TOP

Buli myezi 6 ntunda ente 20

By Edward Sserinnya

Added 3rd July 2017

Kasita okola bizinensi nga tolina bitabo kiba kitegeeza nti togenda kwawula magoba ku z’oteekamu. Awo osigala olowooza okola oba tokola?

Kakooza1 703x422

Kakooza ng’agabirira ente ze.

KKAMPUNI ya Vision Group efulumya Bukedde, ekwataganye ne bbanka ya DFCU, ekitebe kya Budaaki mu Uganda ne kkampuni y’ennyonyi eya KLM okunoonya omulimi n’omulunzi asinga mu Uganda omwaka gwa 2017.

Abanaavuganya mu mpaka zino mujja kutuweereza amannya gaabwe ku omulimiasinga@newvision.co.ug oba 0752628931 tubatuukirire tubawandiikeko buli Mmande.

EDWARD SSERINNYA leero alaze Charles Kakooza ow’e Gomba ng’akubalira bw’afuna mu nte. Omwaka atunda ente 40 zokka n’afunamu.  

OBULUNZI kye kimu ku bintu ebisobola okukuyamba okukyusa embeera yo, era lino ly’ekkubo Charles Kakooza omutuuze w’oku kyalo Buwanguzi mu Gomba, nnannyini ffaamu ya Tukwatampola Mixed Farm ly’akutte. Alunda ente, embuzi, alima olusuku, ennyaanya ne kasooli.  

ENNYINGIZA

Kye ntunuulira nga nnunda ente zange kwe kutunda ennyama, mu kiseera kino nnina ente 50, kyokka nakitwala nga buli luvannyuma lwa myezi mukaaga nnina okutundako ente 20.  

Buli nte ngitunda kakadde n’olumu okusingawo ne mba nga nfuna obukadde 20 ate oluvannyuma lw’omwaka mba nnina obukadde 40 ng’eno y’engeri gye nasobola okukola okugula ttipa ku bukadde 50 gye nkozesa emirimu gyange n’egya ffaamu.  

Oli ayinza okwebuuza mbeerawo ntya okumala emyezi mukaaga nga siyingizza ssente, wabula sirunda nte zokka, nnima bintu ebirala okuli olusuku ku yiika emu, nnina embuzi 30 okwo gattako okulima kasooli.

Bino mbifunamu ssente ezirabirira awaka ne ffaamu yange.  Ate okwo ngattako omulimu gwange ogwa lejjalejja okulaba nga nfunayo ku ssente.

OBUYIIYA

Ekimu ku binnyambye okwongera okufuna mu nte ate obusa buno mbukolamu ebigimusa, mbusimira ekinnya ne buvunda ne mbuggyamu nga lifuuse ttaka olwo n’embutwala okubuteeka mu bitooke n’emmwaanyi bye nnima ne kinnyamba okukekkereza ssente ze nandikozesezza okugula ebigimusa.

Ate kati ngenda kutandika okubukolamu amasannyalaze nkendeeze ku nku ze tukozesa awaka kiyambe n’okukuuma obutonde bw’ensi.  

Obugazi bw’ettaka

Ndi ku ttaka lya yiika munaana, naligula ku ssente zange wabula kuno nnundirako ente 50 nga nzongerezaako okuzinoonyeza omuddo nga nkozesa ttipa yange.

Kuba ekifo si kigazi nnyo naddala bwe kituuka mu biseera eby’omusana mba nnina okwongera okunoonya omuddo, newankubadde nga nnina enteekateeka okutandika okukola sayiregi.

Nninako yiika y’olusuku nga muno natabikamu n’emmwaanyi olw’okuba ettaka teryagala nnyo bitooke kyeva ntaddemu emmwaanyi nkyuse mpola okuva ku bitooke okudda ku mmwaanyi.  

Okuyamba abalala

Ku ffaamu nkozesa abakozi munaana, ku bano bataano babeerawo bankalakkalira okwo gattako abalala abajja nga waliwo emirimu. Ebitundu ebyetooloodde ffaamu nze mbigabira amata.  

Ngenda nzibula abantu amaaso nti okulunda kulimu ssente era abamu batandise okulunda nga bandabirako, kino kimpa essamyu kuba n’abavubuka abasikira ettaka ne balitunda baba tebajja kukikola nga balabye nti omuntu asobola okutunda ente n’afunamu ssente ezigula pikipiki oba mmotoka gy’aluubirira okufuna ng’atunze ettaka.  

Okubeerawo kwa ffaamu

Ffaamu yange ngiddukanya ne mukyala wange, era amanyi buli kimu ekiba kigenda mu maaso.

Asobola okukozesa abakozi nga siriiwo, kino kinnyamba nange okufuna obudde obutambula okukola emirimu emirala.

Kino kimpa essuubi nti ne bwe mba siriiwo asobola okuddukanya ffaamu n’ensangawo ssente.

Sikozesa ddagala zzungu nti nfuuyira, mu nnimiro mwonna nasimbamu emiti okuli emisizi, emituba n’ebika ebirala.

Nninako ekitundu ekimu ekiri ku kasozi, kuno ntemako engegere okusobola okukwata amazzi, byonna mbikola okulaba ng’ettaka teridduka n’okwongera okukuuma obutonde bw’ensi.  

Obutale

Buli kye nnima ewange nkitundira ku nnimiro kubanga akatale kansanga waka ate ebbanga lye mmaze nga mbitundirawo nga ndaba sikola loosi, noolwekyo kye nva nsalawo okutundiranga ebintu bino ku ffaamu.

N’ente lwe ngenda okutunda ntundira wano, okugeza lwe nsembye okutunda nazitunze ku Eid naye zonna baazinonye waka. Kale ekyo sikifunamu buzibu bwonna.

Okutereka ebikunguddwa

Sirina nnyo bintu bye ntereka okuggyako kasooli, ono namukolera ekyagi. Olw’okuba mukungula ng’akatale kali wansi, ntera okumutereka ne nninda akatale ate n’atafa.

Waliwo n’obuveera bwa ‘Pics Bag’ olumu ntereka mu buno kasita okateekamu emmere ey’empeke n’osiba n’onyweza bulungi tefa, ekikulu ekirina okubaamu emmere ebaamu terina kuyitamu mpewo awo obeera ogimaze.

Okukuuma ebitabo

Kasita okola bizinensi nga tolina bitabo kiba kitegeeza nti togenda kwawula magoba ku z’oteekamu. Awo osigala olowooza okola oba tokola?

Buli kimu kirina we nkiwandiika, ssente ze nteekamu ne ze nnyingiza, ente, embuzi n’ebitooke byonna mbijjuza mu kitabo kyange.

Noolwekyo mmanya buli kintu ssente ze kiyingiza n’okufulumya ne bwe ziba ntono zitya era ziwandiikibwa.

Okufuna amagezi

Kizibu okuddukanya ffaamu nga tofunye magezi, ngenda nkyala ku ffaamu z’abalala okukoppa ne ndeeta amagezi era ne nnyongera okukyusa ebintu.

Bwe mpulira omusomo ku ggombolola oba ku Disitulikiti nga gukwata ku bulimi mba nteekwa okugenda okusoma ate emyoleso nagyo sigisubwa okugeza ogwa Harvest Money ogwali e Namboole naliyo era ne mbaako bye njigayo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kibowa13webuse 220x290

Abakyala mwekolemu ebibiina mufune...

Abakyala b'e Mukono bakubiriziddwa okwekolamu ebibiina bafune ku ssente za Gavumenti ezitaliiko magoba n'okuwagira...

Acaya1webuse 220x290

Omuyizi akoze mmotoka ne yeewuunyisa...

Omuyizi Francis Ocaya akoze mmotoka ne yeewuunyisa Ababaka ba Palamenti ne bamusuubiza omulimu

Abamukubamusigansimbiabataddemuensimbiokuzimbazikabuyonjongabawayaamunabamukubaanawebuse 220x290

Temusimbira nkulaakulana kkuuli...

Abagirimaani bazimbidde essomero ly'e Ntenjeru kaabuyonjo ey'omulembe

Omulyangogwambabaziogwateeredwaakoebyokoolawebuse 220x290

Ebigambibwa okuba ebyokoola bisasamazza...

Omusaayi ogumansiddwa ku luggi lw'omutuuze nga kuliko ebbaluwa etiisatiisa okufa okumusemberedde bisattizza ab'e...

Abolukiikolwamukonodevelopmentforummdfngabatandiseokukolaemirimugyabwe 220x290

Olukiiko oluyamba Mmeeya okukulaakulanya...

Olukiiko olw'okuyambako Mmeeya w'e Mukono okukulaakulanya ekibuga lusomeseddwa ku nkola y'emirimu gyalwo