TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Batongozza enkola y'okusomesa abalimi ku ndwadde eziva mu kulya emmere erimu ebiragalalagala

Batongozza enkola y'okusomesa abalimi ku ndwadde eziva mu kulya emmere erimu ebiragalalagala

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd October 2016

ABALIMI abeegattira mu kibiina kya NOGAMU (abatafuuyira na biragalalagala) batongozza enkola y’okusomesa abalimi okulwanyisa endwadde eziva mu kulya emmere elimu ebiragalalagala.

Organ5 703x422

Abalimi ba NOGAMU nga balaga bye balima. EKIF: BENADINO KATE

Bya BENADINO KATE

.......................................................................................

ABALIMI abeegattira mu kibiina kya NOGAMU (abatafuuyira na biragalalagala) batongozza enkola y’okusomesa abalimi okulwanyisa endwadde eziva mu kulya emmere elimu ebiragalalagala.

Fredrick  Musisi  Kabuye, ssentebe w’ekibiina kino agamba nti abalimi bangi mu Uganda bettanidde okulima emmere nga bakozesa ebigimusa eby’ekizungu ebijjudde obutwa obukosa omubiri n’okuleeta endwadde.

“Twagala tusomese abalimi omugaso gw’okukuuma obutonde bw’ensi nga tutandikira ku mmere gye tulima nga tweyambisa ebigimusa bya nakavundira.

Tulina abalimi akakadde kamu n’ekitundu abalima nga tebakozesa bigimusa bizungu era tukyetaaga okumanyisa abalimi obulabe obuli mu kukozesa ebigimusa by’ekizungu kuba y’ensibuko y’endwadde.

Omwaka oguwedde twayingiza obukadde 46 obwa doola za Amerika okuva mu birime byaffe bino nga kati ekigendererwa  kulaba nga tuyingiza akawumbi kalamba buli mwaka, naye kino okukituuka ko tulina kwongera kusomesa balimi nkola eno gye tutandise.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wine 220x290

Baze andekedde omwana gwe twazaala...

OMUSAJJA anziruseeko n’andekera omwana gwe twazaala ng’aliko obulemu ng’agamba nti ewaabwe tebazaala bali mu mbeera...

Ssenga1 220x290

Mukyala wange yaba ki?

NNINA omukazi naye twegatta naye luutu emu yokka n’akoowa. Kino kiva ku ki? Ye mukyala wange yaba ki?

Afandelameckkigozingannyonyola 220x290

Poliisi yeegaanyi okukwata abakuba...

Poliisi yeegaanyi okukwata abakuba eza Bobi Wine

Yiga 220x290

Ebiwalirizza Paasita Yiga okuddukira...

PAASITA Yiga Mbizzaayo nga tannasitula kugenda South Afrika, yasoose kutunda makaage agali e Mmengo era gwe yagaguzizza...

Waaka 220x290

Embwa 10 ziridde omwana emisana...

EKIKANGABWA kibuutikidde abatuuze b’e Kyengera mu zooni ya Mugongo ‘B’ ekisangibwa mu Wakiso, embwa bwe zikkakkanye...