TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Engeri gye nfuna 500,000/- mu nva endiirwa buli wiiki

Engeri gye nfuna 500,000/- mu nva endiirwa buli wiiki

By Benadino Kate

Added 5th June 2017

OKULIMA enva endiirwa kye kimu ku bintu abalimi bye batatera kwettanira naye ate nga mulimu ssente bw’osalawo nti ogenda kuzirima ng’omulimu.

Enva1 703x422

Nsamba ng’alaga engeri gy’afukirira enva endiirwa wamu n’ebibala. Ezimu azirimira mu ‘Green house.’

KKAMPUNI ya Vision Group efulumya Bukedde, ekwataganye ne bbanka ya DFCU, ekitebe kya Budaaki mu Uganda ne kkampuni y’ennyonyi eya KLM okunoonya omulimi n’omulunzi asinga mu Uganda omwaka gwa 2017.

Abanaavuganya mu mpaka zino mujja kutuweereza amannya gaabwe ku omulimiasinga@ newvision.co.ug oba 0752628931 tubatuukirire tubawandiikeko buli Mmande.

BENADINO KATE leero aleese Christopher Nsamba ow’e Namulonge ng’alaga engeri okulima enva endiirwa gye kuyinza okukufunira.

 samba ngafukirira enva eziri mu bbeedi Nsamba ng’afukirira enva eziri mu bbeedi.

 

OKULIMA enva endiirwa kye kimu ku bintu abalimi bye batatera kwettanira naye ate nga mulimu ssente bw’osalawo nti ogenda kuzirima ng’omulimu.

Osobola oyingiza ssente buli lunaku obutafanaganako ng’abalimi alima ebintu ebirala kubanga abasinga obungi bakungula buli luvannyuma lwa sizoni.

Christopher Nsamba 64, omutuuze w’e Buso Namulonge mu ggombolola y’e Busukuma mu disitulikiti y’e Wakiso mulimu wa nva ndiirwa n’ebibala by’agamba nti abyenyumirizaamu kubanga buli luvannyuma lwa nnaku bbiri ayingiza ssente.

Nsamba agamba, “Namala ebbanga lya myaka etaano nga ndi mupakasi ku ffaamu y’omugagga omu naye nga ne bwe nkola ntya ssente teziwera kubanga nali nsasulwa kitono.

Nali neegomba abantu abalima ebintu ebyabwe kubanga nalaba ng’omwami ono gwe nali nkolera ng’ayingiza ssente nnyingi ate nga ffe abakozi tufuna kitono.

Newankubadde nafunanga ssente ntono nalwana nnyo okulaba nga ntereka era emyaka etaano bwe nagiweza ne nsuulawo omulimu ne ngula ettaka ne ntandika okulima.

Saasooka kulima nva wabula oluvannyuma nakizuula nti enva endiirwa bye bimu ku bintu ebitunda ennyo ate nga ne bw’ogenda mu butale bazaagala nnyo ate ng’abalimi abazirima batono bw’ogeraageranya n’abalima ebintu ebirala.

zamba ngatereeza obuguwa ennyaanya kwe zirandiraNzamba ng’atereeza obuguwa ennyaanya kwe zirandira.

Kale natandika okuzirima era kati mmaze emyaka egisukka mu 10 nga nzirima.

Ffaamu yange eri ku bunene bwa yiika munaana ng’ekitundu ekisinga obunene nnimirako nva ndiirwa ate awalala ne nnimirako ebibala.

Nnima enva omuli Nakati, ejjobyo, emboga, brocolli, Green pepper, pakchoi nga zino nva za Bachina, Sweet pepper n’ebika ebirala.

Ebibala okusinga nnima entuntunu, enkenene n’amapaapaali era buli luvannyuma lwa wiiki nnyingiza ssente ezitakka wansi wa 500,000/- nga buli kimu kivuddeko.

ENNIMA Y’ENVA ENDIIRWA

Nsamba agamba: Nnima ebika by’enva endiirwa bingi naye bwe mba sinnasimba nsooka ne nkola bbeedi nga zino sizikolera wansi ku ttaka wabula mpanika obukebe waggulu obuyitibwa ‘plug play’ ku bitandaalo ne nteekamu ettaka eriddugavu ate nga mmaze kulifumbako.

Oluvannyuma nteekamu ensigo, ekinkozesa kino kwe kulaba nga ntangira obuwuka obutawaanya ensigo naddala nga ziri wansi ku ttaka.

Bwe zimala okumera nga nsimbuliza olwo nga nzitwala mu nnimiro eba etegekeddwa. Olw’okuba enva zino zikula mangu, mu wiiki bbiri ebbugga mba ntandise okulinoga era ebika ebisinga obungi mbikungula mu bbanga lya mwezi gumu gwokka okuggyako emboga ezimala emyezi esatu ate nga nazo nfuba okulaba nga tezinzigwako.

Bwe mba ηηenda kusimba, nsooka ne nteekamu obusa mu binnya nga bwe nkozesa ng’ebigimusa ate era nfuba okulaba nga nfuuyira nnyo okwewala endwadde n’ebiwuka nga tebinnayingirira nnimiro yange.

Enva ezimu nga Sweet Pepper, ennyaanya, Green Pepper ebyo okusinga mbirimira mu Green shade kubanga bitawaanyizibwa nnyo omusana n’obuwuka ate nga wano kiba kyangu okubyewala.

EBIBALA

Nnima nnyo enkenene era zino nzirimira ku yiika bbiri ate nga nnina ne ze nsimba mu buveera ne nzikolera ebitandaalo.

Enkenene nzisimba ng’ebirime ebirala era nazo nsooka kuzikolera bbeedi oluvannyuma ne nzitwala mu nnimiro oba ne nsimbuliriza mu buveera.

Enkenene zimala emyezi munaana okukula era yiika emu ngikungulamu kkiro 20 buli luvanyuma lwa wiiki.

Buli kkiro ngitunda 20,000/-. ηηenda okumaliriza okubala buli kimu nga nsobola okufissaako 250,000/- buli wiiki mu yiika y’enkenene.

Bw’oba ozirabiridde bulungi nga n’embeera y’obudde nnungi nsobola okukungula okumala ebbanga lya myezi mukaaga.

Nima amapaapaali n’entuntunu nabyo ne mbifunamu ssente entonotono era buli wiiki nkungula entuntunu.”

 beedi bazikola ku bitandaalo Bbeedi bazikola ku bitandaalo.

 

OKUKUUMA OMUTINDO

Nsamba agamba nti bw’amaliriza okukungula enva okuva mu nnimiro, azituukiza mu kifo kye yategekawoekiyitibwa ‘Park house’ .

“Olwo ne tuzirongoosa bulungi oluvannyuma ne tuzaawulamu emitendera egy’enjawulo, ne tuteeka ku minzaani ne tuzipima.

Olw’okuba tukungula lwaggulo olumaliriza nga tuziteeka mu firiigi gye twazimba nga tweyambisa amanda agafumba ge tugenda tufukirirako amazzi olwo n’ereeta obunnyogovu.

Bwe bukya nga tutikka nga tugenda mu butale gye tutunda enva zino wabula ziba nga ze twakakungula kubanga tuzisuza mu kifo nga kinnyogoga bulungi.

Ntunda mu butale obw’enjawulo omuli Nakasero, Kaleerwe n’obulala ate era ngabira ne wooteeri ez’enjawulo mu Kampala wabula akatale katandikira waka kubanga abantu b’ekitundu bazigula nnyo.

Buli wiiki nkungula emirundi ebiri ne kinnyamba okutwala ebintu ebirungi ku katale ate nga bitegekeddwa bulungi.

OKUUMA EBITABO

Mpandiika buli kintu kye nkola ku ffaamu yange. Bwe mba ngiwa bbeedi mmanya obungi bw’ensigo ze mba nsimbye era ne nziwandiika ne ssente ze mba nsaasaanyizza ku mulimu guno gwonna.

Olunaku lwe mba nziyiye nalwo nduwandiika, kino kinnyamba okupima ebbanga lye mba ηηenda okukolera mu buli kintu.

Ssente zonna ze mba nkozesezza okugula ebyetaagisa nga eddagala n’ebirala nziwandiika era bwe ntuuka okukungula nzawulako ne mmanya obungi bwa ssente ze mba nkozesezza awamu n’amagoba ge mba nfunye mu nnimiro yonna.

Kino kinnyambye nnyo kubanga mmanya loosi ze mba nkoze awamu na magoba ne nsobola okwongera okwetegeka obulungi bwe mba nsimba ennimiro endala.

Okulima enva nakufuula mulimu kubanga sirina kintu kirala kye nkola kubanga ssente zange zonna nziggya mu bibala n’enva.

ABAKOZI

Nkozesa abakozi bangi naye nga ab’enkalakalira nninako basatu abasigadde nkozesa ba lejjalejja.

Ku basatu bano nninako akola ogw’okufuuyira, ono y’alina okulaba oba ebyuma bye tufuuyiza biramu, firiigi ennyogoga bulungi, amazzi mu bidiba mwegali obudde bwonna kubanga nze sirinaako kiseera kye nnimiramu ka gube musana oba nkuba.

Ababiri bannyambako mu kutambuza emirimu emirala egikolebwa ku ffaamu eno ate bwe nnyambibwako n’abantu bange ab’awaka.\

OKUSOOMOOZA

  1. Enva zeetaaga ssente ezizirabirira nga weeziri kubanga zirumbibwa endwadde nnyingi awamu n’ebiwuka ebiziyigganya.
  2. Mu biseera eby’omusana, waliwo amazzi lwe gakendeera mu bidiba ne nsanga obuzibu bunene ate nga mba nnina okulima.
  3. Ebyuma ebikozesebwa okufukirira bya ssente nnyingi okubigula ate nga byetaagisa okusobola okulima obudde bwonna.
  4. Enva endiirwa zirumbibwa nnyo ebiwuka n’endwadde ezitali zimu era bino bintawaanya nnyo kubanga waliwo lwe mba sirina bulungi ssente.
  5. Nsanze obuzibu bw’eddagala n’ensigo ebifu era binkosezza nnyo kubanga waliwo lwe mbigula ne bitankolera kye njagala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Afcon16 220x290

Olugendo lwa Uganda Cranes okugenda...

Olugendo lwa Uganda Cranes okugenda mu AFCON2018 e Cameroon.

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!