TOP

Omubaka wa Budaaki akubirizza abavubuka

By Herbert Musoke

Added 17th July 2017

OMUBAKA wa Budaaki mu Uganda Henk Jan Bakker, akubirizza abavubuka okwettanira obulimi n’obulunzi kuba bizinensi ekola amagoba singa banaabukola nga bizinensi.

Bad 703x422

Omubaka wa Budaaki, Henk Jan Baker ng’alambula emidaala gy’abaayolesezza mu kutongoza ekifo kya National Agrotourism Center e Jinja. Mu kiragala ye, Judith Bakirya ate ku kkono ye Josephat Byaruhanga aw’e kitebe kya Budaaki.

Okwogera bino yabadde ku mukolo Judith Bakirya omu ku bawanguzi b’empaka z’omulimi asinga mu 2014 e Jinja bwe yabadde atongoza ekifo ky’obulambuzi n’okusoma mu byobulimi n’obulunzi ekya ‘National Agro Tourism Center’, ku Lwokusatu n’agamba nti obulimi n’obulunzi bizinensi esobola okukugaggawaza singa ogitegeera obulungi.

“Budaaki abalimi n’abalunzi bamu ku basinga obugagga mu ggwanga kuba babukola nga bizinensi. Buli kimu bakibala era babuwa obudde, okunoonyereza, okwenyigiramu n’ebirala okukakasa nga bafunamu ekisinga era buli kye bakola balowooza ku katale”, Henk bw’agamba.

Yasiimye Bakirya n’abawanguzi abalala olw’ebyo bye bataddewo okwongera okusomesa n’okwagazisa abantu abalala naddala mu bitundu byabwe okuyingira obulimi n’obulunzi kuba guno gwe musingi ogwatandisa empaka z’omulimi asinga.

Muky. Bakirya yagambye nti ekifo kino yakitandiseewo okukwatagana n’abalimi abalala wamu n’ebitongole ebirala byonna ebikola ku kulima n’okulunda okuyamba okutumbula obulimi n’obulunzi mu kitundu kyabwe.

“Jinja ne Busoga yonna okutwaliza awamu, tubadde balimi na balunzi okuva edda kyokka tubadde tuddiridde. Eno y’ensonga lwaki njagala okukolagana n’abantu bonna okulaba nga tuzza obulimi n’obulunzi mu Busoga”, Bakirya bw’agamba.

Bakirya agamba nti yamaze okukwatagana n’ebitongole eby’enjawulo omuli ekya Agrica Agribusiness Academy, eby’abakyala n’ebirala okulaba nga bategeka emisomo okubangula abalimi n’abalunzi mu nzirukanya ya faamu zaabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lob2 220x290

Omukuumi attiddwa n’asattiza ab’ebyokwerinda...

Omukuumi attiddwa n’asattiza ab’ebyokwerinda

Ndo1 220x290

Omusawo asimattuse okugajambulwa...

Omusawo asimattuse okugajambulwa

Gub1 220x290

Balwanidde tikiti z’Omutujju

Balwanidde tikiti z’Omutujju

Web3 220x290

Bobi, wasigazzaamu ku doola ompeeyo?...

Bobi, wasigazzaamu ku doola ompeeyo?

Tub1 220x290

Hoo...ataakulaba

Hoo...ataakulaba