TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Bw’olabirira enkoko mu kiseera ky’ebbula ly’emmere

Bw’olabirira enkoko mu kiseera ky’ebbula ly’emmere

By Musasi wa Bukedde

Added 19th December 2016

“Bw’oba onoofuna mu nkoko olina okuzaagala nga ggwe bwe weeyagala. Kino kitegeeza nti olina okuzirabirira mu ngeri esinga okuba ennungi olwo nazo zikuwe ky’oyagala. Olina okuzigema ng'osinziira ku kipande ekikuweebwa ng’oziguze, tolina kuyisa mu lunaku lwe baakugamba kuzigemerako. Ssinga ogoberera ekipande kino enkoko tezitawaanyizibwa ndwadde.

Ebbula1 703x422

Ben Lubega mu nkoko ze.

Bya TONNY KAYEMBA

OKULUNDA enkoko gwafuuka mulimu ng’emirala gyonna omuntu gy’akola okufunamu ensimbi. Bw’ogutandika ssente zivaamu mangu, kuba bw’oba olunze nkoko za nnyama otandika okuzitunda ku wiiki mukaaga, ez’amagi zibiikira ku myezi mukaaga.

Ben Lubega, omutuuze w’omu Kireku e Bweyogerere mulunzi wa nkoko z’amagi, akulaga engeri gy’oyinza okulunda enkoko n’ozifunamu mu bbula lya ssente eririwo mu ggwanga n’okuba ng’ebikozesebwa ku nkoko kati bya buseere.

Lubega alunda enkoko ezisoba mu 2,000 ng'azirundira ku bunene bwa poloti ya ffuuti 100 ku 75 . Omulimu guno agumazemu emyaka esatu.

“Bw’oba onoofuna mu nkoko olina okuzaagala nga ggwe bwe weeyagala. Kino kitegeeza nti olina okuzirabirira mu ngeri esinga okuba ennungi olwo nazo zikuwe ky’oyagala. Olina okuzigema ng'osinziira ku kipande ekikuweebwa ng’oziguze, tolina kuyisa mu lunaku lwe baakugamba kuzigemerako. Ssinga ogoberera ekipande kino enkoko tezitawaanyizibwa ndwadde.

ENTEEKATEEKA Y’EMMERE

Enkoko zange buli lunaku zirya kkiro 90 era emmere eno nze ngyetabulira. Ebirungo ne bulandi mbigula mu Kisenyi. Bbeeyi y’emmere y’enkoko yalinnya, ensawo eya kkiro 100 eyali egula 70,000/- kati egula 110,000/- sso nga ggwe bw’ogyetabulira eggweera mu 70,000/-.

Okugitabula ossaamu Maize bran buli kkiro 750/-, ebyennyanja 4,500/-, Cotton 1,800/-, Sun Flower 1,800/-, obusonko buli kkiro1200/-, Premix 8,000/- ng’ono ayamba enkoko okukula amangu n’obutalwalalwala.

Bw’oba otabula emmere y’enkoko ezibiika, bw’oba ne ccacu kkiro 100, muno tabulamu mukene 15, ensigo za ppamba 15, entungo kkiro 10, amasonko kkiro 30, premix haafu kkiro n’omunnyo hafu kkiro.

Nze buli lutabula ntabula kkiro 300 nga zino ziggweerawo mu nnaku ttaano.

Enkoko zange zibuzaayo wiiki emu zibiike, zirya nnyo kuba bw’otoziwa kukkuta tezijja kukuwa magi ge weetaaga.

Ku ssaawa 12:00 ez’oku makya nziwa emmere kkiro 90 ng'eno zigirya okutuuka ku ssaawa 8:00 ez’omu ttuntu. Bw’eggwaamu zisigala zinywa amazzi n’okuzannya oba okubojja ku muddo gwe nziwa.

Enkoko olina okuziwa emmere mu budde kwe wazimanyiiriza, ssinga obudde buno obusussaamu zitandika okwebojja n’okulwana ne zetta.

Enkoko 2,000 nsuubira okuziggyamu ssente ezitakka wansi wa bukadde 90. Buli lunaku nsuubira okuzifunamu ttule z’amagi 70.

OKUSOOMOOZEBWA

Endwadde z’oba teweetegekedde ng'ovudde kw’ezo ezigemwa nga ssennyiga zitawaanya nnyo enkoko. Zino olina okuzirwanyisa buli kiseera kubanga kwo okugema kulina we kukoma ate n’abasawo batono abasobola okukuyamba mu bwangu.

EBIRALA BY’OYINZA OKUKOLAMU EMMERE Y’ENKOKO

1. Kayinja/ Fia: Ebika by’ebitooke bino, singa otemako ettooke lyakwo nga lyekuzizza bulungi, gaanike ng’ogasazeemu okusobola okukala amangu n’oluvannyuma gatwale ku kyuma bagakube olwo olyoke otabulemu ebirungo ebirala.

2. Lumonde: Ono sooka omwoze, tomuwaatako bikuta, musalemu wakati okusobola okukala amangu oluvannyuma mutwale ku kyuma.

3. Omuwemba: Guno nagwo gusobola okukolera ddala nga ccacu, wabula guno omweru gwe basogolamu omwenge, gutwale ku kyuma bagukube n’oluvannyuma teekamu birungo birala.

4. Obulo: Ebisusunku by’obulo, nabyo bikola singa oba obirina.

Ebirala ebikola kuliko ebikuta by’amatooke ng’obyanise ne bikala bulungi n’obikuba ku kyuma, ekikanja ky’amalwa, ekikanja kya kkwete n’ekikanja ky’omwenge omuganda byonna bisobolera ddala okukola obulungi.

Muky. Margaret Nalubwama ow’e Nakawuka ng’alunda enkoko agamba nti, ye bw’alaba nga mmere y’enkoko erinnye, noonya muddo era gumuyambako okukekkereza kuba akawungeezi gw’aziwa gwokka.

Ate Muky. Nakanwagi Nsubuga ow’e Namulanda, alunda enkoko, ente n’embizzi agamba nti, ye yeekwata ebikuta by’amatooke era akubukung’aanya n’abutwala n’abukolamu ccacu.

Agamba addira n’obukuta bw’omunkoko n’abusiikako n’abutabula mu mmere y’ente n’embizzi era ne kimuyamba okukkekkereza ku ssente ng’emmere erinnye ebbeeyi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....