TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • ‘Bye nkola ku yiika emu abalala babikolera ku yiika 4’

‘Bye nkola ku yiika emu abalala babikolera ku yiika 4’

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd May 2016

‘Bye nkola ku yiika emu abalala babikolera ku yiika 4’

Ku5 703x422

Lubyayi ng’alaga ennyaanya ez’ekika kya Asila z’alima.

KKAMPUNI ya Vision Group efulumya Bukedde, ekwataganye ne bbanka ya DFCU, ekitebe kya Budaaki mu Uganda ne kkampuni y’ennyonyi eya KLM okunoonya omulimi n’omulunzi asinga mu Uganda omwaka gwa 2016. Abanaavuganya mu mpaka zino mujja kutuweereza amannya gaabwe tubatuukirire tubawandiikeko buli Mmande.

EDWARD SSERINYA awandiise ku Peter Lubyayi ow’e Mukungwe- Masaka awa ekyokulabirako ekirungi mu kulimira awafunda n’ozza amagoba.

MULIMI KI ASINGA MU UGANDA? OKULIMA n’okulunda ssinga omuntu abiremerako bisobola okuvaamu ekiramu. Ekkubo ly’okulemerako Peter Lubyayi ly’akozeseza okulaba ng’abaako w’atuuka. Lubyayi ye nnanyini ffaamu ya Lubyayi & Family Farm esangibwa ku kyalo Kasana- Kalagala mu ggombolola y’e Mukungwe mu Disitulikiti y’e Masaka.

Atudde ku yiika emu, nga kuno alimirako ennyaanya ebikolo 300 ng’abirima buli kiseera, alinako ente nnya ez’amata, enkoko 1,500 nga zino yazizimbira ekiyumba kya kalina nga buli kiyumba kituukamu amazzi nga geetwalayo gokka ne payipu olwo enkoko ne ziryoka zinywa.

Enkoko zivaamu ttule 35 buli lunaku kyokka zo ente zikamwamu liita 40, nga gano agatunda mu bantu ate agaba gasigaddewo agatwala ku kigo e Kitovu ne bagagula. “Ente nziriisa omuddo gwe nkuηηaanya okuva mu bitundu eby’enjawulo, ngattako ebiwata n’omuddo gwa kaliyandula guno guyambako mu kuleeta amata n’okugawa akawoowo.

Ekintu ekikulu mu kulunda kwonna kwe kufaayo okumanya. Ssinga wabaawo obulwadde oba oteekwa okujjanjaba n’okuliisa obulungi. Bino obimanya nga weebuuza ku bakugu, okugendako mu misomo naawe n’oyongera okugaziya obwongo,” bw’agamba.

Ennyaanya zino azirimira ku buti, wadde nga talima nnyingi naye azitunda nga buli lukungula okuggwaako okunoga aba asobola okufuna 1.000.000/- ng’amagoba. Alima ekika kya Asila, zino asimba mu mitendera. Ziba zitandika okwengera ng’ate asimba omugigi omulala, ezaasooka ziba ziggwaako ng’empya zitandise okubala. Kino akikola bwatyo okusobola okukuuma ng’anoga buli kiseera, era ye ennyaanya tezimuggwaako.

OKUYAMBA ABALALA Ffaamu ye mu Masaka n’ebitundu ebiraanye ate n’olumu abava mu Kampala bajja ne babaako bye basoma naddala okulunda enkoko. Aguza abantu amagi n’amata ku kitundu kuba bali mu kibuga nga kale batono ababirina ate nga baba n’obwetaavu obwo. Ayambako ku bantu obutatambula kugenda mu kibuga ky’e Masaka ne bakkekkereza ensimbi kuba amagi n’amata bibasanga waka.

Ayambako ne mu kutondawo emirimu kuba akozesa abakozi bana ab’enkalakkalira ku ffaamu ye, wabula emirimu bwe gibaawo wabaawo abakola olunaku ne bamuyambako. OKUGATTAKO OMUTINDO Lubyayo agamba nti kye yasooka okukola kwe kugoba enku oba amanda mu maka ge. Ente n’embizzi zimuwa obusa bw’akolamu amasannyalaze ne ggaasi gw’akozesa okufumba awaka n’okwota, wadde ng’alina amasannyalaze ga UMEME.

 lina enkoko 1500 ezimuwa ttule zamagi 35 olunaku Alina enkoko 1,500 ezimuwa ttule z’amagi 35 olunaku.

 Kyokka ate obukuta bw’afuna okuva mu nkoko obwo bugenda mu nnimiro okwongera okugimusa ebintu by’alima okuli ennyaanya, emiyembe n’ebitooke ebitonotono. OKUTANDIKA Lubyayi agamba amaze emyaka egisoba mu 20 nga mulimi.

“Amaka ge nakuliramu ga balimi. Nalaba nga mbeera mu kyalo nga sirina mulimu gwa gwe nkola kwe kusalawo okudda mu bulimi n’okulunda era sibyevuma. Lubyayi akulaga bwe balima n’okulundira awafunda Kale nakula nga nnina okwagala eri omulimu gw’okulima n’okulunda, olaba ne bwe nagula ekifo wadde nga kitono nalina okulimirako n’okulunda kubanga eggwanga gye liraga.

Mu bulimi olina okusooka okwagala ekintu ky’ogenda okulima era bwe kifuna obuzibu naawe owulira ng’omutima guba gwennyika, sso abatakwagala tebafaayo balumwa lwa ssente sso si lwa kwagala. Okulima n’okulunda tekitegeeza ssente nnyingi, kuba bangi abaziteekayo nga nnyingi naye era ne zifa olowooza lwaki?

Ekikulu kwe kusooka okufuna amagezi agakwata ku mulimu olwo ne kivaamu ekyo ky’oyagala nga naawe otaddeyo omutima, ogenda okwagala okwongeramu ssente ennyingi oba omaze okutereeza buli kimu ng’omanyi bwe bitambula.

OKUKOLA SSENTE Ffaamu ekola ssente, kuba buli lunaku ntunda ttule z’amagi 35 nga mu kiseera kino buli ttule ngitunda 8,200/- okuva ku ffaamu yange, okwo gattako amata nga buli liita ya 1,400/- bwe mba nga nguza abantu abanywa kyokka abasuubuzi batwalira wakati wa 800/- ku 1000/- okusinziira klu mbeera eba eriwo.

 ubyayi akulaga ekitandaalo kwayanika ebiwata nga tannabiwa nte ze Lubyayi akulaga ekitandaalo kw’ayanika ebiwata nga tannabiwa nte ze.

 Kino kitegeeza enkoko zokka zinnyingiriza 2,870.000/- nga kuno nzigyako emmere gye zirya buli lunaku n’abakozi bonna olunaku baba bammalako emitwalo 20, ekitegeeza 80,000/- ezisigalawo gaba magoba.

Mu mbeera eno emirimu gye nkola mwe nasobola okugula mmotoka kabangali ennyambako okuleeta ebintu ku ffaamu naddala emmere y’enkoko n’ebisolo. Era kwe nsomesezza abaana n’okuyimirizaawo amaka gange.

TEKINOLOGIYA Ng’oggyeeko okukola amasannyalaze agava mu busa, ekirala nnina akuuma akannyamba okukola ebisagazi by’ente, kano kanguyiza omulimu sso nga tekakozesa mafuta. Okuggyako n’amazzi ge nawayalinga okulaba nga geetuusa gokka mu biyumba by’enkoko olwo ne zeegeererako ge zinywa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Keefa Kisala alinze Onduparaka...

Keefa Kisala alinze Onduparaka

Leb1 220x290

Eyavudde ku kkoligo akutudde Express...

Eyavudde ku kkoligo akutudde Express ento

Kit1 220x290

Ab'ebyokwerinda bawadde abatuuze...

Ab'ebyokwerinda bawadde abatuuze b'e Makerere Good Hope e kiragiro

Jab1 220x290

Eyafa amasannyalaze akwasizza abakulu...

Eyafa amasannyalaze akwasizza abakulu b'essomero lya Bright Future e Kawempe

Keb2 220x290

Omusawo agambibwa okufera obukadde...

Omusawo agambibwa okufera obukadde 34 ku musuubuzi akwatiddwa