TOP

Baakutongoza ebika by’ebitooke 19

By Musasi wa Bukedde

Added 1st May 2017

BW’OGENDA mu katale essaawa eno, ettooke eryegasa osasula ssente ezitakka wansi wa 40,000/-, kino kitegeeza waakiri omulimi alitunda 25,000/- ku mugogo.

Web 703x422

Ab’ekitongole kya IITA nga balambula endokwa z’ebitooke enongoose mu ezimerusibwa e Namulonge.

Bya EDWARD SSERINNYA NE KATE BENADINO

Naye ssinga oba otemayo buli wiiki waakiri amatooke 10 oba ofuna ssente mmeka omwezi? Ekibi abalimi abamu tebateekamu maanyi okulabirira ensuku zaabwe, ate olumu ekibalema okukozesa by’ebintu ebibeetoolodde gamba ng’obusa, okubikka n’ebisubi, kalimbwe avudde mu nkoko n’ebirala.

Dr. Jerome Kubiriba, akulira okunoonyereza ku bitooke mu kitongole kya Gavumenti ekinoonyereza ku byobulimi (NARO) Kawanda agamba, “Twakizuula nti ebitooke bye tulina byetaaga okwongeramu amaanyi nga tulongoosa endokwa kubanga y’engeri yokka omulimi gy’asobola okufuna mu kulima olusuku.

Ebika by’ebitooke bye tugenze tunoonyerezaako bikula mangu, bibala nnyo ate bigumira endwadde.

Ekika ky’ekitooke ekirongooseemu kye twasooka okufulumya kiyitibwa M2 ne M9, twakigezesa mu 2009 e Kawanda era abalimi kati bakyettanidde.

Mu kiseera kino waliwo ebika by’ebitooke 48 ebirina okugezesebwa, naye 25 byo twatandise okubigezesa. Tusuubira nti ku bino, waakiri 19 bijja kukkirizibwa mu balimi.

Nga tetunnafulumya kika kiggya, tusooka kwebuuza ku balimi anti be baba bagenda okubirina nga ssinga babigaana tuba tuteganira bwereere.

Ssentebe w’ekitongole kya IITA mu mawanga g’Obuvanjuba bwa Afrika, Dr Vicent Manyong okuva e Tanzania, agamba nti, okukolera awamu ng’ebitongole ebinoonyereza ku byobulimi y’engeri yokka gye tusobola okwongera ku bungi bw’amatooke ge tufulumya.

Innocent Ndyetabura okuva e Tanzania yagambye nti, Uganda ne Tanzania balina bingi ebibagatta ku nnima y’amatooke ng’ekimu ku byo ensi zombi zigalima okugalya ng’emmere n’okugafunamu ensimbi.

Endwadde ezitawaanya ebitooke okuli obuwuka obusirikitu obulya emirandira, kayovu, kiwotokwa n’ebirala nabyo gyebiri ekitegeeza nti ssinga wabaawo okunoonyereza okw’awamu ebizibu basobola okubisaliramu awamu amagezi.

EBIRUUBIRIRWA

Dr Jerome Kubiriba agamba eyakuliddemu pulojekiti eno ey’okutumbula ennima y’ebitooke ey’omulembe wano mu Uganda (Agronomy) ate nga yaakukola n’e Tanzania agamba pulojekiti yaakumala emyaka ena nga yaakumalawo doola obukadde 14, mu za Uganda bwe buwumbi 51 n’obukadde 100.

Ebitundu ebirondeddwa mu Buganda bali mu Nakaseke, Ankole, oludda lw’olusozi Rwenzori ne Kirimanjaro.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pansa 220x290

Stecia Mayanja ddala muzito oba...

HAJATI Faridah Mubiru manya Stecia Mayanja owa Kream Production ennaku zino alina engeri gy’agezze ate nga ne Sharia...

Dvq8ouzwkaakba8 220x290

Awagidde eky’okusimbawo Museveni...

SSENTEBE w’amatabi ga NRM agali ebweru wa Uganda, Al Haji Abbey Walusimbi awagidde ekyasaliddwaawo akakiiko ak’oku...

Letter002pix 220x290

Abaserikale ba poliisi y'oku mazzi...

ABASERIKALE ba poliisi erawuna ennyanja bataano bagudde mu mazzi eryato mwe babadde batambulira nga bali ku mirimu...

Tega 220x290

Bazzukulu ba Ssekabaka Ssuuna batabuse...

EBY’ETTAKA ly’e Lubowa ku lw’e Ntebe gavumenti ly’eyagala okuwa yinvesita azimbeko eddwaaliro ery’omulembe byongedde...

Kakiiko 220x290

Abaana ba Muteesa bongedde bwiino...

OMULANGIRA David Wassajja azzeeyo mu kakiiko k’Omulamuzi Catherine Bamugemereire ku by'ettaka ly’e Mutungo eryali...