TOP

Entangawuzi zigudde akatale abalimi ne bakaaba

By Musasi wa Bukedde

Added 7th June 2016

Entangawuzi zigudde akatale abalimi ne bakaaba

Nta1 703x422

Abalimi nga balaga entangawuzi ezibadibiridde

ABALIMI b'entangawuzi mu Butambala  basobeddwa  olw'ebbeeyi yaayo okweyongera okuseraba buli kiseera, Bagamba nti bakoze kyonna ekisoboka  omuli n'okwekolamu ebibiina ebibagatta  okunoonya  akatale kaazo akalungi  balemeddwa.

Ensawo yaazo  yavudde ku 800,000 bweyali egula mu mwaka gwa 2014 okutuuka ku Sh80,000 ne 100,000 ku misiri.

Moses  Mugerwa ow'e Mabanda mu ggombolola  ye Budde mu Kibibi yagambye  nti  bukya omwaka gutandika entangawuzi zeyongera  okukka ebbeeyi "Entangawuzi kyekirime mwetubadde tuweerera abaana ssaako n'okweyimirizaawo mu bulamu obwabulijjo  wabula nga kati tusobeddwa  olw'okubulwa abaguzi ssaako ne bbeeyi yaazo okubeera wansi ekisukkiridde,:

Mugerwa bweyagambye. Abalimi baagala  Gavumenti abanoonyeze  obutale abw'omulembe mu mawanga ag'ebweru okwewala okudondolwa.

Juma Musoke nga naye mulimu waazo e Kabasanda  yagambye   ssente zebaateeka mu nsigo tebasobola kuzijjamu ate ng'abalala bewola nzimbi okuva mu bibiina  bya SACCO  nga kati tebamanyi kyebagenda kukola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YAFULUMYE...

Tukulaze ebiri mu bubaka bwa Kabaka obwa Paasika, bw’avuddeyo ku balina obuyinza abasengula abantu ku ttaka.

Siiba 220x290

Abeekalakaasi e Sudan balaze Gav't...

Abeekalakaasi e Sudan balaze Gav't gye baagala

Langa 220x290

Baganda ba Bashir nabo babakutte...

Bannamagye abaawambye obuyinza e Sudan bakutte baganda ba Omar al-Bashir babiri abagambibwa nti b’abadde akozesa...

Namirembe1omulabiriziluwalirakityongakulembeddeabakrisitaayookutambuzakkubolyamusalabaa 220x290

Tekinologiya aleme kubeerabiza...

Tekinologiya aleme kubeerabiza Katonda - Bp. Kityo Luwalira

Katwe5 220x290

Dokita w’eddwaaliro lya IHK talabikako...

DOKITA mu ddwaaliro lya International Hospital Kampala (IHK) abuze mu ngeri etategeerekeka ekivuddeko akasattiro...