TOP

Yiga bwe balimira awafunda oyoole ssente

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd May 2016

Yiga bwe balimira awafunda oyoole ssente

Wa1 703x422

Dr. Nambatya ( asitudde omwana) ng’alaga bw’olimira obutungulu mu kkutiya.

DR. Diana Nambatya 32, eyasomesa mu musomo gwa Yiiya ssente ogwali ku Freedom City mu March w’omwaka guno ku wiikendi yasomesezza abalimi n’abalunzi 60 okuva mu disitulikiti y’e Kiboga.

Abalimi bano abakulembeddwaamu Viola Musisi, akulira abakyala mu kiboga gwabadde mu maka ge e Kulambiro- Ttuba zooni n’abakuutira okukomya okulowooza nti bw’otobeera na yiika ya ttaka omuntu tosobola kubeerako ky’olima n’ofuna ssente.

“Amaka gange gano gali ku ffuuti 180 ku 220 naye nsobola okulundirako n’okulimirako ate nga n’amaka ga taata w’abaana Dr. Fred Nsubuga gasigadde mayonjo,”Dr Nambatya bwe yagambye. Agamba: Omuntu yenna alina enju mw’osula wadde muzigo nga kuliko olubalaza lema kugamba nti sirina ssente zigulira baana mata n’okugenda okusoma.

 birime ebimu abisimba ku busuwa Ebirime ebimu abisimba ku busuwa.

 Funa ekkutiya ya 500/-, teekamu ettaka n’obuyinja obutono wakati w’ekkutiya okuva wansi okutuuka waggulu olwo otandike okusimbamu akatungulu ku mabbali g’ekkutiya okugyetoolooza olabe bw’olema okufuna emitwalo 20 buli mwezi okuva mu kkutiya emu.

Mukomye okwenafuya mu mitima nti siyinza kulima nga sirina katale ng’ate buli kimu okuva ku nnyaanya, akatungulu , Green Pepper n’ebirala byonna obigula mu katale nga tolina wadde eppeera ly’otutteyo kutunda.

Bw’okola kino olwo obwavu ogenda kubugoba mu maka kubanga ebintu ebisookerwako ogenda kubeera nga tokyabiteekamu ssente. STRAW BERRY: Dr .Nambatya yawadde abalimi b’e Kiboga amagezi nti Straw Berry kye kimu ku birime mu kiseera kino ebisinga okubeera ku ttunzi kubanga buli kikolo kubeerako ebibala munaana, bw’obirimira mu kiyumba munda sizoni ate ebweru kubeerako 4. Bw’obeera n’ekiyumba kya ffuuti 10 ku 20 obugazi buli sizoni oteekwa okufuna obukadde okutandikira ku buna ate nga buli mwaka zibeera ne sizoni bbiri.

Dr. Nambatya yagambye nti omukyala yekka ayagala okuyiga Straw Berry bwe bazirima asobola okumukubira ku 0700 779715 ne bw’aba tazze ku ffaamu. AMAYUUNI: Muleke kulowooza nti mu byalo okulima amayuuni olina kubeera na kisenyi.

Funa ekidomola ekyayonooneka okisale oteekemu ettaka olisimbemu. Olwo buli ku makya n’olweggulo gafukirire olyoke olabe ejjuuni erikuumuuka bwe liva mu kidomola kino onoge ensimbi empya n’enkadde.” Wabula yabawadde amagezi nti ayagala okulimira awaka ng’ate by’olima bya kiragala, manya nti olina okusimba taaba okwetooloola ebirime ebyo kigobe emisota awaka. Mu mbeera y’emu yabawadde amagezi okukola bino byonna ng’oyigiriza n’abaana bo kubanga mu maaso obulamu tebusobola kubakaluubirira.

ENTE: Yabagambye nti ente mu byalo temukoma kulowooleza mu kufunako mata gokka wabula obusa bukola amasannyalaze, buvaamu ekigimusa, buvaamu eddagala eritta olusu oluwunya mu kaabuyonjo oba okuva mu nkoko abazirunda n’ebirala olwo n’osobola okufunamu. ENKOKO: Dr. Nambatya yasomesezza nti ssaawa eno enkoko esinga okuvaamu ssente ya kruloiler ate ng’egumira n’endwadde.

yagambye nti tokoma kulya magi n’okugatunda wabula tandika okwaluza amagi gano buli ggi baliggyako 150/- okulyalula ate akakoko n’okatunda 3,000 /- ak’olunaku olumu mu nnaku 21 zokka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiibi 220x290

Fr. Kiibi avumiridde abakulisitu...

FAAZA Deo Kiibi asinzidde mu Kitambiro kya Missa gyayimbye mu kisomesa ky'e Kasangati, n'alabula abatanawasa okusooka...

Takoze 220x290

Waswa Bbosa takoze nkyukakyuka...

OMUTENDESI wa ttiimu y’eggwanga eyabatasuussa myaka 23 afulumizza ttiimu etandika egenda okuttunka ne South Sudan...

Cahill 220x290

Tim Cahill akaabye, ng'asiibula...

Cahill yali muwuwuttanyi wa ntomo, ateeba ggoolo era nga yeesigamwako ttiimu y'eggwanga eya Australia mu mupiira....

Mutebile2 220x290

Mutebile aleese ebiwandiiko ebitakwatagana...

Ebiwandiiko ebimu obwedda biteereddwako emikono gy'abantu (signature) kyokka nga tekuli mannya gaabwe nga kino...

Atalo11 220x290

Omuwandiisi w'ebyapa gamumukidde...

AKAKIIKO akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka kongedde okuzuula emivuyo egyali mu kutunda ettaka lya famire ya Kisosonkole...