TOP

Akawuka akakaza emmwaanyi kasattiza ab’e Kayunga

By Saul Wokulira

Added 7th November 2016

PAUL Nsubuga omulimi w’emmwaanyi ku kyalo Nakatundu mu ggombolola y’e Kangulumira e Kayunga g’akaaba g’akomba olw’obulwadde obukaza emmwaanyi okulumba omusiri gwe nga kati gukala guggwaawo.

United1 703x422

Paul Nsubuga ng’alaga emmwaanyi ezitandise okukala.

PAUL Nsubuga omulimi w’emmwaanyi ku kyalo Nakatundu mu ggombolola y’e Kangulumira e Kayunga g’akaaba g’akomba olw’obulwadde obukaza emmwaanyi okulumba omusiri gwe nga kati gukala guggwaawo.

Ku bulwadde obuzikaza obwa ‘Coffee Bacterial Wilt’, kwegasseeko akawuka akakaza obutabi aka ‘Coffee Twig borer’ olwo ne gujabagira. Ku yiika mukaaga z’alina, ebikolo ebisoba mu 150 bifudde nga bino bw’obizza mu ssente nga buli muti agufunako kkiro 4 eza kibooko kitegeeza afiirwa kkiro 600 sizoni ate n’afiirwa 1,200,000/- ssinga aba atunze kibooko agula 2,000/- mu kiseera kino!

Yandibadde ekyo akigumira, wabula talina ssuubi lya bulwadde kukoma ku miti egyo. Ssinga bweyongera okusenkenya emmwaanyi ze ssente z’afiirwa zijja kweyongera.

Si Nsubuga yekka wabula ne balimi banne mu Kayunga balina ekizibu kye kimu, kyokka tekakoma Kayunga yokka wabula waliwo n’ebitundu ebirala obulwadde buno n’akawuka be kakaabya akayirigombe.

Akulira ebyobulimi e Kayunga Ann Bulya yagambye nti, akawuka kano kakyali ka mutawaana e Kayunga era n’awa abalimi amagezi batandike okulambula essamba zaabwe buli lunaku ng’obutabi obulwadde babumenyako ne babwokya.

Bulya yagambye nti mu ggombolola y’e Kayunga batandise okufuuyira musiri ku musiri okulaba nga batangira akawuka okwongera okusaasaana.

Muky. Bernadine Mukiibi omutuuze w’e Kingo e Kiteredde mu Lwengo, ye nnannyini wa Kabaale Coffee Nursery era y’omu ku baaweebwa ekitongole kya Uganda Coffee Development Authority (UCDA) obuvunaanyizibwa okulaba nga azaazaamu emmwaanyi ezitakwatibwa bulwadde bukaza mmwaanyi ate naye azigabire abalala bongere okuzizaazaamu olwo balyoke bazigabire abalimi okuzisimba.

Mukiibi agamba nti, mu kusooka baamuwa ebikolo 100 nga bino bye yasimbamu ennimiro omusalwa obuti bw’ameza ‘mother garden’ olwo ne zigenda mu nnasale mwe bazikuliza.

Mukiibi ayongerako nti, emmwaanyi zino nga ziri mu nnimiro tezirumbibwa bulwadde, kuba ye mu musiri oguliraanye waliwo n’endala endwadde naye ate zino empya ze baamuwa tezirina buzibu bwonna.

Emmwaanyi zaakolebwa n’ekigendererwa okulaba ng’abalimi bawona akawuka akazirumba ne kakaza omuti gwonna.

Kyokka waliwo n’abalimi abatandise okusimba emmwaanyi ezitakwatibwa bulwadde, kikulu okwebuuza ku mukungu wa UCDA mu kitundu akuyamba okufuna emmwaanyi ezo ezitakwatibwa buwuka.

Okulwanyisa obulwadde bw’emmwaanyi

Akulira ekitundu kya Buganda mu UCDA Lutaakome Ssentamu agamba: Ng’onoolwanyisa obulwadde buno, olina kusooka okuyiga okubwewala.

l Okwewala obulwadde temukozesa biso, enkumbi n’ebirala ebikola mu musiri ku bikolo ebirwadde n’ebiramu. Ssinga obikozesa ku kikolo ekirwadde olina okubiyisa mu jiiki oba mu muliro.

l Temulina kusiba mbuzi mu mmwaanyi kuba eyinza okutambuza obulwadde ng’erya ku kikolo ekirwadde nedda ne ku kiramu nakyo ne kirwala.

Kw’olabira ekikolo ekikwatiddwa obulwadde

l Olulimi lw’omu mmwaanyi luddugala ng’enziro olwo ne gutandika okusuula ebikoola.

l Obulwadde butandikira ku ttabi limu omuti ne bugenda nga guwotoka.

l Obuwuka bussaako obukoloboze ku muti gw’emmwaanyi n’enjatika ku muti l Bw’okolokota omuti guba muddugavu munda.

l Emmwaanyi eziba ku muti omulwadde tezikunkumuka wadde zikaze.

l Ssinga olaba ebyo, omuti ogwo gutemewo ogusigule n’oluvannyuma ogwokere mu kifo ekyo kyennyini.

Engeri y’okulwanyisa akawuka

Robert Ssentamu owa Uganda Coffee Development Authority (UCDA) nga y’atwala ekitundu kya Greater Masaka agamba:

l Emmwaanyi zino eza layini omusanvu ezimanyiddwa nga Coffee Wilt Disease resistant (CWDr), kati zitandise okugenda mu balimi mpola.

Zitundibwa mu batunda endokwa z’emmwaanyi abamu kuba Gavumenti tennatandika kuzigaba.

Naye abalimi kye balina okumanya nti emmwaanyi zino we zaakolebwa akawuka akakaza obutabi aka Coffee Trig Borer (CTB) omutawaana gwako gwali tegunnalabika, era ne zikolebwa nga tezikwatibwa akakaza ekikolo aka (Coffee Wilt), Naye bwo obulya obutabi busobola okukwata emmwaanyi zino.

Omukisa oguliwo obw’obutabi busobola okuvumulwa, kyokka ate akakaza omuti tewabadde ddagala.

l Ssentamu agamba: waliwo eddagala ery’enjawulo eritta obuwuka okuli Striker, mu liita 20 ez’amazzi oteekamu miiru 20 ), Confidor (liita ya tabula miiru 70 mu liita 20 ez’amazzi), olina okugattamu ekigimusa okugeza nga DI Grow oba Super Grow bino biyambako mu kukwasa eddagala. fuuyira emirundi ebiri oba esatu mu mwezi.

Waliwo eddagala eddala nga Dursban ono mukozese nga muka. Naye akola bulungi, kisaanye okufuuyira eddagala lino mu biseera by’enkuba. Bw’oba nga tonnafuuyira, olina okusooka okumenyako obutabi obuba bukaze kubanga ssinga obulekako kiba kitegeeza nti bw’ofuuyira eddagala teriyingira mu buti obukalu ate nga mubaamu obuwuka kitegeeza nti obuwuka obulekamu nga bulamu, n’olwekyo olina kusooka kubumenyako n’obwokya n’omuliro.

l Ekirala ekirina okukolebwa kwe kukendeeza ebisiikirize mu nnimiro kuba ennimiro erimu ebisiikirize ewa obuwuka buno obulamu ne buzaala ne butawaanya ennimiro.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lev1 220x290

Omuyimbi Abel Chungu Musuka mutaka...

Omuyimbi Abel Chungu Musuka okuva e Zambia ali mu ggwanga.

Bamboowebuse 220x290

Newumbe ekyama yakizuula mu mabanda...

Bwe nalaba amabanda nga mangi ewaffe e Mbale ne nnoonyereza kye nyinza okugakolamu ne nfuna ssente era nazuula...

Roja 220x290

Slick Stuart ne DJ Roja bogedde...

Slick Stuart ne DJ Roja bakafulu mu kutabula ekyuma mu ggwanga balaze ebibafudde ba Dj ab’enjawuulo.

Na1 220x290

Ebya Don Nasser bibi.

Don Nasser bomwonoonedde! akwattiddwa poliisi ku misango gy'obufere.

Mushroomharvestingwebuse 220x290

Asigala awaka lima obutiko weegobeko...

Omukyala akooye okutoolerwako n'okulangirwa ssente z'akameeza weekwate okulima obutiko tojja kwejjusa