TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • NARO ezudde ekika ky'obummonde ekitalumbibwa bulwadde

NARO ezudde ekika ky'obummonde ekitalumbibwa bulwadde

By Edward Sserinnya

Added 30th May 2016

NARO ezudde ekika ky'obummonde ekitalumbibwa bulwadde

Bu1 703x422

Abakugu nga beekenneeenya ekika ky'obummonde ekitalumbibwa ndwadde

ABALIMI b’Obumondo mukitundu kya Kigezi omuli Disitulikiti y’e Rukungiri, Kisoro, Kabaale ne Kannungu basanyukidde ekitongole kya NARO nga kiyita mu ttabi lya Kachwekano Zonal Agricultural Research and Development Institute (KAZARDI) abakola okunoonyereza ku birime n’ebisolo okuleeta ekika ky’obummonde obutakwatibwa kirwadde kya Kiwotokwa.

Bino baabyogeredde munsisinkano eyabaddewo ku lwomukaaga ku kitebe kya KAZARDI e Kabaale, wakati w’abalimi ne Bannasaayansi abanoonyereza ku bummonde.

Wabula obuzibu obukyaliwo ku balimi okufuna ensigo zino walina okusooka okuyisibwa etteeka erikkiriza ebirime ebinoonyerezebwako munkola ey’okusimbuliza endagabutonde okuva mu kirime ekimu okudda mu kirala lirina okusooka okuyita.

Etteeka lino mukiseera kino likyali mu palamenti nga ssinga liyisibwa abakola okunoonyereza beteefuteefu okufulumya ekitooke ekitakwatibwa kiwtokwa na bulwadde bulala obukwata ebitooke, muwogo atekwatibwa kigave wadde okugengewala, obummonde obutababuka n’ebika ebirala ebirongooseddwaamu.

Naye wakyaliwo okutya mu bantu ndi ebirime bino biyinza obutaba birungi eri obulamu bwabwe, okukyua mu mpooma, okukula obulungi n’okuddamu okumera. Kyokka bannasaayansi bawa obukakafu nti buli kireme ekinafulumizibwa kijja kuba kyekeenenyezeddwa nga tekirina bulabe ku bantu, okukula mukiseera kyennyini, okusigaza okuwooma ate nga n’enkota katugeze nti ttooke esigala nnene.

Bino byebimu ku bwakubaganyiziddwaako abalimi e Kabale ku kika ky’obummonde ekipya kye baleese.  Dr. Alex Barekye akulira KAZARDI yagambye nti, twayise abalimi okugabana nabo emirimu egy’okunoonyereza ku bummonde balabe we tututuuse, kuba baba balima obummonde nga bulwala ekibabuko nga kino kibaviiraamu obumonde okufiirwa 60 ku 100.

Dr. Barekye yagambye nti, giini bazisimbulizza mu bummonde obukulira munsiko ne baziteeka mu bummonde obulimwa bulijjo abalimi, era bwe bwalimiddwa mu nnimiro emu obwateereddwaamu giini tebukwatibwa kibabuko ate obutaliimu bwonna ekibabuko kyabulidde.

Ye Dr. Andrew Kiggundu okuva e Kawanda, yagambye nti ensigo z’obummonde zino wadde zirongooseddwaamu era tezikwatibwa bulwadde naye tezisobola kutuuka ku balimi okutuusa nga palementi emaze okuyisa etteeka lya Bio-Tech and Bio-safety erikkiriza bannasaayansi okuta ensigo zino okugenda mu balimi.

Ssentebe w’e Kabaale Patrick Besigye Keihwa, yagambye nti Bannasaayansi bakyalina omulimu munene okusomesa abantu ku bye banoonyereza naddala ku nsigo eza GMO kuba abalimi abamu balowooza zirina obulabe ku bantu kuba abamu balowooza ze zireeta omugejjo mu baana, okulwaza kookolo n’ebirala, n’olwekyo basaanye okusomesebwa bategeera bulungi ku bikwata ku nsigo zino n’okubamanyisa nti tezirina mutawaana gwonna.

Karen Kisiizi omulimi w’obummonde e Bukinda mu Kabaale: Omulimu gw’obummonde mulungi era abantu bafunamu ensimbi ne basomesa abaana baabwe, naye ekizibu kye balina bwe bulwadde obubuwotolwa nga bakozesa eddagala lya ssente nnyingi ate olumu nga ffu. Kale bwe baba nga basfunye ekika ekitalumbibwa bulwadde kiba kijja kubakolera okukendeeza ku nsimbi ze basaasaanya mu kugula eddagala.

Yasabye n’abakulembeze okubakolera amakubo agaambuka mu nsozi gye balima obummonde banguyirwe okubutwala mu katale nga bukuze.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ka1 220x290

Carol Nantongo bamukoledde akabaga...

Omuyimbi Carol Nantongo bamusuddeko akabaga k'amazaalibwa n'akaaba olw'essanyu.

Bak1 220x290

Omukazi afiiridde mu dduuka lye...

Omukazi afiiridde mu dduuka lye

Kab2 220x290

Museveni atongozza okugaba bbasalee...

Museveni atongozza okugaba bbasalee Bunyoro

Tum2 220x290

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera...

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera ku kuggala Banka

Rem2 220x290

Bawambye omuwala mu Kampala ne...

Bawambye omuwala mu Kampala ne bamutta