TOP

Yiga engeri ennyangu ey’okulimira mu kiyumba

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd May 2016

Yiga engeri ennyangu ey’okulimira mu kiyumba

Ku1 703x422

Emma Wangiri ku kkono ng'asomesa abalimi ku nnima ey'omulembe

OKULIMIRA mu kiyumba (Green house) y’emu ku nnima ey’omulembe eriwo mu Uganda. Wabula abalimi n’abo abandyagadde okulima, enkola eno bagiraba ng’enzibu ennyo sso nga naawe osobola okutandika okugikozesa.

Bw’oba olimira mu kiyumba, tekikwetaagisa kubeera na ttaka ddene. Kino kisinga kukolera bantu abali oba abaliraanye ebibuga oba abo abalina ettaka ettono.

Ng’oggyeeko okusobozesa okulimira awafunda, kireeta n’amagoba mangi olwa tekinologiya akozesebwa mu kulima kuno. Kino kibeera kitegeeza nti olimira awantu awatono, n’okozesa amaanyi matono kyokka n’okungula kinene ekikuyamba okugaziya enfuna yo. Wiiki ewedde aba ‘Balton Uganda’ abaaleeta enkola y’okulimira mu biyumba, baaleese abakugu okuva mu mawanga ag’enjawulo ne basomesa abalimi obukodyo bwe balina okwekwatako okusobola okufuna mu kulimira mu biyumba.

Emma Wangiru, omukugu okuva e Kenya bwe yabadde atendeka abalimi yabakuutidde okufuba okuyiga endabirira y’ensigo mu nnassale bbeedi, okutegeka ettaka, okutta obuwuka mu ttaka, okusimbuliza, okusalira ebirime, okukoola, okuyonja ebirime, okuwakisa ebimuli n’ebirala.

1. OKUMEZA ENSIGO Z’OKUSIMBA Wangiru yategeezezza nti ensigo kibeera kirungi n’ozisimba mu ttule z’ebirime (zino zeefaanaanyiriza ttule z’amagi). Mu ttule zino oteekamu ekigimusa ekisaanidde n’osimbamu ensigo. Kino kiyamba okwanguyiriza okusimbuliza ensigo zino ne zitoonooneka kubanga buli kimera kibeera mu kantu kaakyo.

Kibeera kirungi bw’oba omaze okuteeka ensigo mu bbeedi oba ttule zino, olina okuziteeka awantu w’otojja kuzitaataaganya okutuusa lwe zikula ne zituuka okusimbuliza. Olina okuzifukirira naye kibeera kirungi n’okozesa ebbomba okufukirira amazzi oleme kukossa birime.

2. OKUFUMBA ETTAKA Omukugu Wangiru okuva mu Balton Uganda agamba nti okufumba ettaka kikulu nnyo mu nnima ey’omulembe ey’okulimira mu biyumba kubanga kiyamba okutta obuwuka obubeera mu ttaka obwanditawanyizza ebirime.

Funa eppipa engumu, payipu, amazzi, enku, ekibookisi ky’embaawo n’ekiveera bino byogenda okuteekamu ettaka. Okufumba ettaka lino, oddira ekibookisi ky’obeera otaddemu ekiveera olwo n’ossaamu ettaka.

Ossa eppipa oba ekigoma (nga bye bafumbiramu walagi) n’ogissaamu amazzi n’osibako payipu eno y’etwala omukka ogwokya mu ttaka ly’obeera otadde mu kibookisi olwo n’otandika okukuma omuliro ku ppipa. Gy’okoma okukuma omuliro mu ppipa, omukka ogwokya (steam) gugenda mu ttaka ne gutta obuwuka bwonna.

Era bw’olaba ng’omukka omungi gutandise okufubutuka mu ttaka eryo nga lingi awo omanya nti obuwuka bwonna bufudde. Wabula omukugu agamba nti olw’okuba ng’obuwuka mu ttaka bubeera buttiddwa, kibeera kitegeeza nti n’obuwuka obulungi obwetaagisa okukuza ebirime bubeera bufudde era wano ettaka bwe limala okuwola, ossaamu ekigimusa olwo n’olyoka osimba.

3. OKUSIMBa MU KIYUMBA Olumala okuteeka ebyetaagisa mu ttaka eribeera lifumbiddwa, olissa mu biveera ebinene mw’ogenda okusimba ebirime n’obiteeka mu kiyumba olwo n’otandika okulabirira ekirime okutuusa lwe kikula.

Omukugu Wangiru yayongeddeko nti ebimu ku by’olina okwekwatako okukuuma ebirime obutalumbibwa bulwadde, olina okukuuma ekiyumba nga kiyonjo, okufuuyira mu budde obutuufu n’eddagala ettuufu ssaako n’okulambula ebirime buli kiseera kubanga ekirime kiringa mwana, bw’alwawo okukirambula, oluusi tomanya bulwadde bubeera bukirumbye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190718192802 220x290

Okwogera kwa Pulezidenti Museveni...

Okwogera kwa Pulezidenti Musevebni eri eggwanga. Tuli mu maka g'Obwapulezidenti e Nakasero

Massagebeingdonewebuse 220x290

By'olina okutunuulira nga tonnakola...

Nakola masaagi ne ntemwako okugulu era ntambulira mu kagaali - Dr. Karuhanga

Omukubayizingalikobyanyonyolawebuse 220x290

Abawala abazaddeko mubazze mu masomero...

Abawala abazaddeko okudda mu masomero kyakuyigiriza abalala obutakola nsobi n'okubudaabuda abafunye obuzibu bwe...

Teekawo1 220x290

Akakiiko ka bannamateeka kasazizzaamu...

OLUKIIKO olufuzi olwa bannamateeka ba Uganda Law Society olukwasisa empisa lusazizzaamu ekibonerezo ky'emyaka ebiri...

Club 220x290

Vipers bagitutte mu kkooti lwa...

KIRAABU ya Vipers bagitutte mu kkooti lwa kukozesa akabonero kaayo (logo) nga tebasasudde yakakola. Era eyabawawaabidde...