TOP

Gavumenti yaakubunyisa ebyuma ebifukirira

By Musasi wa Bukedde

Added 31st July 2017

MINISITA w’ebyobulimi, obulunzi n’obuvubi, Vincent Bamulangaki Ssempijja ayanjudde entegeka y’okuleeta ebyuma eby’omulembeko ebiyambako mu kulima bisaasaanyizibwe mu bitun du by’eggwanga eby’enjawulo okulwanyisa enjala.

Irrigate1 703x422

Ekyuma eky’omulembe ekifukirira kasooli e Birinzi.

Bya Samuel Baagalayina

MINISITA w’ebyobulimi, obulunzi n’obuvubi, Vincent Bamulangaki Ssempijja ayanjudde entegeka y’okuleeta ebyuma eby’omulembeko ebiyambako mu kulima bisaasaanyizibwe mu bitun du by’eggwanga eby’enjawulo okulwanyisa enjala.

Ng’ali n’omumyuka w’akulira Bonnabagaggawale Lt. Gen. Charles Angina, baagambye nti ebyuma bino tebyetaaga kulinda sizoni za nkuba n’okwomusana bisobola okulima.

Bino baabyanjulidde ku ffaamu ya Namakwaland e Birinzi mu Masaka awaatongolezeddwa ebimu ku byuma bino okwekkaanya enkola yaabyo n’oluvannyuma bisaasaanyizibwe mu ggwanga lyonna n’ekigendererwa ky’okumalawo enjala.

Omuzungu w’omu South Afrika, Tobtas Basson ng’abalambuza ffaamu eno,yabannyonnyodde anti ebyuma bino bikola emirimu gyonna okutandikira mu kusambula oba okukabala n’okuteereza ennimiro ng’okuggyamu ebisubi n’okusigula enkonge.

Gino bwe giggwa, bikozesebwa mu kusiga n’okukoola ng’okw’ekyeya babifukiriza amazzi ennimiro yonna n’etoba ng’enkuba eyaakakya.

Ebyuma bino era bye bafuuyira eddagala okutta ebiwuka nga obusaanyi n’okussaamu ebigimusa.

Mu kupika amazzi bikozesa jjenereeta n’amasanyalaze g’amaanyi g’enjuba.

Amazzi baagapika kuva mu nnyanja y’e Birinzi ne bagawummuliza mu ttanka mwe gasinziira okuyisibwa mu mpiira ezisibwa ku byuma ng’ekimu kifukirira yiika 150 omulundi gumu okumala essaawa musanvu.

Basson yalaze n’engeri ebyuma bino gye bikungulamu ebirime ne kikendeeza ku bungi bw’abakozi ne ssente ezandibasaasaanyiziddwako ate n’obudde ng’abakozi bakola gwa kulonda bummonde nga bakungaanyiza mu bukutiya.

Obummonde obukunguddwa bussibwa mu byuma ebirala ne bibusunsulamu okusinziira ku bunene olwo abakozi ne bapakira mu bukutiya n’okupima ku minzaani n’okusiba obutereke obuzibibwa abaguzi okusinziira ku ssente zaabwe.

Lt. Gen.Angina wano we yasinzidde okukunga Bannayuganda naddala abagagga okukoppa enkola eno nabo batandike obulimi bw’ekika kino kimalewo ebbula ly’emmere mu ggwanga okusinga ettaka okulikaddiyiza mu miti nga kalittunsi ne payini.

Minisita Ssempijja yategeezezza nti enkola y’ebyuma bino bamaze ebbanga nga bagigezesa.

Yagambye nti wadde ng’abatunuulira ebyuma bino ng’amaaso gaabwe gayinza okubitya naye bisoboka ng’era Gavumenti egenda kussaamu ssente bisimbibwe mu bitundu by’eggwanga nga waliwo n’ebitono ebinaaweebwa abalimi abasookerwako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...