TOP

By’oba okola okwongera omutindo ku mmwaanyi

By Herbert Musoke

Added 30th May 2016

OKUKOLERA awamu nga famire y'emu ku ngeri y'okutumbula n'okutwala mu maaso obulimi n'okulwanyisa ebbula ly'emirimu mu bavubuka.

Bara 703x422

Emmwaanyi embisi osooka kuzissa mu mazzi n’ozooza okusengejja ennamu ku zitaliimu mulamwa.

OKUKOLERA awamu nga famire y'emu ku ngeri y'okutumbula n'okutwala mu maaso obulimi n'okulwanyisa ebbula ly'emirimu mu bavubuka.

Mw. Abdallah Birungi Adyeri Mangdji atwala ffaamu ya Coffee Kasenda ku kyalo Kasenda mu ggombolola y’e Kasenda e Kabalore agamba nti omuntu ayagala okukulaakulana olina okukakasa nti famire yo ekwatagana bulungi era obayigirize okukola omulimu gw'okola.

“Okukola ne famire yange kye kimu ku bisinze okunnyamba okukulaakulanya ffaamu yange era wadde tugenze tukubiriza abalimi b'emmwaanyi abatuliraanye okutwegattako tusobole okufuna eddoboozi erya wamu, Coffee Kasenda Farm eddukanyizibwa nga bizinensi ya famire ng'okusalawo kwonna tukukolera wamu”, Birungi bw'agamba.

Annyonnyola: Ffaamu eno nze ngikulira ate abaana bange babiri nga bombi baasoma ne batikkirwa nabo bamaneja, mukyala wange y'akulira ebyensimbi era ffenna tufuna musaala ng'abakozi abalala.

Ono agamba nti kino kitangira enkaayana ezandibadde zibalukawo mu ngeri gye mukolamu emirimu ku ffaamu kubanga buli lw'okola okusalawo nga ggwe olwo abalala n'obasuubira kussa mu nkola mubeera mugenda kukaayananga.

Birungi alina yiika z'ettaka 3,000 kw'alina yiika z'emmwaanyi omuli ebitooke 300. Muno mulimu emizinga gy'enjuki 400 ate ne yiika endala 80 ez'ebitooke omutali kintu kirala kyonna.

 bakozi ba asenda faamu nga bayiwa emmwaanyi mu kyuma okuziggyako ekikuta Abakozi ba Kasenda Ffaamu nga bayiwa emmwaanyi mu kyuma okuziggyako ekikuta.

 

OKUTANDIKA

“Natandika okulima mu myaka gya 1970, kyokka nga mu kiseera ekyo nali nnima mmere nga kasooli n'ebirala. Naye byali bya kwekwasa kuba nali yinginiya ng'emirimu ngikolera mu Kampala.

Nga ndi mu Kampala nasisinkana mukwano kwange eyanjerega mu ngeri enzibula amaaso anti yaηηamba nti, “Birungi nze bwe nkutunuulira ku ttaka ly'olina, olinga enkima eyambadde ekikomo za zaabu ebuuka okuyingira ekibira eyigge ebibala!”.

Mu 2012 nayogera ne muganda wange eyali akola mu kkampuni ya Great Lakes Coffee ne mukwano gwange Mw. Ngabirano eyali akulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku by'emmwaanyi ekya Uganda Coffe Development Authority, eyampa amagezi n'endokwa 100,000.

Mu kiseera kino nalina yiika z'ettaka 3000 nga zino kitange yali yampaako yiika 600 nga tannafa ate nange ne ηηenda nga ngulayo okuziweza.

Wano natandika okusimba emmwaanyi kyokka nali njagala yiika nga 300 naye nga endokwa 100,000 ezaali zimpeereddwa zaali tezisobola kumalawo.

Saalina ssente mu kiseera kino ate nga tewali bbanka ewola mulimi, kwe kutunda ennyumba yange e Kasese ku bukadde 280 zonna ne nzissa mu nnimiro.

Mw. Ngabirano yampa amagezi okutandika okwemereza endokwa ezange okusobola okutuukiriza ekirooto kyange era natandika okumeza endokwa. Mu kiseera kino nina yiika z'emmwanyi ezisoba mu 300.

Ekitundu kyaffe kiri mu bbanga erisobozesa okulima ebika by'emwanyi byombi okuli Arabica ne Robusta kubanga embeera esobozesa ebika bino byombi okukula obulungi.

Kati nina yiika za Arabica 234 ne Robusta 67 naye ng'ekirooto kyange kya kuweza yiika 600. Emmwaanyi zino wadde zaakatandika okumpa nga kati nnaakazinogamu yiika bbiri zokka, nsobola okutwala konteyina bbiri oba ssatu buli sizoni kyokka nga nkakasa nti oluvannyuma lw'emyaka nja kuba nkubisaamu emirundi nga 10 mu ze nfuna kati nga Arabica yekka gwe nnoga.

Engeri gye tutalina busobozi bufukirira, tukozesa ennima nga tubibira ebikolo nga tukola omugo mu bugazi bwa ffuuti bbiri.

Kino kisobola okutereka liita z'amazzi 20-40 buli kikolo ekiziyamba okubeera n'amazzi agaziyisa mu kasana nga zirabika bulungi.

 irungi nganoga emmwaanyi Birungi ng’anoga emmwaanyi.

 

OMUTINDO

Okufuna mu mmwaanyi olina okukakasa nti okuuma omutindo kyokka ekyennaku, emmwaanyi za Uganda zigudde omutindo ku katale k'ensi yonna.

Okusobola okukuuma omutindo twakwatagana ne kkampuni ya Great Lakes Coffee ng'eno etwala emmwaanyi za Uganda n'amawanga ga Afrika agatali gamu ebweru era twakola nayo endagaano okutwala emmwaanyi zaffe.

Tulina n'abalimi abalala be twakwatagana nabo okutundira awamu. Emmwaanyi zaffe tuzisunsula okutandikira mu kunoga nga tunoga mmwaanyi mmyuufu zokka.

Buli kkiro enogerwa ku 200/-. Bwe zituusibwa awaka tuzooza ne tuzisunsula anti bwe ziyiibwa mu mazzi, ezitengejja zibeera nfu omuli ezitaliimu miramwa, ezaaliibwa ebiwuka n'ezikola emiramwa emiddugavu.

Zino ziyoolebwako ne zikola omutendera ogwokubiri ate ezisse wansi mu mazzi ze z'omutindo era ezikola omutendera ogusooka.

Oluvannyuma lw'okuzooza, tuzissa mu kyuka ekikozesa dizero ne tuziggyako ekikuta ky'oku ngulu ate ne tuddamu okuzooza okuziggyako ebiseerera ebizibeerako olwo ne zaanikibwa ku butandaalo.

Oluvannyuma lw'okukala era twongera okuzirondamu okukakasa nti omutindo tugukuuma anti emmwaanyi z'omutindo zisobola okukuwa ssente eziwera ku katale k'ensi yonna.

Tulina n'ekyuma ekipima obungi bw'amazzi mu mmwaanyi okukakasa oba zikaze bulungi ng'enkalu zirina kuba nga ziri ku 13.2, ssinga zisukka wano olwo nga twongera okuzaanika.

Oluvannyuma lw'okuzikaza ne tukakasa amazzi agazirimu nga geego, olwo nga tuzipakira okuzitwala mu katale.

Ffe ezaffe tuzeetwalira butereevu kye twagala n'abalimi abalala okutwegattako tusobole okufunamu nga twewaze abasuubuzi abatunyuunyunta nga buli sizoni nfuna obukadde mukaaga mu buli yiika.

 irungi ngalaga akuuma akapima amazzi agali mu mpeke yemmwaanyi Birungi ng'alaga akuuma akapima amazzi agali mu mpeke y’emmwaanyi.

 

EBITOOKE

Emmwaanyi zeetaaga ebisiikirize era nali mpeereddwa amagezi okusimbamu emiti kyokka nasalawo kusswaamu bitooke nsobole okusigala nga nfunamu anti emwanyi zitwala emyaka ng’etaano okufunamu ate ebitooke byanguwa.

Yiika zonna 300 nazissaamu ebitooke mu mabanga ga ffuuti 18X18 (buli mu layini z'emmwaanyi ssatu ossaawo layini y'ebitooke) ate nina ne yiika endala 80 nga za matooke gokka.

Mu kiseera kino buli mwezi nfuna 4,500,000/- nga zino ze nkozesa okusasula abakozi 100 abakola ku ffaamu yange.

Nsasulwa obukadde bubiri buli mwezi ne mukyala wange nga ye w'ebyensimbi afuna 1,500,000/- ate asembayo okufuna ssente entono afuna 100,000/-.

EBISOOMOOZA

Olw'okuba tuli mu kyalo, tulina ebitusoomooza bingi omuli entambula kubanga enguudo zaffe mbi ekivaako abasuubuzi okutudondola ng’etooke ligula 7,000/-.

Tulina ekizibu ky'amasannyalaze nga twandibadde twongera omutindo ku mmwaanyi zaffe. Tewali nsonga lwaki ntunda kkiro y'emmwaanyi mu Abamerika ku 5,000/- ate ne baleeta kuno kaawa ali mu 250gm ku 8,000/- nga tusobola naffe okumukolera kuno.

Amazzi tugasombera ku tulakita okugatuusa ku ffaamu ekitukaluubiriza. Enteekateeka z'omumaaso Njagala okutandika okukola ebintu ebiva mu mmwaanyi nga kaawa.

Njagala okwongera ku bungi bw'emmwaanyi ze nnina okutuuka ku yiika 600 okusobola okwongera ku bungi bw'emmwaanyi ze nkungula.

Njagala okussa wano ettendekero ly'abalimi mu bulimi bw'emmwaanyi okubawa obukodyo bw'okulima, okukuuma omutindo n'okunoonya akatale.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...

Noonya 220x290

Ofiisa gwe baakutte ku by'okutta...

OFIISA wa poliisi gwe baakutte ku bya Kirumira, amagye gamubuuzizza ebyaliwo mu kiro kya September 8, 2018; olunaku...

Kadas 220x290

Bannayuganda abasuubulira e Juba...

SIPIIKA Rebecca Kadaga agambye nti akitegeddeko nti gavumenti ya South Sudan eyagala kweddiza katale akaazimbibwa...

013 220x290

Okuwandiika aba LDU kutandika Lwakubiri...

OKUWANDIIKA abaserikale ba LDU mu Kampala n’emirirwano abagenda okwongera okunyweza eby’okwerinda mu ggwanga ...

Davidkyagambiddwamatovungayogerakumukolo 220x290

Bannakyaggwe mweyongere okuzaala...

SSEKIBOOBO Alex Benjamin Kigongo alagidde Bannakyaggwe okuzaala, n'okubugiriza Kabaka ng'alambula bulungi bwa nsi...