TOP

‘Okufuna mu bibala olina okwongerako omutindo’

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd May 2016

‘Okufuna mu bibala olina okwongerako omutindo’

Pa1 703x422

Naggujja alina ebikolo by’amapaapaali 2,000. Wano nga yeekebejja ekimu ku bikolo.

KKAMPUNI ya Vision Group efulumya Bukedde, ekwataganye ne bbanka ya DFCU, ekitebe kya Budaaki mu Uganda ne kkampuni y’ennyonyi eya KLM okunoonya omulimi n’omulunzi asinga mu Uganda omwaka gwa 2015.

Abanaavuganya mu mpaka zino mujja kutuweereza amannya gaabwe tubatuukirire tubawandiikeko buli Mmande. Leero Paddy Nsobya awandiise ku Annet Naggujja, omulimi w’e Mbalala mu Mukono eyettanidde embizzi n’ebibala.

OKULUNDA ebisolo n’okulima ebibala mulimu ogugobera ddala obwavu olw’akatale kaabyo akanene ensangi zino. Annet Naggujja ow’e Mbalala mu ggombolola y’e Nama e Mukono agamba nti okulunda embizzi n’okulima ebibala bimuyambye okwegobako obwavu, n’okufuna ekirowoozo ky’okwetandikirawo ekkolero ly’ebyokunywa ebiva mu bibala.

Ffaamu ye ezaaza obubizzi bw’atunda, alima yiika ttaano ez’amapaapaali, ne yiika emu ey’obutunda Obuganda. Omwaka akola obukadde obusoba mu 30 mu mirimu gye gino. Anyumya: Nali ssaagala nnyo kulima mu biseera we nasomera naye simanyi bulungi kyandeetera kwagala kulima nga nvudde mu ssomero.

Nasooka kulima nnyaanya naye ng’oluusi akatale kagwa ne sifunamu, ne nzivaako ne nnima kasooli ne lumonde naye nabyo ng’oluusi binfi iririra. Balimi bannange bampa amagezi nywerere ku kirime kimu, nkifunemu obukugu olwo n’akatale kajja kufunika. Amagezi ge gamu ge bampa ne mu kulunda ebisolo.

Nasalawo okussa essira ku kulunda embizzi naye nga nzaaza buzaaza obuto ne ntunda. Nasalawo n’okussa essira ku kulima ebibala ng’amapaapaali n’obutunda kuba nali mbigezezzaako nga bifuna ate nga akatale kali wano wennyini mu Mbalala n’e MukonoObukugu mu kulunda n’okulima ebibala ngenze mbiyigira ku balimi n’abalunzi abansinga, ate n’emboozi ezibeera mu Bukedde ez’abalimi abatutumufu.

Okulunda embizzi: Mmaze emyaka egisukka mu etaano nga nnunda embizzi ku musingi ogwa bizinensi . Natandika n’embizzi bbiri n’ekiyumba kya bibaawo na biwempe. Zaazaalanga ne ntunda obubizzi olwo ne luggwa ne ninda lulala.

Wabula lumu nalambula ku mukwano gwange eyali alunda embizzi n’ankwasa ekinyegenyege, anti nga ye agukola nga mulimu era ng’afuniramu ddala ensimbi. Kwe kutandikawo ffaamu entono kuba n’eyiye teyali nnene. Embizzi zange bwe zaazaala natunda obubizzi n’enfuna ssente ate n’omwami wange n’annyambako ne tuzimba ebiyumba eby’omulembe nga tukozesa amayinja, seminti, n’amatoffaali ate waggulu ne tuseresa mabaati.

Okulunda embizzi Nunda embizzi olulyo lwa Large White ne Cambroue. Olw’okuba mu Uganda embizzi ezisinga okulundibwa ziba za kulya nnyama, endyo zino nnungi naddala olwa Cambroue kuba zigejja, ziteekako ennyama nnyingi ate amasavu n’ekigodo kitono.

Endyo zino embizzi ezaala obubizzi wakati w’omunaana ne 13. Nina embizzi mukaaga ezizaala ate ne sseddume emu. Nzaaza obubizzi obuto era buno bwe ntunda okusinga. Akabizzi ak’omwezi ogumu nkatunda 75,000/-, bwe kasukka ku mwezi bbeeyi yaako esingawo. Omwaka nfuna obubizzi 100 n’omusobyo.

Ekitono ennyo buli mbizzi yange ezaala obubizzi munaana kyokka enfunda nnyingi busukkamu. Embizzi ezaala emirundi ebiri omwaka. Nkola obukadde obusoba mu 10 omwaka mu mbizzi. Okuganyulwa mu bulunzi bw’embizzi kirungi okuba ne kasooli. Nze nima kasooli era bw’akula ne mukungula, mmukubamu mmere ya bisolo.

Kasooli bw’osooka okumuggyako obuwunga n’osigazaawo akakuta, ekiriisa kiba kikendedde era oba weetaaga okugula ebirungo bingi okwongeramu. Wabula nze yenna mmukuba ne nteekamu ebirungo bitono. Buli kkiro 100 nteekamu mukene kkiro 5 ne soya 3, amagumba kkiro 1, n’omunnyo katundu ka kkiro. Buli mbizzi ezaala ngiwa kkiro 2 buli lunaku.

Okwo kwe nnyongereza omuddo n’ebintu ng’ebiwata kuba bibaamu ekiriisa kya Vitamin eziyamba okujjanjaba omubiri. Emmere ya maize bran ebaamu ebiriisa omuli ebizimba omubiri, ekiwa omubiri amaanyi n’ebirala.

Okulima kasooli: Buli yiika ya kasooli ngikungulamu ensawo 25 ku 30. Nkozesa wakati wa 800,000/-, ne 1,000,000/- okulima yiika ya kasooli emu. Kasooli ono annyamba okukekkereza ku nsimbi. Okulima ebibala Amapaapaali: Nina emiti 2,000 egy’amapaapaali era gatandise okwengera. Nima amapaapaali amamyufu.

Gano gawooma nnyo era bakkasitoma bagaagala nnyo. Okugasimba nsima ebinnya bya ffuuti bbiri obuwanvu n’obugazi. Nfuna obukuta obuva mu nkoko ebbensani nnamba ne ntabula mu ttaka eriddugavu lye nsimye mu binnya ne ntabulamu. Nga mmalirizza, nsimba endokwa mu kinnya.

ppaapaali litwala emyezi wakati w’omukaaga n’omusanvu okutandika okubala. Ate ebibala bitandika okwengera ku myezi wakati w’ebiri n’esatu. Eppaapaali liwangaala okutuuka mu myaka 10 naye gabala nnyo okuva ku myaka ebiri okutuuka ku mukaaga. Ku buli muti nfunako amapaapaali abiri mu wiiki ate mu mwezi nsuubirako amapaapaali munaana ekitono. Emiti ngisimba mu mabanga ga ffuuti 10x10.

Amapaapaali bakasitoma bagakima ku musiri. Okulima obutunda: Buno buliko akatale kanene okukira ebika ebirala olw’akawoowo n’obuwoomi bwako. Nasooka kuzimba kidaala kwe bulina okulandira nga nkizimbisa ebikondo bya kalittunsi, ebikola empagi n’amabanda agagenda waggulu, n’obugoogwa. Ekidaala kino kimalawo 1,500,000/-.

Buli awali ekikondo kiba kikolo kya katunda. Mbisimba mu mabanga ga ffuuti 10x10. Ku buli kikolo nteekako akataasa k’obukuta obuva mu nkoko. Obukuta buno bulwamu okusinga ebigimusa ebizungu. Obutunda nga bubaze omwezi nsobola okukungula ensawo 24 mu yiika emu. Ensawo egula 200,000/- ekitono ennyo.

Enteekateeka yange ya kutandikawo kyuma ekikola omubisi mu bibala n’okugupaakinga. Ebyuma bigula obukadde 18 era njagala mu mwaka gumu okuva kati mbeere nga mmaze okubituusa akakolero katandike.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kasibante2 220x290

Omubaka Kasibante atereezezza obufumbo...

MOSES Kasibante omubaka wa Lubaga North atereezezza amaka, bw’ayanjuddwa mu kitiibwa ku mukolo ogwetabiddwaako...

Jmcweb 220x290

Kyetume ekutudde JMC Hippos

Kyetume evudde emabega n'ewangula JMC Hippos mu Big League mu ddakiika ezisembayo

Afcon16 220x290

Olugendo lwa Uganda Cranes okugenda...

Olugendo lwa Uganda Cranes okugenda mu AFCON2018 e Cameroon.

2016manuvbournemouthbailly 220x290

AC Milan ayingidde olwokaano lw'okugula...

Bailly yava mu Vallrreal eya Spain okwegatta ku ManU.

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana