TOP

‘Kkooko mwongerako omutindo okumufunamu’

By Musasi wa Bukedde

Added 28th August 2017

OKULIMA gumu ku mirimu egisobola okukuyamba okukyusa embeera ssinga weewaayo n’okugukola ng’ogwagala.

Koko2 703x422

Baligeya alina yiika ttaano eza kkooko.

Kkampuni ya Vision Group efulumya Bukedde, ekwataganye ne bbanka ya dfcu, ekitebe kya Budaaki mu Uganda ne kkampuni y’ennyonyi eya KLM okunoonya omulimi n’omulunzi asinga mu Uganda omwaka gwa 2017.
 
Abanaavuganya mu mpaka zino mujja kutuweereza amannya gaabwe ku omulimiasinga@newvision.co.ug oba 0752628931 tubatuukirire tubawandiikeko buli Mmande.
 
Paul Kakande awandiise ku Patrick Baligeya, omulimi w’e Mayuge ng’akulaga bw’afuna obukadde 51 mu Kkooko buli sizoni.
 
OKULIMA gumu ku mirimu egisobola okukuyamba okukyusa embeera ssinga weewaayo n’okugukola ng’ogwagala.
 
Lino lye limu ku makubo Patrick Baligeya, omulimi wa kkooko era nnannyini ffaamu eyitibwa Bidampola Mixed Farm eri wansi w’ekibiina ky’obwegassi ekya Bidampola Farmer’s Group ku kyalo Buwaaya mu muluka gw’e Buwaiswa mu disitulikiti y’e Mayuge, ly’akutte okubaako ky’afuna mu bulimi.
 iga ngalaga ekikolo kya kkooko ekibaze obulungi Yiga ng’alaga ekikolo kya kkooko ekibaze obulungi.

 

 
Okutandika Baligeya annyonnyola:
 
Ffaamu eno nagitandika emyaka 10 egiyise. Nasooka kulima bikajjo naye bwe natambulako mu misomo egy’enjawulo ne nkwatagana n’abalimi ba Kkooko ab’enjawulo abambalira mu kulima ekirime kino ne kinsanyusa.
 
Ffaamu nagitandika nnima Kkooko yekka, wabula nga wayise ekiseera nayongerako emiyembe emizungu, emicungwa, emmwaanyi oluvannyuma nayongerako n’okulunda ente, embuzi n’embizzi ezinnyamba ku bigimusa.
 
Okukola ssente Ffaamu yange ekola ssente kubanga nnyingiza okuva ku birime eby’enjawulo naddala Kkooko ate ye abala okumalako omwaka.
 
Buli enkuba lw’etonnya ng’akuba ekimuli ate era gye yeeyongera okukula gy’ayongera n’okukuwa amakungula amangi.
 
Ssente endala nziggya mu miyembe, emicungwa, emmwaanyi n’ebisolo bye nnunda okuli n’enjuki.
 
Obuyiiya Kye nasooka okukola kwe kulaba nga nkamula ensolo zange mu mbeera zonna. Obusa bwe nkozesa zanga ebigimusa era nze sigula bigimusa.
 
Ate olw’okuba bye nnima bimulisa, okukwasa ebimuli enjuki zikola omulimu munene kye nva nasalawo nazo okutandika okuzirunda nga zibeera mu nnimiro ne nkuba ebinnyonyi bibiri n’ejjinja limu kuba mba nfuna omubisi gw’enjuki ate nga bwe nkola enkwaso z’ebimuli.
 micungwa emirongooseemu gyasimba ku ffaamu ye Emicungwa emirongooseemu gy’asimba ku ffaamu ye.

 

 
Okugattako omutindo
Bwe nkungula Kkooko mwongerako omutindo, mmuyisa mu mitendera esatu okusobola okumutuusa ku ssa kwe mmutundira.
 
Nga mmaze okumukungula, mwasa ne nzigyamu ensigo, zino nzibikka mu bibookisi okusobola okukaatuuka n’oluvannyuma nga hhenda nzikyusakyusa okumala wiiki olwo mba nsobola okuzaanika.
 
Mu kuzikaatuusa mba njagala zikole akawoowo ako aka cokoleeti ke baagala mu nsi yonna, ate bwe zikala zaawukana ku nsigo ennungi ku mbi.
 
Oluvannyuma ng’akaze olwo nga mmutwala mu katale, mu kiseera kino kkiro ya 8,500/-.
 
Wabula omutindo sikoma kugatta ku Kkooko yekka, naye nnima ne kasooli nga ono naye situnda wa mpeke, wabula nagula ekyuma kye nkozesa okukubamu akawunga ne nkatunda ate nkubira n’abantu abalala ababa baagadde.
 
Kyokka n’emmwaanyi ze nnima nazo nzikubamu kase, situnda za kibooko kubanga nakyo nakizuula nti tufiirwa, ate bwe mmala okuzikuba nzifunako obukuta ne mbuzza mu nnimiro ne mba nga nsigadde nfunyeeko ekigimusa.
 
Enkozesa y’ettaka Ffaamu etudde ku yiika 25, Kkooko ali ku yiika ttaano, emicungwa yiika nnya, emmwaanyi yiika nnya n’emiyembe yiika emu.
 
Ekitundu ekisigalawo ku ttaka nnimirako mmere ya kulya. Ekimu ku bikulu bye nkozesa ku ffaamu bye bigimusa, ebintu byonna bye nnina mbigimusa kubanga ennaku zino obugimu mu ttaka bwakendeera.
 
Mu nnimiro ntemamu ebinnya n’obugegere obukwata mukoka ssinga enkuba eba etonnya, kinnyamba kubanga omusana bwe gwaka amazzi mba nagakwatira mu nnimiro ne kibiyamba obutakosebwa nnyo musana.
 
Kuno nnyongerako n’okusimba emiddo egy’omugaso nga labulabu ne mucuna nga gino ginnyamba okwongera ku bugimu mu ttaka ate n’okunnyambako mu kubikka ettaka ne litaggwaamu mazzi mu mu biseera by’ekyeya.
 asooli gwalima ku ffaamu ye amukubira mu kyuma kye Kasooli gw’alima ku ffaamu ye amukubira mu kyuma kye.

 

 
Ekibalo kyange
Nkulembeza Kkooko, buli yiika nsimbamu emiti 400, nga buli gumu ngubalako kkiro ssatu enkalu ekiteeza mu yiika 5 nfunamu kkiro 6,000, bwe ntundira ku 8,500/- nfunamu 51,000,000/- buli mwaka.
 
Kyokka ku ssente zino obukadde 15 mbuzza mu nnimiro naddala mu kusaawa n’okusalira Kkooko kubanga guno gwe mulimu ogusinga obunene okuggyako ne mu biseera by’okukungula.
 
Okukuuma ebiwandiiko Okukuuma ebitabo nkimanyi nti gwe mutima gwa ffaamu kubanga kuno kwe nsinziira okusalawo n’okulaba amagoba ge nkola buli mwaka.
 
Era nasalawo ne nfuna n’omukugu mu kubala ebitabo. Nga oggyeeko okubala ebitabo, naye ebika by’emiti gyonna bye tulima tubiwandiika olwo ne tuba nga tusobola okulondoola ebibikwatako.
 
Ebiwandiiko bye bimu biraga ensaasaanya, ennyigiza n’emisaala gy’abakozi ssaako okumanya amagoba ffaamu g’ekola n’ebitatambudde.
 
Akatale Akatale k’ebintu bye tulima weekali okutandikira ddala ku bantu b’awaka kubanga bino bibala byakulya ate omuntu asobola okukiriirawo, kati kitwale nti buli kye balya ezo ssente era ziwandiike omanye nti wandibadde ozitunze oluvannyuma lwa sizoni ojja kulaba ssente mmeka z’olidde omanye akatale ke weewadde.
 
Kyokka Kkooko alina akatale kanene ku bantu abamutwala ebweru era bamunoonya ekiseera kyonna sifunangako buzibu na kumutunda.
 
Kyokka ku Kkooko n’emmwaanyi sipapa kubanga bwe mba nga mmaze okumukaza naye akatale nga si kalungi, mutereka ne nnyongerako omutindo.
 
Ffaamu eyamba abalala
Ekisooka ngaba emirimu kuba ku ffaamu nninako abakozi bataano nga abo tebavaako. Naye ate mu biseera by’okukungula nfuna abakozi aba lejjalejja ne bakola okusinziira ku mirimu egibaawo.
 
Abakozi ab’enkalakkalira bafuna omusaala wakati w’emitwalo 15 ku 35 okusinziira ku bukulu bwabwe ku ffaamu.
 
Ffaamu eyamba abantu ku kitundu kuba bangi bajja ne bayigirako ennima ey’omulembe.
 
Njigirizza n’abantu okwerimira Kkooko ne bakoma okumubba nga kati bamwerimira ne basobola okufuna ne ssente.
 
Okubaawo kwa ffaamu nga siriiwo Nnina obukakafu nti ffaamu esobola okubeerawo ekiseera kyonna kubanga ffaamu eri ku musingi gwa famire, ne bwe mba siriiwo buli kimu kigenda mu maaso kubanga si nze ffaamu.
 
Mukyala wange amanyi buli kimu bwe kitambula, kyokka era ayambibwako abaana baffe naddala ku bikwatagana ne ssente kubanga bo bayivu okusinga ffe.
 
Erinnya lya ffaamu
Olw’okuba ebitabo byange byebala bulungi, ffaamu erina erinnya erigisobozesa okufuna ensimbi mu bbanka oba ku bibiina byaffe ku kyalo kubanga erina obusobozi obusasula ssente zino.
 
Nnina ekirowoozo ky’okugaziya ffaamu nga nzimba ekyuma ekisunsula emmwaanyi, okugulayo loole etambuza ebyamaguzi n’ebirala.
 
Nnina ekirooto ky’okutandika okulunda enkoko n’okwongera okugaziya ettaka ku ffaamu kw’etudde kinsobozese okwongera okulima kooko.
 
Obulunzi Obulunzi mbukola nga omulimu ogwokubiri okunnyambako ku kukendeeza ku nsaasaanya ku ffaamu yange kubanga ekigendererwa kyange kya kukola magoba. Nunda enjuki era nina emizinga 25.
 
Newankubadde nga nfunamu ssente nga ntunda omubisi naye natandika enjuki nga njagala zinnyambeko okukwasa ebimuli by’ebibala byange, kino kinnyamba okuziyiza obulwadde obwandireetedwa enjuki okuva ku ffaamu endala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lob2 220x290

Omukuumi attiddwa n’asattiza ab’ebyokwerinda...

Omukuumi attiddwa n’asattiza ab’ebyokwerinda

Ndo1 220x290

Omusawo asimattuse okugajambulwa...

Omusawo asimattuse okugajambulwa

Gub1 220x290

Balwanidde tikiti z’Omutujju

Balwanidde tikiti z’Omutujju

Web3 220x290

Bobi, wasigazzaamu ku doola ompeeyo?...

Bobi, wasigazzaamu ku doola ompeeyo?

Tub1 220x290

Hoo...ataakulaba

Hoo...ataakulaba