TOP

Abatunda n'okusuubula amatooke bafuna kiralu! Emiwendo girinnye

By Benadino Kate

Added 26th September 2016

ABALIMI n’abasuubuzi b’amatooke mu bitundu ebitali bimu basanyufu olw’emiwendo egiri waggulu ku katale.

Add1 703x422

John Matovu omulimi ate omusuubuzi w'amatooke mu katale k'e Kasubi ng'ali ku matooke g'atunda. Ebifaananyi bya Benadino Kate

ABALIMI n’abasuubuzi b’amatooke mu bitundu ebitali bimu basanyufu olw’emiwendo egiri waggulu ku katale.

Bagamba nti, ebbanga omusana lye gumaze nga gwaka amatooke gabadde matono mu nnimiro era ng’abagagula bagafuna ku bbeeyi ya waggulu kye bagamba nti bayambye okukola ssente.

 asaaga uwada omusuubuzi wamatooke mu katale ka afumbe ukasa ngali ku matooke gatunda  Tasaaga Muwada omusuubuzi w'amatooke mu katale ka Kafumbe Mukasa ng'ali ku matooke g'atunda.

 

John Matovu, omulimi w’omu Kidda e Masaka ng’alina n’omudaala gw’amatooke mu katale e Kasubi agamba nti, newankubadde omusana gubakosezza ng’abalimi kuba kikendeeza emmere mu nsuku tekibanyiga kuba bafuna ssente okusinga ng’amatooke gali ku mudibo.

Ettooke lye twali tutunda 12,000/- mu mwezi gwomukaaga mu kiseera kino tulitunda 20,000/- nga eriyo n’agagula 50,000/- okusinziira ku bunene.

matooke nga gawedde okutikkulwa mu katale ke asubi    Amatooke nga gawedde okutikkulwa mu katale k'e Kasubi.

 

Ensawo  eyali ku 120,000/-, kati egula 180,000/- ate abatunda emyera  balenga 5 oba 6 ne batunda ku 1,000/- okuva ku 10 oba 12.

Ekiseera kino tukifunyeemu era abaana baffe bazze bulungi ku masomero.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’