TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • ‘Ente nzizimbira wakati mu lusuku okufunamu ekisinga’

‘Ente nzizimbira wakati mu lusuku okufunamu ekisinga’

By Herbert Musoke

Added 15th February 2016

‘Ente nzizimbira wakati mu lusuku okufunamu ekisinga’

Ob2 703x422

Godfrey Lutalo alina yiika z’olusuku ttaano naye ente yazizimbiramu ebiyumba.438,000

OLUVANNYUMA lw’okutandika okulunda nnakakasa nti ddala omuntu ayagala okufuna mu bulimi alina okussaako okulunda kubanga bino byombi bitambulira wamu.

Godfrey Lutalo, omulimi era omulunzi e Kikoma- Buikwe, agamba nti yatandika na kulima kasooli, kwe yava okudda ku lusuku kyokka olw’okuba nti ettaka lyetaaga okuliikiriza okugula obusa kyali kya buseere kwe kusalawo okutandika okulunda ente.

Wano w’asinziira okuwa omuntu yenna ayagala okuganyulwa mu bulimi oba obulunzi okubikolera awamu byombi kubanga ebiva mu kimu nga kasasiro ate bibeera n’omugaso mu kirala. ENTANDIKWA Nalina ettaka lya yiika 10 kwe natandikira okulima kasooli mu 2012 ku yiika ttaano. Muno nakungulamu ttani munaana.

 Ono nnamutwala e Kisumu ne nfunamu obukadde buna. Nawulira nga sifunyeemu bulungi era ne nsalawo okutandika okulima olusuku.

Natandika n’ebikolo 500 mu 2013, nga buli ndu nagigulanga ku 1,000/- okuva ku mwami eyafuna Mpologoma okuva mu NAADS.

Endu nazifunanga musoolesole ng’oluusi akuwaayo 100, n’oyisaawo omwezi kubanga abantu abaali bazaagala baali bangi.

Mu kiseera ng’olusuku lukwali luto nasalawo okusimbamu ebijanjaalo era muno nafunamu kkiro 2,500 kyokka bino byampisa bubi era ne mbiviirako ddala. Mu lusuku binywa nnyo ettaka!

Mu kiseera kino nnina yiika z’ebitooke ttaano nga muno nninamu ebitooke 1,000; ntemamu amatooke 40 – 50 buli wiiki. Okutwaliza awamu ngatunda 10,000/- ekitegeeza nti nfuna 400,000/- ne 500,000/- buli wiiki olwo omwezi ne nfuna 1,600,000/- - 2,000,000

 Godfrey Lutalo alina yiika z’olusuku ttaano naye ente yazizimbiramu ebiyumba.438,000

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pak2 220x290

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa...

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

Web2 220x290

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda...

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda

Kap1 220x290

Wawanirira Klezia ya St. Agnes...

Wawanirira Klezia ya St. Agnes Makindye

Lap2 220x290

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi...

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi

Mpa2 220x290

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera...

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera beebugira buwanguzi