TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Buli kyalo e Bukunja kyakuweebwa emmundu 5 okukuuma Vanilla

Buli kyalo e Bukunja kyakuweebwa emmundu 5 okukuuma Vanilla

By Musasi wa Bukedde

Added 31st July 2017

ABAKULEMBEZE mu disitulikiti ye Buikwe bawabudde ku bakuumi abataano ku buli kyalo ab’okuweebwa emmundu okukuuma vanilla, baleme kubeera abo abatalina mirimu na by’akukola wabula abalimi ba vanilla bennyini

Vanilla1 703x422

Vanilla kati bamukuuma na mmundu e Buikwe.

Bya Paddy Nsobya

ABAKULEMBEZE mu disitulikiti ye Buikwe bawabudde ku bakuumi abataano ku buli kyalo ab’okuweebwa emmundu okukuuma vanilla, baleme kubeera abo abatalina mirimu na by’akukola wabula abalimi ba vanilla bennyini.

Abakulembeze era baasabye abalimi b’ebikajjo ne vanilla bakomye okutereka ssente ennyingi mu busuwa ne mu nsuku wabula mu bbanka entongole kiyambe okunyweza ebyokwerinda.

Bino byabadde mu lukiiko lw’abalimi ba vanilla n’abakulembeze ku magombolola n’ebyalo olwategekeddwa aba Uganda Vanilla e Lubongo mu ggombolola y’e Ngogwe okuteesa ku by’okunyweza ebyokwerinda mu magombolola gonna agalima vanilla.

Ssentebe wa disitulikiti y’e Buikwe, Mathias Kigongo yagambye nti musanyusu olwa gavumenti n’eggye lya UPDF okweyama okuwa ekitundu kino obukuumi kyokka n’asaba abagenda okusunsula abavubuka abataano ku buli kyalo enkizo bagiwe abo abalima vanilla.

Ggombolola y’e Ngogwe erimu ebyalo 73, yaakufuna emmundu nnyingi ekyawalirizza Kigongo okuteesa nti kisaana abakuumi bano babeere n'akakwate ku vanilla gwe bakuuma.

Kigongo yagambye nti disitulikiti n’abakulira eby’obulimi bagenda kusomesa abalimi ku bya bbanka n’okubakunga okukomya okutereka ensimbi ennyingi mu mayumba.

Ssentebe wa ggombolola ye Ngogwe, James Mbalule yasabye abalimi abafunye ensimbi kyokka nga tebalina ttaka lyabwe beegule bafune ebyapa, ate abatasobola kwegula bawe busuulu eri bannanyini ttaka.

Umaru Kityo, akulira eby’okusomesa vanilla mu kitundu kino, yagambye nti mu kiseera kino abalimi ba vanilla basaanye okutandikawo ekibiina ky’obwegassi (Cooperative Union) ekinene ekibagatta mwe basobola okutereka ensimbi zaabwe, okwewola, n’okukola eddoboozi ery’awamu ku nsonga zonna ezibaluma.

Kityo yeebazizza abalimi abafunye ensimbi mu vanilla ne bazikolamu bizinensi endala okusitula enkulaakulana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kit1 220x290

Batutte omulambo ku disitulikiti...

Batutte omulambo ku disitulikiti lwa kubamma bbaluwa

Kit1 220x290

Omuzungu eyasobya ku atanneetuuka...

Omuzungu eyasobya ku atanneetuuka akwasizza abazadde

Tr1 220x290

Poliisi ekunyizza abaatomedde owattulafiki...

Poliisi ekunyizza abaatomedde owattulafiki

Lip1 220x290

Beekalakaasizza ku bya poliisi...

Beekalakaasizza ku bya poliisi okutta Omuddugavu

Kat1 220x290

Embeera ya Kasirye Ggwange eyongedde...

Embeera ya Kasirye Ggwange eyongedde okubijja