TOP

Abalamuzi batandise okusunsula omulimi asinga

By Herbert Musoke

Added 17th October 2016

ABALAMUZI mu mpaka z'omulimi asinga ezitegekebwa kkampuni ya Vision Group etwala ne Bukedde ne ziwangirwa ekitebe kya Budaaki mu Uganda, bbanka ya DFCU ne kkampuni y'ennyonyi eya KLM batandise okusala abalimi n'abalunzi abeetabye mu mpaka z'omwaka guno.

Limi1 703x422

Dr. Victoria Ssekitoleko ng’ayogera n’omukungu wa bbanka ya DFCU abassa ssente mu mpaka z’Omulimi Asinga. Emabega ye yali omubaka wa Budaaki mu Uganda, Alphons Hennekens.

ABALAMUZI mu mpaka z'omulimi asinga ezitegekebwa kkampuni ya Vision Group etwala ne Bukedde ne ziwangirwa ekitebe kya Budaaki mu Uganda, bbanka ya DFCU ne kkampuni y'ennyonyi eya KLM batandise okusala abalimi n'abalunzi abeetabye mu mpaka z'omwaka guno.

Okusinziira ku Dr. Victoria Ssekitoleko, akulira abalamuzi b'empaka zino, musanyufu kubanga buli mwaka oguyitawo empaka zino zeeyongera amaanyi era ku mulundi guno abalimi abaayingidde balaga nga balina bye bakola eby'amaanyi.

"Empaka z'omulundi guno ziraze abalimi n'abalunzi abakola kye baagala nga waliwo okweyongera kwa maanyi mu ngeri gye balabirira ffaamu zaabwe, okukuuma amakungula, okukuuma ettaka, okukolera awamu nga famire n'ebirala nga bino byonna byongera ku nnyingiza n'okufuna mu bulimi n'obulunzi", Dr. Ssekitoleko bw'agamba.

Abalamuzi baakutandika okugenda ku ffaamu z'abalimi n'abalunzi ku ntandikwa y'omwezi gwa November olwo omuwanguzi alangirirwe ku ntandikwa ya December omwaka guno.

Abalimi n'abalunzi abatannaba kwewandiisa bakubirizibwa okukikola basobole okufulumizibwa ku mikutu gya Vision Group egy'enjawulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...

Ganja2 220x290

Ebintu 15 by’okola n’oganja ewa...

dith Mukisa omukugu mu kubudaabuda abaagalana n’abafumbo akuwa ebintu 15 byoyinza okukola okusobola okuganja n'okunyweza...

Condoms 220x290

Kkondomu ezirimu ebituli zisattizza...

Bannayuganda abettanira kkondomu za Life Guard baweereddwa amagezi okwekenneenya kkondomu ze bagula nga tebannazikozesa....

Thumbnailunaiemerypoints 220x290

Martin Keown anyiizizza aba Arsenal...

Martin Keown, omu ku bazibizi abaayitimukira ennyo mu Arsenal era nga yali mu ttiimu eyawangula Premier nga tekubiddwaamu...

Gareth Bale ali ku yoleke

Gareth Bale ali mu kattu olw’abawagizi ba Real Madrid abaanyiize olw’okulaga nti ttiimu eno y’ekoobera mu bintu...