TOP

Ekyama ky’obutunda kiri mu kubeera na mazzi mangi

By Herbert Musoke

Added 21st August 2017

Obutunda naakatandika okubukungula nga mu kiseera kino nsobola okunogamu obutunda bwa 200,000/- buli wiiki kuba enkuba bw’etonnya obutunda bwesibamu okwengera.

Segi1 703x422

Ssegirinya ku ffaamu ye ey’obutunda e Kapeeka.

Bya HERBERT MUSOKE

OKUKOLA emirimu gya ofiisi tekikugaana kwenyigira mu bulimi. Kye weetaaga kwe kugabanya obulungi obudde bwo.

Gano ge magezi munnamawulire Ibrahim Ssegirinya g’awa abantu bonna abalina emirimu gya ofiisi ng’agamba nti okusobola okutuukiriza ebirooto byabwe n’okwongera ku nnyingiza omuntu asaana okubaako ekintu ekirala ky’akola ekivaamu ssente.

“Ne bwoba ofuna omusaala oguwera, kizibu okugukozesa n’omalayo ebyetaago byo. Noolwekyo buli muntu abeeko bizinensi oba omulimu omulala gw’akola mu budde ng’omalirizza emirimu gyo egy’olunaku”, Ssegirinya bw’agamba.

Ssegirinya munnamawulire omutendeke, akolera ku mikutu egy’enjawulo omuli Ttivvi, leediyo, n’okuwandiika mu mpapula.

Obutunda abulimira ku SIDAAWA Demonstration Farm e Kapeeka mu Nakaseke.

 mazzi agalina mu bungi Amazzi agalina mu bungi.

 

Atandika okulima

Annyonnyola nti; Mpandiise amawulire okumala emyaka egisoba mu 15, wabula nalaba nga ssente z’omusaala tezimmala kukola bye njagala n’okutuukiriza ebiruubirirwa byange eby’omu maaso.

Nasooka ne nkolako ku busuubuzi n’emirimu emirala omuli n’okutambulako mu mawanga ag’enjawulo.

Wabula mu 2015 bwe nagenda e Butuluuki nakyalako ku ffaamu ez’enjawulo ne nsanga ng'omuntu omu asobola okuba ne ffaamu ng’etudde ku mayiro era obulimi nga babugaggawaliddemu.

Bano bansikiriza era nakwatagana ne Bashir Mayiga, eyakwata ekifo ekyokusatu mu mpaka z’Omulimi Asinga 2016 eyanjagazisa okulima obutunda.

Mu 2016, nga nkozesa ssente ze nali nterese okuva mu musaala ne bizinensi zange endala, nasalawo okugula ettaka nga njagala kutandika ne yiika nga 10 kyokka Mayiga n’ampa amagezi okutandika n’ekitono nsooke nfune obukugu olwo hhende nga ngaziwa mpola.

Era natandikira ku yiika bbiri e Kivumu-Kampeeka mu disitulikiti Ekyama ky’obutunda kiri mu kubeera na mazzi mangi y’e Nakaseke.

Natandika okusimba obutunda mu November wa 2016, kyokka nabusimbira mu kasana ate nga nali sirina mazzi bulungi.

Kino kyankosaamu kyokka oluvannyuma nakisalira amagezi era mu kiseera kino nasima oluzzi nga nsobola bulungi okulima ekiseera kyonna.

Ensobi ze nakola Okusooka nasimba nga sirina mazzi ekyandeetera okufiirwa ng’obutunda bukala kyokka kino kyanjgigiriza nti omuntu okufuna mu bulimi ennaku zino olina okubeera ng’osobola okufukirira.

Abakozi nabo nasooka ne nkozesa abaana b’oku kitundu kyokka tebaagala kukola, bw’otoba ku ffaamu badda mu byabwe!

Wano nasalawo okukwatagana ne baganda bange era be nkola nabo.

Emiti gyonna gye nakozesa nagula migule, sso nga mu ttaka lye nagula mwalimu emiti gye nali nsobola okukozesa.

Mu kusooka nali mpa ennimiro obudde butono ekyawanga abakozi ebbeetu okwekolera bye baagala, kino nakyo nakikyusa.

Okulima obutunda Obutunda kirime ekisobola okukuwa ssente wabula kakasa nti olima ekika ekirungi.

Nze nnima ekika kya UPF12 kuba kano kawangaala ng’okanoze, kawooma era kalimu akawoowo ate kabala.

Labirira akatunda ko ng’okassaako ebigimusa, amazzi n’okukakasa nti tekabeeramu muddo ekiseera kyonna.

Olina okuzimba ekitandaalo ekigumu obulungi kuba ssinga ozimba ekinafu, ekitandaalo bwe kigwa bwonna obeera obufiiriddwa.

Buli kye nguze okussa mu ffaamu eno, nkifunira lisiiti wadde ekya 500/-. Mu ngeri y’emu buli kimu nkiwandiika mu kitabo nga kino kinnyamba okubalirira obulungi ensaasaanya nsobole okumanya oba nkola amagoba oba nedda.

Amazzi g’okufukirira Amazzi kimu ku bizibu e Kapeeka wabula ekirungi ettaka lye nagula liriko ekisenyi era we nasooka okuggya amazzi okufukirira obutunda.

Oluvannyuma nga gaweddewo nasimisa oluzzi nga luno lwantwalako akakadde kalamba olunnyamba okufukirira mu kiseera kino. Nagula ppampu n’empiira nga bino byantwalako obukadde obusoba mu butaano.

Mu kiseera kino nsobola bulungi okulima ekiseera kyonna kuba amazzi g’okufukirira ngalina.

Obutunda naakatandika okubukungula nga mu kiseera kino nsobola okunogamu obutunda bwa 200,000/- buli wiiki kuba enkuba bw’etonnya obutunda bwesibamu okwengera.

Kyokka abalimi abamu waliwo eddagala lye bakozesa okubwengeza naye nze sirikozesa olw’okukuuma omutindo.

Nga nkozesa emikwano gyange, nafuna akatale k’obutunda bwange era ngenda okubunoga nga babulinze ate n’abamu bafikka. Ekitegeeza nti, akatale si kimu ku bizibu byange.

N’olumu mbutunda ku wooteeri ennene.

 

 

Ekitundu kiganyuddwa

E Kapeeka si kitundu kya balimi nnyo, abasinga bettanira bulunzi kuba ekitundu kirimu embeera y’olukoola era bangi baasooka ne baseka nga balaba mmala biseera.

Naye oluvannyuma lw’okulaba nga ntandise okufuna, bangi naddala abavubuka batandise okujja okunneebuuzaako n’abalala batandise okubaako bye balima nga banjigirako.

Ffaamu eno ng’oggyeeko okugitandika ng’omulimu ogwokubiri, nnina ekigendererwa ky’okusomesa abantu naddala abavubuka ennima ey’omulembe.

Tugenda kussaawo enkoko enzungu n’ennansi okusomesezaako abalala.

Tutandise okulima wootameroni, tutunda endokwa, n’olusuku tulutandise era okuva mu January w’omwaka ogujja tujja kuba tuleeta abavubuka okutandika okusoma obulimi obw’omulembe. Ssegirinya ali ku 0704559790.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiromayigangaalinaboogezibokumikoloabeetabyekumukologwoluwalokubulanekulwokubiri002webusenu 220x290

Katikkiro Mayiga abakubirizza okunnyikiza...

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga akubirizza Ab'e Buluuli ne Ssese okunnyikiza obulimi kubanga teri mulimu...

Manya 220x290

Abakazi abasinga tebamalaamu kagoba...

Abakazi emirundi 6 ku 10 gye beegatta mu kaboozi tebatuuka ku ntikko. Wabula babuulire kwekoza nga abamazeemu akagoba....

Saalwa703422 220x290

Teddy ayanukudde Bugingo ku bya...

TEDDY Naluswa Bugingo ayanukudde bba Paasita Aloysius Bugingo ku kya ffiizi z’abaana ne ssente.

Florencekiberunabalongowebuse 220x290

Alina olubuto lw'abalongo ne by'olina...

Abasawo balaze abalina olubuto olulimu omwana asukka mu omu bye balina okukola obutabafiirwa nga tebannazaalibwa...

Research1 220x290

Ebizibu ebibeera mu kutambuliza...

ABATANDIKA omukwano ekimu ku birina okwewalibwa ku kugutambuliza mu kweteeka mu butaala ate nga si bwoli.