TOP

Engeri gy'okuuma omutindo gwa wootameroni

By Musasi wa Bukedde

Added 28th August 2017

Ekintu ekisinga okutta omutindo gwa wootameroni okusinga kiva ku bugayaavu bw’abalimi.

Meloni1 703x422

Omusuubuzi ng’alaga bw’oyawula wootameroni eziri ku mutindo n’ezitali

Bya MUSASI WAFFE

MU kaweefube w’okufulumya ebirime ebirina omutindo obutale obw’enjawulo bye bwetaaga, buli Mmande tugenda kukutuusangako ebirime eby’enjawulo n’abalimi ababirima biki bye balina okuteeka mu nkola.

Omutindo gusalawo kinene ku bbeeyi kw’otundira ebintu byo era abasuubuzi kizibu okukufootola ssinga ebirime byo biba ku mutindo. Leero tutandise ne wootameroni.

Andrew Senkumba omusuubuzi wa wootameroni mu katale k’e Kasubi agamba: Mu kiseera kino bw’osuubula wootameroni ezirimwa kuno, bw’oba teweegenderezza oyinza okumaliriza nga zonna zikusaze.

Kubanga wootameroni abalimi abamu balemwa okuzirabirira obulungi bw’ozigeraageranya ku ezo eziva e Kenya.

Ekisooka wano abalimi tebaziwa kirungo kimala kukola ssukaali mulungi, olumu zivunda mangu ate olulala ziviira ddala mu nnimiro nga nvundu ate n’otakirabirawo.

Abamu banguwa okuzinoga okugisala ng’ekyali nto, endala ziba zaayitamu kiwotokwa ate abamu tebafukirira ne zitakola ssupu munda n’okugaana okugejja mu sayizi.

Ate abamu bakasitoma be tuguza bw’agitwala nga mbi tadda ku mudaala, batono abadda ne bakubuulira nti teyali nnungi, naye naffe tubaguza tetugenderedde.

Endala zibaako obutuli obutono ennyo nga bukaaba amazzi, buno buleetebwa obuvunyu n’olumu bukadoma obuziyingira nga zikyali nto era bino byonna biba biraga omutindo omubi.

Nkuuma ntya omutindo?

Jackson Agaba, omukugu mu byobulimi akola ne Mesh Agro Chemicals Ltd annyonnyola:

Ekintu ekisinga okutta omutindo gwa wootameroni okusinga kiva ku bugayaavu bw’abalimi.

Wootameroni w’ogenda okuzisimba walina okuba nga wakabaddwa ettaka ne ligonda okusobola okutambuza emirandira obulungi.

Wabula olina n’okufuuyira mu ttaka eddagala eritta obuwuka obulya emirandira gya wootameroni. Kikulu okuba n’amazzi kubanga gano gagiyamba obutaddirira n’okukula ng’erimu amazzi kubanga ge gagitunda.

Bwe zitandika okumulisa kikulu okuziteekako ekigimusa kya CAN ekiyamba okukola ssupu ne ssukaali omungi ne ziwooma.

Kyokka mu kusimba DAP oba NPK akola okuzisitula nga za maanyi ne zisobola okugejja.

Kikulu okuteekamu obukwata ensowera (Fly traps), buno bukwata obusowera, kalalankoma ne kadoma obukuba obuyise mu wootameroni ne zivunda nga zikula.

Omulimi alina okufuuyira buli wiiki waakiri omulundi gumu eddagala eritta ebiwuka, ekikome n’erikwasa ebimuli bino biyamba okukuuma olususu lwa wootameroni.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Rape2 220x290

Ebibonerezo 12 ebiteereddwa ku...

WALIWO ebibonerezo ebikakali ebiteekeddwa mu bbago ly’etteeka ly'akaboozi nga ssinga omuntu omusango gumusinga...

Tteeka1 220x290

Ebintu 10 ebivaako abakazi okwetamwa...

Omukazi ayinza okukyawa akaboozi oba obutabeera mu mbeera za kwegatta olw’ensonga ezitali zimu.

Genda 220x290

Sheikh Muzaata: Kuva dda nga musajja...

SHEIKH NUHU MUZAATA Batte yazaalibwa mu myaka gya 1950 e Bwayise mu Lufula Zooni okumpi ne Kimombasa mu maka g'omugenzi...

Tteeka2 220x290

Baleese etteeka ku kunyumya akaboozi...

GGWE ssebo abadde alowooleza mu bya, ‘omusajja tammwa kantu’, bukukeeredde! Palamenti ereese etteeka mw’osobola...

20128largeimg210aug2012144442107703422 220x290

Ab'e Kibuli boogedde ku bya Kenzo...

Sheikh Abdul Salaam Mutyaba Imaam w’omuzikiti gw’e Kibuli yagambye bakyetegereza ebya Kenzo era bagenda kutuuza...