TOP

Bizinensi yange yaakulunda mbuzi ez’olulyo

By Herbert Musoke

Added 13th June 2016

Embuzi ennongooseemu nga Savannah zikula mangu naddala nga zirabiriddwa bulungi, zizaala abaana babiri n'okudda waggulu oluzaala ate zizaala emirundi esatu omwaka ate ennansi okuzitowa kkiro 10-15 kisobola okutwala emyaka ebiri.

Goat1 703x422

Tushemereire ng’agabirira embuzi ze

OBULUNZI bw'embuzi gumu ku mirimu egifuna kyokka bangi bagunyooma nga balowooza nti teziwera ate n'abaguzi babadondola.

George Tushemereire, omulunzi era omulimi ku kyalo Nkoma mu ggombolola y'e Lugusuulu e Ssembabule, agamba nti embuzi nsolo ezisobola okukugaggawaza n'okukuggya mu bwavu ssinga ozirunda mu ngeri yanjawulo ate ng’olina ekigendererwa.

Agamba nti ng'ensolo endala zonna, embuzi zeetaaga okulabirira obulungi, okuziriisa omuddo oguziwa ebiriisa omubiri bye gwetaaga, okuzijjanjaba n'okukyusa olulyo ofune olulyo olulungi olukula amangu era olugejja osobole okufuna akatale k'embuzi z'olunda.

Tushemereire agamba nti, “Mu kiseera kino nina embuzi ezisoba mu 400 ekika kya Savannah ne Boer nga zino zizitowa wakati wa kkiro 20 - 30 olwo ne nzitunda okutandikira ku 200,000/- enduusi ate enkulu zituuka ne 500,000/- kubanga embuzi zange za lulyo nga zizaala abaana 2-4 buli emu buli mulundi.

 mbuzi ennume ekika kya avannah ushemereire gye yagula okuwakisa embuzi ze Embuzi ennume ekika kya Savannah Tushemereire gye yagula okuwakisa embuzi ze.

 

Nsinga kutunda mbuzi nto kyokka ng’okuzifuna olina kuzeekwata, enkulu ntunda zikaddiye, ezizaala obubi n’ezirina emize.

Embuzi erabiriddwa obulungi, ku myezi ena ebeera etuuse okuwaka n’okutandika okuzaala wabula ng’ebintu ebirala byonna, okusobola okufuna mu bulunzi bw’embuzi olina kubukola nga bizinensi ng’ossaamu okubala ebitabo, okujjanjaba ng’okuziwa obudde okumanya embeera yaazo.

OKUTANDIKA

Nakulira mu famire ya balunzi era nakula nga ye bizinensi gye mmanyi. Nasoma okutuuka ku S4 e Kaabuwoko mu Rakai olwo ne ηηenda ku satifi keeti ez'enjawulo, bwe namaliriza ne mpeebwa obw'omuluka okuva mu 1997 naye era nga nnunda era wano nayongera okunyweza obulunzi.

Mu budde obwo nga tulunda nte ez'amayembe amanene, nga tulina nga 200 era nga mu biseera ebyo tewali bya kusiba ku ttaka okutuuka mu 1996-98 okusiba lwe kwatandika. Wano tulinawo yiika z'ettaka 200 nga kuliko n'eza baganda bange naye nga kitaffe yatulekera yiika 138 eddala ne tuligula nga yiika tugigula nga 250,000/- ne ligenda nga lyeyongera.

Luli twalundanga n'embuzi 50 ku 100 nga tewali azissaako birowoozo nga gye zisanga gye zisula mpozzi nga waliwo mugenyi azze gwe twagala okusalirako oba nga twagala okubeerako gye tutunda.

Mu 2003, natandika okulunda ente ez'amata kubanga ze twali tulunda tezaavangamu mata gawera. Ng'okufuna liita 20 olina kukama ente eziwera 40 naye bwe ntandika ente z'amata ne ndaba nga ndi mu bizinensi era ebintu bingi ebyakyuka naddala embeera z'awaka nga buli kiseera tubeera n'amata.

Ente ze nasookerako naziggya w'omukulu w'essomero lya Ntare High school, namugulako ennyana 6 ku 500,000/- buli emu.

 ushemereire ngali mu nte ze ezamata Tushemereire ng’ali mu nte ze ez’amata.

 

Zino zimpa liita 5-6 buli emu olunaku, bwe zaagenda zizaala ne ntandika okuggyawo ennansi era nga kati sirina nte nnansi yonna.

Mu 2014 nali ntuuse mu liita 160 kyokka natundako ente ezimu ne mpeza obukadde 24 ne ngulamu ettaka yiika 22 nga kati nfuna liita 140 mu nte 20 olunaku kyokka nga zonna awamu nina ente 100 ng’ez'amata nzirundira ku ttaka lye nagabana ku lya kitange yiika 70.

Muno nasalamu ebibangiriz bisatu, nasimamu ekidiba, yiika z'ebisagazi nziriikiriza ne ccaccu mu kasana ate ηηenda kulima omuddo omulala mu nteekateeka ya Gavumenti ey'okutuwa tulakita era zirabirirwa omukozi omu gwe nsasula 100,000/- omwezi n'abaana bange ne bamuyambako bwe babeera mu luwummula.

OKUSOMOOZEBWA

Okusoomoozebwa kwe tusinga okubeera nakwo bbeeyi y'amata eri wansi nnyo nga liita eri ku 350/- ate ku musana 500/-. Okulala y'enkola y'okuwakisa ente n'amazzi ag’olulyo, mu kiseera kino tetulina basawo beesigwa era eno y'ensonga lwaki tetugikozesa.

EMBUZI

Oluvannyuma lw'okutuula S4 mu 1994, nasalawo okutandika okulunda embuzi nga bizinensi. Nalondayo embuzi 20 okuva mu mbuzi ennansi ze twalina awaka okutandikirako bizinensi yange kubanga mu kiseera kino twalina ettaka ddene ate nga n'omuddo weeguli okuziriisa ne zikula nga nnungi.

Mu 2009, nafuna embuzi y'olulyo olulongoseemu ekika kya Savannah ne Boer ze nagula ku bukadde bubiri buli emu.

Zino zaali nnume ze nakozesa okuwakisa embuzi zange, mu kiseera kino nina embuzi ezisoba mu 400 nga za bika byanjawulo omuli; Savannah, Boers, Togenberg n'ennansi nga zino nzitunda okutandikira ku 200,000/.

Embuzi ennongooseemu nga Savannah zikula mangu naddala nga zirabiriddwa bulungi, ku myezi mukaaga zibeera zizitowa wakati wa kkiro 20 ku 30.

Zizaala abaana babiri n'okudda waggulu oluzaala ate zizaala emirundi esatu omwaka ate ennansi okuzitowa kkiro 10-15 kisobola okutwala emyaka ebiri.

Kino kitegeeza embuzi emu ekuwa abaana nga bataano omwaka olwo ssinga obeera n'embuzi ezizaala 20 nga zizaala mu kiseera kye kimu, mu mwaka obeera ofunye embuzi 100 ate nga maama w'azaalira omwana ogwokusatu, ogwasooka gubeera gutuuse nagwo okuzaala ekitegeeza nti omwaka gwokusatu we guggweerako obeera omaze okuweza ekisibo.

Embuzi zirya kumpi buli bikoola mu Uganda wabula totwala mbuzi zo kulya ng'omuddo gulyaliko omusulo.

Zitwale nga zimaze okuwera essaawa 5:00. Mu ngeri y'emu fuba okulwanyisa obulwadde mu mbuzi ng'oziwa eddagala eritta ebiwuka n'okwebuuza ku musawo buli kiseera.

Okusoomoozebwa mu kulunda mbuzi kwa babbi kubanga embuzi obutafaanagana na nte, omuntu asobola okugikwata n'agibaaga mu bwangu.

Ekirala, ensolo ez’omu nsiko ng'embwa, obulwadde naddala omusujja obutta embuzi nabyo bizibu.

EKITUNDU KIFUNYE MU KULUNDA EMBUZI

Tushemereire agamba nti ekitundu kino kyali kimanyiddwa ku bulunzi bwa nte kyokka bwe yatandika okulunda embuzi yasikiriza n'abalunzi abalala okutandika okuzirunda.

Mu kiseera kino alina abalunzi 200 mu disitulitiki eno abalunda embuzi nga buli omu alina embuzi ezisoba mu 350. “Bwe natandika okulunda embuzi nakizuula nga sigenda kusobola kufuna katale nga ndi nzekka era nayagala abalunzi abanninaanye okulunda embuzi ng'eno y'engeri yokka okugumya akatale kaffe n'okulaba ng'abaguzi tebatudondola.

Nakwatagana ne Gavumenti okuzaalisa n'okubunyisa embuzi z'olulyo eri abalunzi abalala okulaba nga nabo batumbula endyo zaabwe.

Ebibala by’enkolagana eno bingi kubanga Sembabule yali terabika mu ngeri gy'eyongera ku nkulaakulana n'ennyingiza y'eggwanga emyaka 15 emabega naye kati y'emu ku bitundu mu Uganda ebisinga okuvaamu embuzi,” bwe yagambye.

Okusinziira ku miwendo gya minisitule y'obulimi, obulunzi n'obuvubi, Sembabule yalina embuzi 75,000 ennansi mu mwaka gwa 2000 kyokka kati disitulikiti erimu embuzi ezisoba mu 200,000 nga ku zino 60 ku 100 nnongooseemu.

Bonny Kitaka, omusawo w'ensolo ng'akola ne Ssembeguya Estates, agamba nti embuzi ennume ekika kya Savannah nga nzungu ddala egula okutuuka ku bukadde bubiri ate enkazi 600,000/- kyokka engeri gye zikula amangu ate nga zizaala abaana abawera, ssente oziggyayo mangu.

Mu myezi etaano, embuzi eno ebeera esobola okuzitowa kkiro 45 nga nnamu ate ennyama n’evaamu nga 35 ekitegeeza nti obeera osobola okutunda embuzi yo ku 300,000/- kubanga kkiro y'ennyama y'embuzi egula 10,000/- .

 ushemereire alima nemmwaanyi Tushemereire alima n’emmwaanyi.

 

OKULIMA

Oluvannyuma lw'okulunda, nakizudde ntina nina okulima era mu kiseera kino nina yiika y'olusuku emu n'ez’emmwaanyi bbiri kyokka nga tezinnatandika kunogebwa bulungi.

Nina abakozi munaana abakola ku ffaamu yange yonna kyokka nga bano abasinga mbaggya Rukungiri kubanga abavubuka ku kitundu tebaagala kukola. Abakozi mbasasula okutandikira ku 100,00/- omwezi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kyapa1 220x290

Bagobye abakozi mu kitongole ky’ebyettaka...

Abadde akulira ebyamateeka mu BLB, Barnabas Ndawula agobeddwa wamu ne munnamateeka, Abdul Malik Bulondo.

Mugimu1 220x290

Eby’omugagga poliisi gwe yatwalako...

DOKITA omugagga w’omu Kampala abadde attunka ne poliisi emuddize ssente ze baamunya­gako asangiddwa ng’afudde mu...

Lyagondamarketinghisbamboocharcoalwebuse 220x290

Engeri ennyangu gy'okola amanda...

Kola amanda mu mabanda ofune ekiwera nga bw'okuuma obutonde bw'ensi

Kita 220x290

Kitatta waakumala wiiki endala...

EBYA Abudallaha Kitatta okuva mu kkomera byongera oku­wanvuwa buli olukya n’eggulo byagaanyi oludda oluwaabi bwe...

Kawooya2 220x290

Kitaawe wa Kirumira agobye abaserikale...

“Omwana wange baalemwa okumuwa obukuumi ng’akyali mulamu n’attibwa mu bukambwe kati okukuuma amaka ge nga yafa...