TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Aba NACRRI baleese kasooli agumira akawuka akaleeta empumbu

Aba NACRRI baleese kasooli agumira akawuka akaleeta empumbu

By Sarah Zawedde

Added 10th May 2016

EKITONGOLE ekinoonyereza ku birime ekya Namulonge Agriculture Crop Resources Research Institute kikoze ebika bya kasooli bisatu ebigumira akawuka akaleeta empumbu evaamu obutwa obw’obulabe eri omulimi.

Mpumbu 703x422

Omu ku bakozi e Namulonge ng’alaga kasooli omupya eyavumbuddwa.

EKITONGOLE ekinoonyereza ku birime ekya Namulonge Agriculture Crop Resources Research Institute kikoze ebika bya kasooli bisatu ebigumira akawuka akaleeta empumbu evaamu obutwa obw’obulabe eri omulimi.

Obutwa buno buyittibwa “Afl atoxin” nga buleetebwa akawuka k’empumbu akamera ku mpeke z’ebirime nga tennaba kukungulwa mu nnimiro oba ebiteerekeddwa mu sitoowa.

Omukugu mu kunoonyereza ku byobulimi era akulira ekitongole kino Dr. Godfrey Asea agamba nti akawuka kano kaabulabe eri obulamu bw’abalimi kubanga kavaamu obutwa obuyinza okumuviraako okufuna obulwadde bwa kookolo w’ekibumba.

Agamba nti abalimi bangi balidde obutwa buno mu mmere naddala kasooli, ebinyeebwa ebikubibwamu obuwunga nga kyandiba nga kye kimu ku kivuddeko obulwadde bwa kookolo w’ekibumba okweyongera mu bantu.

Agamba nti ebirime bingi bimerako empumbu naye ku luno essira ly’okunoonyeeza ku kawuka kano balitadde ku kasooli, ebinyeebwa, obulo ne muwogo kubanga bye bimu ku birime ebisinga okulimibwa n’okuliibwa mu Uganda.

Era basobodde okufulumya ebika bya kasooli omuli Bazooka (UH5354), UH5402 ne UH 5556 .

Omukugu mu kunoonyereza ku bisolo, Godfrey Nviiri agamba nti akawuka akaleeta obutwa buno katera kubeera ku mpumbu ey’ekika kya Kiragala.

Empumbu eno emera ku mpeke z’ebirime naddala ebitakaziddwa bulungi kuggwaamu mazzi .

Empumbu eno bw’emera ku kasooli ereeta obutwa obutaggwa mu mpeke zino nga ne bw’obufumba tebufa.

Agamba nti obutwa bwa “Afl atoxin” bwa bulabe kubanga omulunzi ssinga anywa amata oba alya ennyama evudde mu bisolo ebibadde bigabirirwa emmere erimu empumbu asobola okufuna akawuka kano akalwaza kookolo.

Era bukwata n’omwana omuto ssinga ayonka nnyina oba anywa amata agava mu nte erya emmere erimu empumbu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit2 220x290

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza...

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza emmundu

Sev2 220x290

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga...

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga ku by'emmwaanyi

Det2 220x290

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku...

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku bya bba Bugingo

Kop2 220x290

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo...

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo alojja

Lap2 220x290

Eyatuga owa bodaboda asonze ku...

Eyatuga owa bodaboda asonze ku munene gw’akolera