimuli n’omanya ebyanjuluzza we biri n’osobola okutundula mu budde.Olina okwerinda emisota naddala ng’otundula, engeri ennimiro ya Vanilla gy’ebaamu obunnyogovu, tebulamu misota.

VANILLA AKUZE

Bruno Kizza, omutuuze ku kyalo Bugambakimu e Nakaseke yatandika okumulima mu 1992 agamba: Vanilla okumumanya nti akuze atandika okweyasa yekka n’okukyusa langi n’atandika okwengera ng’afuuka kyenvu.

Ekyangu ennyo, bw’oyita mu nnimiro ng’owulira akawoowo ka Vanilla, kuba bw’aba akuze ennimiro yonna ejjula akawoowo n’otandika okunoga.

Wiiki ejja tugenda kukulaga engeri omulimi wa Vanilla gy’ayambako okukuuma obutonde bw’ensi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kit1 220x290

Abagambibwa okutta Bayinvesita...

Abagambibwa okutta Bayinvesita bakwatiddwa abalala babataddeko obukadde 10

Kam2 220x290

Abagambibwa okusanga akawanga ka...

Abagambibwa okusanga akawanga ka maama waabwe mu ssabo beebazizza Museveni okubayamba

Tip2 220x290

Ssemaka yecanze n'azaalukuka omwana...

Ssemaka yecanze n'azaalukuka omwana we

Tot1 220x290

Vision Group etandise enteekateeka...

Vision Group etandise enteekateeka y'ekivvulu kya Toto

Jose11 220x290

Abaggyeemu obwesige

ManU, eri bubi nga mu Premier eri mu kifo kyamunaana nga Man City ekulembedde ebasinza obubonero 12.