TOP

Baleese emmwaanyi ezitalumbibwa biwuka

By Edward Sserinnya

Added 24th May 2016

Baleese emmwaanyi ezitalumbibwa biwuka

Mwa1 703x422

Mukyala Mukiibi ng'alaga endokwa z'emmwaanyi

EKITONGOLE ekikola ku kunoonyereza ku mmwaanyi e Kituuza bakoze okunoonyereza ne bafulumya ebika by’emmwaanyi 7 nga zino tezikwatibwa kawuka kazikaza.

Emmwaanyi zino zikyali ku mutendera gw’okuzazaamu okuva mu nnassale ez’enjawulo mubitundu bya Uganda.

Akawuka akakaza emmwaanyi kyekimu ku bizibu ebinyigiriza abalimi baazo nga kasobola okulya omusiri 100 ku 100 omulimi n’atasigazaawo. Muky. Benadini Mukiibi omutuuze w’e Kingo e Kiteredde mu Lwengo agamba: Omulimu gwe yatandika faamu ya Kabaale Coffee Nursery era y’omu ku baawebwa UCDA obuvunaanyizibwa okulaba nga azazaamu emmwaanyi ate naye azigabire abalala bongere okuzizazaamu olwo balyoke bazigabire abalimi.

Mukiibi agamba nti, mu kusooka baamuwa ebikolo 100 nga bino bye yasimbamu ennimiro omusalwa obuti bw’ameza ‘mother garden’ olwo ne zigenda mu nnasale mwe bazikuliza.

Mukiibi ayongerako nti emmaanyi zino nga ziri mu nnimiro tezirumbibwa kawuka, kuba ye mu musiri oguliraanye waliwo n’endala endwadde naye ate zzo zino empya ze baamuwa tezirina buzibu bwonna.

Emmwaanyi zaakolebwa n’ekigendererwa okulaba ng’abalimi bawona akawuka akazirumba ne kakaza omuti gwonna. Robert Ssentamu owa Uganda Coffee Development Authority (UCDA) nga y’atwala agamba: Emmwaanyi zino eza layini omusanvu ezimannyiddwa nga Coffee Wilt Disease resistant (CWDr), kati zitandise okugenda mu balimi mpola, wabula abo abazeegulira mu nnasale gye ziba ziri.

Naye abalimi kye balina okumanya nti emmwaanyi zino we zaakolebwa akawuka akakaza obutabi aka Coffee Trig Borer (CTB) omutawaana gwako gwali tegunalabika, era ne zikolebwa nga tezikwatibwa akakaza ekikolo aka (Coffee Wilt), Naye bwo obulya obutabi busobola okukwata emmwaanyi zino. Omukisa oguliwo obw’obutabi busobola okuvumulwa, kyokka ate akakaza omuti tewabadde ddagala lyonna. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

See1 220x290

Hamza ne Rema baalaze kiraasi etabangawo:...

BULI eyabadde atuuka mu kifo omukolo gwa Rema ne Hamza ng’alabirawo ssente ezaayiiriddwaamu n’obutetenkanya. Baatimbye...

Yambala 220x290

Ebyambalo ku mukolo gwa Rema byamazeewo...

Patience Kentalo eyakuliddemu ttiimu eyayambazza Rema yagambye nti kibatwalidde emyezi mukaaga okulowooza n’okuteeka...

Wada 220x290

Obunkenke nga Hamza ayambaza Rema...

Akamwenyumwenyu kaabadde ka kiyita mu luggya omukyala bwe yazudde nti engalo ateeka ku nkyamu era n’amuwenyaako...

Tunda2 220x290

Abooluganda batabuse n’omuzzukulu...

ABOOLUGANDA batabuse lwa muzzukulu kutunda ttaka lyabwe okuli n’ebiggya nga tebamanyi.

Goba 220x290

Omukubi w'ebifaananyi bamugobye...

Aboolukiiko olufuga zooni ya Kazo Central 1 mu munisipaali y’e Nansana batabukidde Jamir Aligaweesa omukubi w’ebifaananyi...