TOP

Ngasse obulimi n’obulunzi okufuna ssente

By Edward Sserinnya

Added 17th July 2017

KKAMPUNI ya Vision Group efulumya Bukedde, ekwataganye ne bbanka ya DFCU, ekitebe kya Budaaki mu Uganda ne kkampuni y’ennyonyi eya KLM okunoonya omulimi n’omulunzi asinga mu Uganda omwaka gwa 2017. Abanaavuganya mu mpaka zino bajja kutuweereza amannya gaabwe ku omulimiasinga@ newvision.co.ug oba 0752628931 tubatuukirire tubawandiikeko buli Mmande. EDWARD SSERINNYA leero awandiise ku Aloysius Lubega nnannyini faamu ya Bulamu Mixed Farm e Nabutitti mu Busukuma ng’akulaga engeri gy’ofuna mu kugatta obulimi n’obulunzi.

Ssente1 703x422

Omu ku bakozi ba Lubega ng’alaga ezimu ku mbizzi ze balunda. Ku kisenge ze payipu okuli enywanto okunywera embizzi amazzi.

OKULIMA n’okulunda kimu ku bintu ebisobola okukyusa obulamu ssinga weewaayo okubikola mu nkola ey’omulembe.

Ssi nsonga ne bw’oba ng’okolera mu kifo kifunda osobola okufuna ekiwera. Aloysius Lubega dayirekita wa ffaamu ya Bulamu Mixed Farm Products esangibwa e Nabutitti emabega wa Ugachick, lino ly’ekkubo lye yakwata okukozesa ekifo ekifunda, okugattako omutindo n’okukola ebintu eby’omulembe.

OKUTANDIKA FFAAMU

Ekirowoozo ekikola ffaamu kyatandika mu 2010. Wabula nga sinnaba kutandika nasooka ne nkola okunoonyereza e Spain, South Africa ne Kenya. Kenya yatuli ku muliraano ekyandowoozesa nti bingi bye tufaanaganya.

Mu bye nnasinga okunoonya kwaliko amagezi mu kuzimba ebiyumba by’ebiyumba by’ente n’amazzi, enkwata y’abakozi, engeri y’okukwatamu kazambi, endiisa ne ffaamu gy’eyinza okukolamu amagoba.

Okukuuma omutindo nakyo nakitwala nga kikulu kuba ndowooza kye kimu ku bijja okutuwangaaza mu bizinensi. Bwe nakomawo kye nasooka okukola kwe kutegeka emmere.

Kino nakikola nga sinnaleeta bisolo abamu ne baseka nga balowooza ndi mu kwerimba! Kuba enkola ya wano, abantu basooka kufuna bisolo ne balowooza okunoonya emmere.

Mu kiseera kino nnina ente z’amata 45, naye nnina emmere esobola okuziriisa okumala emyaka etaano omusana ne bwe gwaka nga tegusalako.

 mu ku bakozi ku ulamu ixed arm ngalaga ekidiba kyebyennyanja Omu ku bakozi ku Bulamu Mixed Farm ng’alaga ekidiba ky’ebyennyanja.

 

Okukola ssente

Ekigendererwa kya ffaamu mu kiseera kino kwe kulaba ng’ekola ssente, kuba kati tulina embizzi ezisoba mu 1,000 ng’ate ziri ku mitendera gyonna.

Tosobola kujja ku Bulamu farm ng’oyagala embizzi ku myezi gyonna n’ekubula ate mu bika eby’enjawulo ne mu bungi bw’oba oyagadde.

Ekitegeeza nti ffaamu eyingiza ensimbi ate tulinawo n’ente ze tutundamu amata. Kuba buli mwezi esobola okutunda embizzi 250 mu bantu abazibaaga ate n’obubizzi obuto obusoba mu 200 omwaka, era omuntu w’ajjira wabaawo embizzi ez’omutendera gwonna.

Obuyiiya

Ku ffaamu kuliko ente zonna nzungu nga ziri ku 85, kuliko embizzi ezisoba mu 1000, zino omusulo n’obusa tubikuhhaanya wamu ne tubifukiriza ebirime.

Buli ku makya twoza ebiyumba by’embizzi, twakola payipu ng’amazzi agava mu mbizzi n’omusulo oguva mu nte gutambula ne gugenda mu kinnya kimu kye twazimba.

Wabula nga tegunnatuukayo waliwo emitendera mwe guyita nga gwesengejja ne gutuuka mu kinnya nga mazzi, muba musigaddemu obusa butono.

Kati amazzi gano tugakubisa ppampu okufukirira kasooli ku ffaamu, tukuba ejjinja limu n’ebinyonyi bibiri kubanga tufunamu amazzi ate n’ekigimusa ne tukekkereza ku ssente ze twanditadde ku mazzi!

 ubega nomu ku bakozi nga bateeka ccacu ku muddo gwente omukaze gwe zirya Lubega n’omu ku bakozi nga bateeka ccacu ku muddo gw’ente omukaze gwe zirya.

Okugattako omutindo

Tukola sayireegi okuva mu kasooli n’ebisagazi okwo gattako okukola emmere okuva mu malagala byonna bye tuliisa ensolo zaffe.

Embizzi zaffe zirya n’ebisagazi bye tumaze okutemaatema.

Enkozesa y’ettaka

Bulamu Mixed Farm etudde ku yiika mukaaga: kuliko yiika ssatu kwe tulimira omuddo ate ettaka erisigadde kuliko ennyumba z’abakozi, ebiyumba by’embizzi n’ente gattako ekifo we tukuumira kazambi, omusuulwa ensolo ezifudde, ttanka z’amazzi ssatu buli emu ya liita emitwalo musanvu, ppampu ezikuba amazzi okugabunya ffaamu yonna n’ennimiro entonotono okulimibwa emmere ekozesebwa ku ffaamu.

Ennima ey’omulembe

Mu kutandika ffaamu ya Bulamu emyaka mukaaga egiyise, twasooka okukola okunoonyereza ku nnunda ey’omulembe n’enzimba y’ebiyumba by’embizzi n’ente wano mu Uganda ne mu nsi endala.

Twatandika okuzimba ebiyumba by’embizzi, okulaba nga buli kiyumba kibaamu embizzi we zikyamira, we zeebaka, ate ebimu kuliko we zootera omusana. Mu biyumba by’embizzi ezizaala wabaawo ekifo omubeera abaana n’ettaala ereeta ebbugumu.

Buli kiyumba kirimu amazzi ng’embizzi y’egeepimirako okwo gattako w’esula. Okwo ssaako okuba nga buli kiyumba kirimu payipu ezitwala amazzi ate ne zigagatta mu payipu emu egatwala mu kinnya.

 kimu ku byuma ebisala ebisagazi ebiriisibwa ente nembizzi Ekimu ku byuma ebisala ebisagazi ebiriisibwa ente n’embizzi.

Ente zirina ekiyumba eky’omulembe okwo gattako ekibangirizi we zisobola okuwummulira n’okutambulamu ne zikola dduyiro.

Emmere n’amazzi byonna bizisanga we zisula ate nga zeepimirako zokka. Waliwo ekifo we zeebaka n’okuliira ate ne we zisuula obusa.

Ku ffaamu waliwo ekifo omugenda obusa n’awasalirwa ennyama. Buli muntu n’ekidduka kye ebijja ku ffaamu byonna bifuuyirwa eddagala ng’oyingira ku ggeeti ne ku biyumba ate si buli muntu ajja nti alina okuyingira mu biyumba okuggyako nga waliwo obwetaavu obw’enjawulo.

Ku ffaamu kuliko abasawo babiri nga bano tebavaako, babaawo ekiseera kyonna okulaba ensolo ezifunye ebizibu n’okwegendereza ebintu bwe bitambula gattako omubazi w’ebitabo n’abakozi mu buli kiyumba.

Kino kiyamba mu kulwanyisa obulwadde ku ffaamu. Ku ffaamu kuliko olukalala olugobererwa mu kugema ebisolo. kino kiyambye okulaba nga obulwadde tebuliiwo.

Okuyamba abalala

Ku ffaamu nkozesa abakozi 20 abatavaawo, kyokka waliwo abajja okukola emirimu egya lejjalejja.

Nnyamba abantu okubayigiriza ennunda n’ennima ey’omulembe era nga July 29, 2017 ntegese omusomo abantu bajje bayige ng’okuyingira kwa bwereere.

Abatunda ennyama y’embizzi mbawa emirimu kuba bajja ne bagula ennyama nabo ne bagenda bakolamu ku magoba. Tukulembeza buyonjo ku ffaamu, kuba bw’oba olunda embizzi obuyonjo kikulu kikuyamba okwewala endwadde.

 aneja wa ffaamu onathan aika aker ngalaga engeri gye bafukiriramu omuddo gwente Maneja wa ffaamu, Jonathan Naika Baker ng’alaga engeri gye bafukiriramu omuddo gw’ente.

 

Waliwo abamu abagamba mbu embizzi nkyafu, naye abazirunda be babeera abacaafu. Oluguudo oluva ku Ugachick okuyita ku ffaamu yaffe eya Bulamu nze nalukola.

Abantu abatwetoolodde twabateerawo ttaapu ebweru kwe bafuna amazzi ku bwereere nga byonna tubikola okuyamba abalala.

Okubeerawo kwa ffaamu

‘Bulamu si Lubega’, kino kitegeeza ne bwemba siriiwo ffaamu esobola okutambula ate amazima ng’ebiseera ebimu manyi okutambula ne sibaawo era ffaamu etambula ne nkomawo buli kimu nga kitambula bulungi.

Mukyala wange naye dayirekita ku ffaamu era we ssiri emirimu aba agikola bulungi.

Okukuuma ebiwandiiko kikulu ku ffaamu

Wadde akyogerako si y’akiyita naye ne bwemba nvudde mu nsi ku musingi gwe nzimbye nnina obukakafu nti esobola okubeerawo ekiseera kyonna.

Abakozi mbatwala ne bafuna amagezi mu misomo egy’enjawulo wano n’e Kenya kuba ssinga sikikola ne nsoma nzekka kitegeeza nti tugenda kutambuza ffaamu nga buli omu amanyi bibye, sso ssinga tuba tuyize ebintu bye bimu kituyamba okutambulira ku mulamwa gumu.

Okukuuma obutonde Ffaamu bw’ogituukako ekimu ku bikwaniriza gy’emiti omuva akawewo akalungi, wabula tukozesa n’ennima ey’obutonde era ku birime tetukozesa ddagala lya butwa.

 mu ku bakozi ku ulamu ixed arm ngalaga ekidiba awakuhhaanira obusa bwebisolo Omu ku bakozi ku Bulamu Mixed Farm ng’alaga ekidiba awakuhhaanira obusa bw’ebisolo.

Akatale Ku mbizzi ze tulunda, tulina ekifo ekya Top Notch e Ntinda ne Star Royal Hotel e Kitebi, tukozesa ebifo bino okutundayo ennyama yaffe.

E Ntinda tulinayo n’ekifo ekinnyogoza mwe tukuumira ennyama. Kino kitegeeza nga tetunnanoonya katale bweru ate ffe katale akasooka.

Okwo gattako akatale okuva mu balunzi kuba bakimanyi nti embizzi zaffe nnungi ate tufaayo okugoberera olulyo, kuba buli mbizzi ebaako nnamba egoberera okuva ku maama. Naye kati twagala okulaba nga tuguza abalunzi embizzi ate nga ffe katale, kubanga akatale kati twongedde okukafuna.

Abalunzi abanaaba bakolagana naffe nga tubagulako embizzi zaabwe baleme okujeregebwanga abaguzi. Kino kitegeeza omuntu bw’ajja ne tugimuguza, katugambe ayagala enkazi n’ennume aba tasobola kufuna mbizzi ziva mu lulyo lumu kuba zino tezirina kwezaalamu olw’ensonga zizaala abaana banafu ne bagaana n’okukula. anti embizzi nazo zirwala obuko.

Erinnya lya ffaamu Bulamu tulina erinnya, lye tuzimbidde ku bwesigwa kubanga tukimanyi nti abantu kasita bakuggyamu obwesige ng’ogudde. ssinga tuba n’obwetaavu bw’okufunayo ku ssente okuva mu bbanka tulina obusobozi obufuna ssente zino. Ate ne tuzikola ne tusasula.

Kikafuuwe okujja ku Bulamu okugula ekintu ne tukuwa ekitali kya mutindo, ogwo gwe muziro gwaffe. Tukuwa ekintu ekirungi ate mu budde bwe tuba tulagaanye naawe, ssinga tukugamba nti embizzi zinone ku Mmande era bw’ojja ozisangawo awatali kwekwasa nsonga yonna.

Tekinologiya Ku ffaamu ekimu ku bye tufuba okukola kwe kutumbula tekinologiya, buli kiyumba kirimu amazzi ate embizzi ze zeepimirako, ffaamu yonna yabuna ebifo bye tukozesa nga tufukirira, kuliko ttanka z’ebyuma nga nazo zigaba mazzi ku ffaamu gattako ppampu ez’enjawulo ezikuba amazzi.

Ebiyumba byaffe eby’ente twabizimba mu ngeri ya mulembe nga buli emu esobola okulya yokka nga tewali kigitaataaganya.

Lubega ali ku 0701437628

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lob2 220x290

Omukuumi attiddwa n’asattiza ab’ebyokwerinda...

Omukuumi attiddwa n’asattiza ab’ebyokwerinda

Ndo1 220x290

Omusawo asimattuse okugajambulwa...

Omusawo asimattuse okugajambulwa

Gub1 220x290

Balwanidde tikiti z’Omutujju

Balwanidde tikiti z’Omutujju

Web3 220x290

Bobi, wasigazzaamu ku doola ompeeyo?...

Bobi, wasigazzaamu ku doola ompeeyo?

Tub1 220x290

Hoo...ataakulaba

Hoo...ataakulaba