TOP

Ebintu 10 by’oba okola okuwangaaza ffaamu

By Edward Sserinnya

Added 7th August 2017

ABANTU ab’enjawulo bateeka ssente mu kulima oba okulunda naye olumu ne baviiramu awo, si lwakuba tebaagala kukola magoba wabula balemererwa ku bintu ebikulu ebirina okwesigamizibwako ffaamu.

Aloy1 703x422

Ente ezisangibwa ku Bulamu Farm. Mu katono ye nnannyini ffaamu, Aloysius Lubega.

Bya EDWARD SSERINNYA

ABANTU ab’enjawulo bateeka ssente mu kulima oba okulunda naye olumu ne baviiramu awo, si lwakuba tebaagala kukola magoba wabula balemererwa ku bintu ebikulu ebirina okwesigamizibwako ffaamu.

Mu musomo ogwabadde ku ffaamu ya Bulamu Mixed Farm Products e Gayaza-Nabutitti mu Wakiso, abakugu baabangudde abantu ku bintu eby’enjawulo bye balina okussaako omulaka okusobola okuwangaaza ffaamu n’okuzikolamu amagoba.

Obuyonjo:

Polof. Edmond Mazimenyera okuva ku yunivasite e Makerere yagambye; Kino kikulu kubanga kiyamba okuziyiza endwadde ebitundu nga 75 ku 100 ezijja ku ffaamu.

Obuyonjo bugenderako amateeka era ssinga olemwa okukikola omanya nti obuzibu bulabise.

Ng’oggyeeko abakozi ku ffaamu naye n’abagenyi abazze ku ffaamu balina okugoberera amateeka g’obuyonjo, bwe baba balina kusooka kunaaba bonna balina okukikola awatali kwawulwa mu kikula kyabwe oba ekitiibwa.

Abantu balina okuba ne kaabuyonjo ennungia, sso si kugenda buli wamu ebyo bireeta endwadde mu bantu n’ebisolo.

 bamu ku balunzi abeetabye mu musomo ogwabadde ku ulamu arm Abamu ku balunzi abeetabye mu musomo ogwabadde ku Bulamu Farm.

 

Enneeyisa y’ebisolo:

Ebisolo byogera, wadde olumu tulemwa okumanya olulimi lwabyo, ate tosobola kulumanya nga tobiwa budde.

Bw’oba olunda nkoko, mbizzi oba ente zirina engeri gye zikwanirizaamu ng’otuuse we zisula, ssinga mubaamu z’olaba ezitakikola omanya nti waliwo obuzibu era olina okubunoonya n’okubunogera eddagala.

Endiisa:

Dr. Henry Maseruka akulira eby’endiisa ku ffaamu ya Bulamu; Si buli muntu nti amanyi engeri ekisolo gye kiryamu.

Twala ekyokulabirako ky’embizzi, tezirina kulya bisenge na kufukula. Wabula ekikikola kaba kabonero akakulaga nti mu mmere gy’oziwa mulimu ekibulamu.

Emmere yandibadde erimu ekirungo ekiwa amaanyi, ekizimba omubiri n’ebirungo ebigumya amagumba n’ebirala.

Faayo okumanya ebintu by’ogula, ggwe agula mukene okakasa otya nti tebakuguza musenyu?

Lwaki ogula mukene oba emmere enkube nga togirabyeko kukakasa nti bye batadde mu kyuma bituukana n’omulembe?

Togula nsolo nga tolina mmere:

Dr. Maseruka; Abamu bakola ensobi ne basooka baleeta ensolo oba enkoko ku ffaamu olwo ne batandika okunoonya emmere.

Nga tonnanoonya nsolo, sooka otegeke emmere emala olwo olyoke ofune ensolo kubanga emmere esobola okulinda ensolo naye ensolo terinda mmere.

Ggwe anaalunda ente sooka kusimba bisagazi olyoke oleete ente.

Empuliziganya ku ffaamu:

Aloysius Lubega, dayirekita wa Bulamu agamba: Empuliziganya olina okugizimba okuviira ddala mu bakozi bo okutuuka ku ggwe mukama waabwe.

Olwo ebiri ku ffaamu obimanya kuba olumu oyinza obutabeerawo ekiseera kyonna, naye ate olina okumanya ebigenda mu maaso oba ggwe abakozi bo batya n’okukuba essimu nga ekibaawo banoonya ngeri gye bakutetenkanyaamu n’ebirala.

Abakozi olina okubafuula mikwano gyo, nze ku Bulamu sibayita bakozi wabula mbayita bannange be nkola nabo.

Amazzi:

Polof Mazimenyera annyonnyola; Amazzi amayonjo kya buwaze ku ffaamu.

Abamu bagenda ne balowooza ku balunda embizzi nti zirina kunywa mazzi gatali mayonjo, nedda.

Bwo’mala okumanya nti mayonjo tegalina kuvaawo ekiseera kyonna.

Ensolo esobola okumala olunaku olumu oba ebbiri nga teridde naye ate teyinza kuzimala nga tenywedde mazzi obwo nno bwe bukulu bwago.

Ebyokwerinda:

Bw’okola ffaamu nga bakubba ate tofuna. Ekikomera kisobola okukola, kkamera ku ffaamu, abalondoozi nga beesigwa, okugoberera embala y’ebitabo ennungi, waliwo ennaku zino abakozesa n’embwa byonna bisobola okuyambako okunyweza ebyokwerinda ku ffaamu.

Ennyumba ku ffaamu:

Dr. Maseruka agamba; Ekimu ku bintu ebiyamba omulunzi okufunamu y’enzimba y’ekiyumba, kirina kuzimbibwa bakugu okusinziira ku nkula y’ekifo, empewo gy’efuuwa ezza n’ebirala.

Engeri ensolo gye zirina okwegazaanya, okwebaka n’okufuna amazzi n’emmere. Kyokka enzimba y’ennyumba y’embizzi ento oba ennyana y’ente eyawukana, embizzi ezizaala n’ebirala byonna byawukana.

Okubala ssente z’oteekamu:

Damas Mulagwe agamba, byonna by’okola ku ffaamu olina okumanya nti ekigendererwa kyo kukola ssente.

Kino kitegeeza nti buli ky’ogula olina okutunula mu muwendo ate nga bw’otunula mu mutindo okulaba nga bikwatagana ate nga si bya bbeeyi bijja kukulemesa kukola magoba mangu.

Toteekamu ssente nnyingi olw’okuba bakusomedde naye nga tolabawo bukakafu nti zijja kudda.

 zimu ku mbizzi ezaayoleseddwa Ezimu ku mbizzi ezaayoleseddwa

 

Enkula y’ekifo:

Polof. Mazimenyera: Enkula y’ekifo esalawo ebintu by’olina okukolerawo oba okulundirawo, waliwo ensolo ezimu nga tezaagala kulinnya nsozi okugeza ente ez’amata.

Oyagala kwanguyirwa mulimu gwa kulunda byennyanja, lwaki ate obirundira mu kisenyi?

Akatale:

Lubega agamba: Kikulu ku ffaamu okumanya akatale gy’ogenda okutunda ebintu byo, ekisinga obukulu ggwe kusooka kweteerawo katale, naye ssinga tokisobola lunda oba lima ekintu naawe ky’osobola okulya ne muliraanwa wo waakiri ako kabeere akatale ko akasooka.

Ffe ku Bulamu tulina ebifo okuli Top Notch e Ntinda awali ekifo ekikuuma ennyama ne tugiguza abantu abajja mu bifo byaffe ne wooteeri yaffe egula amata, ekitegeeza ffe katale akasooka.

Naawe alina omudaala osobola okulima ennyaanya n’omanya nti ako ke katale ko akasooka n’olyoka otandikira awo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Cab1 220x290

Obululu bwa CHAN bwakukwatibwa...

Obululu bwa CHAN bwakukwatibwa nga 17 omwezi ogujja

Tr2 220x290

Engeri gy’ofuuka makanika wa mmotoka...

Engeri gy’ofuuka makanika wa mmotoka yo

Say1 220x290

Oluwaanyi ddagala ku ndwadde z'ensusu...

Oluwaanyi ddagala ku ndwadde z'ensusu

Jab2 220x290

Endwadde 9 omujaaja ze guwonya...

Endwadde 9 omujaaja ze guwonya

Lip1 220x290

Alumwa ennyingo kola dduyiro ozikkakkanye...

Alumwa ennyingo kola dduyiro ozikkakkanye