TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Ab’e Kawanda basomesezza ku kitooke ekipya ekya Kiwangaazi

Ab’e Kawanda basomesezza ku kitooke ekipya ekya Kiwangaazi

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd May 2016

Ab’e Kawanda basomesezza ku kitooke ekipya ekya Kiwangaazi

Li1 703x422

Omukugu ng’alaga endu erina okusimbibwa.

ABAKUGU e Kawanda batandiise okusomesa Bannayuganda ku kitooke ekipya kye bakoze ekiyitibwa Kiwangaazi M9 ne M2, ekigumira endwadde n’okussa enkota ennene.

Bali mu kaweefube wa kukyagazisa balimi kibayambe okwongera okwaza emmere awaka. Mu musomo ogw’olunaku olumu ogwabadde mu nnimiro y’omulimi Francis Wagaba e Nakanyonyi mu ggombolola y’e Nabbaale e Mukono gye buvuddeko, abalimi okuva mu magombolola ag’enjawulo mu Nakifuma ne Mukono North baasomeseddwa ennima y’ekitooke kino.

Kiwangaazi M9 ne M2 kigumira embeera yonna ey’obudde, tekimala galumibwa biwuka ng’ebitooke ebirala, kiteekako enkota nnene.

Wilson Okulut, omusomesa w’ebitooke okuva e Kawanda yategeezezza nti ekitooke kino kisobola bulungi okusimbibwa awantu wonna, kirina omugogo munene nga kisobola okweterekera amazzi ebbanga lyonna ate tekimala gasuulibwa kibuyaga.

Okurut agamba nti buli mulimi talina kweralikirira ku nsimba ya kitooke kino awamu n’endabirira kuba nakyo kiringa ekitooke ekirala mu ndabirira. Kyetaaga okusimbibwa mu biseera by’enkuba okusobola okukendeza ku ndabirira n’okufukirira, okubikka, okukisali-ra, okukisimba mu nnyiriri ate tekiboola bitooke birala.

Kissa enkota nnene, erina ebiwagu ebiri wakati wa 14 ne 16, kimala emyezi ebiri n’ekitundu ettooke okukula obulungi. Omulimi Francis Wagaba, eyalondebwa okugezesezaako ebitooke bino yategeezeza nti kati takyalina kizibu kya mmere kuba ebitooke bino bigumira buli mbeera yonna nga ne mmere yakyo eringa endala yonna.

“Emmere ηηonvu, enkota ngitunda wakati wa 15,000/- ne 20,000/- nga bw’olaba Mpologoma ne Kisansa. Ekitooke kizaala nnyo kale bw’otottira butooke, ebbanga lye batulagira okukisimbamu erya mmita 3 ku 3 ttono,” bwe yagambye

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mazzi2 220x290

Enkuba egoyezza Bannakampala n'emiraano...

Enkuba egoyezza Bannakampala n'emiraano

Educationpanel703422 220x290

Batadde Gav't ku nninga ku by'okusuubiza...

AKAKIIKO ka palamenti akalondoola ebisuubizo bya gavumenti kagitadde ku nninga olw’okulemererwa okutuukiriza ekisuubizo...

Mulagospecialisedwomenandneonatalhospital3 220x290

Eddwaliro ly'e Mulago eppya liseera...

ABABAKA ba palamenti balaze okutya olw’eddwaliro ly’e Mulago eppya erya gavumenti erijjanjaba abakazi okuba nga...

Gamba 220x290

Ababaka beeyongezza ensimbi mu...

ABABAKA ba palamenti bazzeemu okweyongeza ensako. Okusinziira ku biwandiiko ebikwata ku bajeti egenda okusomwa...

Kujjukiralubiri1 220x290

Buganda ejjukidde emyaka 53 bukya...

Buganda ejjukidde emyaka 53 bukya Lubiri e Mmengo lulumbibwa Obote