TOP

Nnunda ente, embuzi n’okulima olusuku’

By Musasi wa Bukedde

Added 9th May 2016

Nnunda ente, embuzi n’okulima olusuku’

Mum1 703x422

Muky. Byarugaba nga yeekebejja ente ye enzungu.

KKAMPUNI ya Vision Groupefulumya Bukedde, ekwataganye ne bbanka ya DFCU, ekitebe kya Budaaki mu Uganda ne kkampuni y’ennyonyi eya KLM okunoonya omulimi n’omulunzi asinga mu Uganda omwaka gwa 2016. Abanaavuganya mu mpaka zino mujja kutuweereza amannya gaabwe tubatuukirire tubawandiikeko buli Mmande.

HERBERT MUSOKE awandiise ku Jovia Brarugaba, nnannyini masomero ga Ebenezer Schools ng’akulaga bw’agattika ente Enzungu n’ennansi okufuna mu bulunzi. MULIMI KI ASINGA MU UGANDA?

ABAKYALA abamu bwe bafi irwa abaami baabwe badda mu kukaayanira byabugagga oba okwekubagiza nga balowooza nti obulamu bwabwe butuuse ku kisenge. Wabula Muky. Jovia Byarugaba, nannyini Gosha Farm e Kasokwe-Galiraaya mu disitulikiti y’e Kayunga agamba nti okubeera omuvumu, obumalirivu n'okukola n'amaanyi byamuyamba okuva mu mbeera y'okulumwa nga bba afudde kati emyaka egisoba mu 10.

Agamba nti oluvannyuma lwa bba okufa, yatandikawo amasomero ga Ebenezer Schools omuli Pulayimale ne Siniya mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo nga yatandikira mu nnyumba y'amaka gaabwe e Kisugu-Kibuli kyokka nga mu kiseera kino alina amatabi ag'enjawulo.

 uky rarugaba yasima ekidiba mwanyweseza ebisolo bye Muky. Brarugaba yasima ekidiba mw’anyweseza ebisolo bye.

“Wadde natandikira mu masomero, nayagala nnyo okubeera mu bulimi n'obulunzi era olwaweza ssente natandika okulunda n'oluvannyuma ne ntandika okulima nga mu kiseera kino nnina ffaamu y'ente e Galiraaya n'olusuku e Kansanga,” Muky.

Byarugaba bw'agamba. Agamba nti buli wiiki alina okugenda ku ffaamu ate n'abaana bamuyambako okuddukanya ebimu ku by'akola n'okulondoola. OKUTANDIKA “ Bwe nafuna ku ssente nalaba nga kinneetaagisa okugaziya ku nnyingiza yange nsobole okusomesa abaana bange anti abasinga baze yagenda okufa nga bato ddala.

Nasalawo okugulayo ettaka e Kasokwe- Galiraaya mu Kayunga, yiika 133 ku bukadde 10 mu 2005 nga kuno kw enatandikira okulunda mu 2008 nga ntandika n’ente 11 ennansi eziva mu Ankole ez’amayembe amawanvuKati nnina ente 130 nga ku zino nkamako ente 20 ezimpa liita 200 olunaku. Wabula amata gano mpulira nga tegamala era njagala okwongera okulongoosa olulyo n'okwongera amaanyi mu ndabirira yaazo okusobola okuziggyamu amata agawera.

Amata nkyagaggyamu ssente ntono kubanga ngatunda ku 1,000/- buli liita egitegeeza nti buli lunaku mbeera nfuna 140,000/- olwo wiiki ne nfuna 980,000/- ate omwezi 3,920,000/- . Mu kiseera kino ffaamu nagisalamu ebibangirizi mwe nsindika ente zino okulya era nasima n'ekidiba mwe zinywera amazzi kubanga ekitundu kyaffe kya lukoola.

Omulunzi yenna ayagala okufuna mu bulunzi bw'ente olina okukakasa nti obeera n'ennyana ez'amaanyi kubanga gy'okoma okubeera n'ennyana ez'amaanyi gy'okoma okubeera n'ekiraalo ekirungi n'obulunzi obutakoma. Kale nzirabirira bulungi ne zigejja, ne zitalwala.

EMBUZI Ku ffaamu nninako n'embuzi nga mu kiseera kino nina embuzi ezisoba mu 160. Ziriira wamu n’ente oluvannyuma ne zikomezebwawo awaka okwongerwa okuweebwa ebiwata, amazzi n'omuddo. Embuzi bisolo ebifuna obulungi kubanga zizaala emirundi ebiri omwaka era ng'omwaka ntunda embuzi 50 nga zino nzitunda 200,000/- ne 300,000/- buli emu.

 lunda embuzi 160 Alunda embuzi 160.

 OLUSUKU Oluvannyuma lw'okulunda natandika okulima kubanga obulimi n'obulunzi bitambulira wamu engeri buli kimu gye kiyamba kinnaakyo okukula. Olusumu nalussa Kansanga, luliko yiika emu era lumazeewo kati emyaka esatu.

Muno ntemamu amatooke10 buli luvannyuma lwa wiiki bbiri ne ngatunda 25,000/- buli limu ne nfuna 250,000/- omwezi kyokka ng'ekisinga nti wadde ndi mu kibuga sikyagula mmere. Olw'okuba nali sinnaba kumanya nnyo bya kulima, olusuku lwange ηηenda nnyongera okulutereeza buli kiseera. Njagala gye gujja okufuuka omulunzi w'ente z'amata ow'amaanyi, ntandike n'okukola ebintu eby'enjawulo okuva mu mata.

Mu kiseera kino natandise okulunda ente z'ekiyumba ze nsuubira okubeera entandikwa y'ente z'olulyo era ezisobola okumpa amata agawera. Zibadde zinnyambye okulongoosa olulyo naye ηηenda kukyongeramu amaanyi.

Mu ngeri y'emu njagala okutandika okulabirira obulungi ente era ntandise okulima omuddo gwe njagala okukolamu omuddo omukalu oguliibwa ente naddala mu kiseera

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mourinho2 220x290

‘Abateebi banjiyeeyo mu maaso ga...

ManU, eyabadde yeesunze obuwanguzi, egudde maliri ne Wolves (1-1), ttiimu eyaakasuumuusibwa okujja mu Premier....

Ony 220x290

Abapoliisi abalabikidde mu katambi...

Poliisi ekutte basajja baayo bana abalabikidde mu katambi nga batulugunya omuvubuka wa 'people power' e Kajjansi...

Cho 220x290

Chozen Blood ayabulidde ekibiina...

Chozen Blood ayabulidde ekibiina kya 'Team No Sleep' agamba ebintu tebitambudde bulungi.

Kirumiranew5 220x290

OKUTTA KIRUMIRA: Basonze olunwe...

AMAGYE geekenneenyezza obujulizi ku kutemula Kirumira ne bagattako ne bye bakung'aanyizza mu bantu abaasoose okukwatibwa...

Pana1 220x290

Engeri gye nnonda engoye ezinnyumira...

Bino yabinnyonnyodde PATRICK KIBIRANGO. “Bye nnyambala nfuba okulaba nga bigendera ku kikula ky’omubiri gwange....