TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Abalimi b'emmwaanyi e Bukomansimbi balaajanidde UCDA

Abalimi b'emmwaanyi e Bukomansimbi balaajanidde UCDA

By Musasi wa Bukedde

Added 7th July 2017

Abalimi wamu n’abasunsuzi b’emmwaanyi e Bukomansimbi bakukkulumidde ekitongole ekivunaanyizibwa ku mutindo gw’emwanyi mu ggwanga ekya UCDA olw’obukwakulizza bwe kyabataddeko.

Omubakakiyinginabalimibemwanyi 703x422

Omubaka Kiyingi ng'ali n'abalimi. EKIF: PHIONA NANNYOMO

BYA PHIONA NANNYOMO

Bagamba nti obukwakkulizo buno bwandiba n'ekigendererwa okubalemesa bizinensi y’okusuubula emmwaanyi sso nga ate mwebajja ejjamba.

Obumu ku bukwakkulizo obwateereddwa ku balimi bano kuliko; okuzimba awakung'anyirwa obukuta bw’emmwaanyi ezisunsulibwa, okuzimba ebyuma ebituukanye n’omutindo (John Gordon) olwo ebikadde bisuulibwe ettale.

Bino byona abalimi baabyogeredde mu lukungana olwakubirizibbwa omubaka wa Bukomansimbi South, Deo Kiyingi n'ekigendererwa ky’okusala empenda okutumbulamu ekirime ky’emmwaanyi abalimi baganyirwemu.

Ye omubaka Kiyingi yawadde abalimi amagezi nti balina okugoberera amateeka g’ekitongole omuli okunoga emmwaanyi ezikkirizibwa mu mateeka, okwewala okwanika emmwaanyi mu ttaka olwo basobole okuganyirwamu.

Yabagumiza nga ensonga eno bw'agenda okugitwalira bekikwatako ekolebweko bunnambiro.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nagiriinya1nu 220x290

Eyaliko yaaya wa Nagirinya bamukutte...

ABEEBYOKWERINDA bongedde amaanyi mu kunoonyereza ku batemu abaawamba oluvannyuma ne batta omuwala Maria Nagirinya....

Shecraneswebnew 220x290

She Cranes yeetegekera za Afrika...

Ttiimu y'eggwanga eya She Cranes etandise okwetegekera empaka za Afrika ezitandika omwezi ogujja e South Afrika...

Do 220x290

Poliisi erondoola aba boda 2 abaamanya...

ABAVUNAANIBWA okuwamba n’okutta Maria Nagirinya ne Ronald Kitayimbwa poliisi ebatutte ew’omusawo okubeekebejja...

Cobapwebweb 220x290

Kiraabu COBAP ewumizza ey'e Kenya...

Kiraabu ya COBAP eraze ginnaayo okuva e Kenya nti ekyali ya bigere mu bikonde, bw'ewumizza abazannyi baayo n'ebaleka...

Nara 220x290

‘Nalaga Abamerika bannaffe be batta...

Grace Bukenya amanyiddwa nga BK akuba bulatti olwa Amerika okusitukira mu Kayihura.