TOP

Ebintu 5 by’okola n’ofuna mu lusuku

By Musasi wa Bukedde

Added 4th September 2017

ENKYUKAKYUKA mu mbeera y’obudde evuddeko abalimi okutandika okusala amagezi ag’enjawulo naddala abo abatalina mazzi na busobozi bufukirira nabo okusobola okusigala mu bizinensi.

Nabaweesi1 703x422

Nabaweesi ng'ateeka enkondo mu lusku lwe

Bya EMMANUEL SSEKAGGO

ENKYUKAKYUKA mu mbeera y’obudde evuddeko abalimi okutandika okusala amagezi ag’enjawulo naddala abo abatalina mazzi na busobozi bufukirira nabo okusobola okusigala mu bizinensi.

Muky. Robinah Nabaweesi, amanyiddwa nga Muky. Mutebi, naye ekiwendo tekimulese mabega, amaanyi agatadde mu kubikka lusuku asobole okusigala ng’alukamulamu ssente n’okulukuuma nga lulungi mu budde bw’omusana.

Nabaweesi mutuuze ku kyalo Kikoma B mu muluka gw’e Ssugu mu disitulikiti y’e Buikwe agamba nti olusuku lwe lutudde ku yiika ssatu, asinzaamu Kisansa, Nakitembe, Mbwazirume, Nfuuka n’ebika ebirala.

EBIRUNGI EBIRI MU KUBIKKA

Nabaweesi agamba, kasita obikka olusuku lutereka amazzi ne galuyamba mu biseera by’omusana. Kuba omusana guba tegukuba butereevu ku ttaka, gukoma ku bisubi.

Nabaweesi yannyonnyodde nti, okubikka olusuku kuyamba okukuuma ettaka nga ggimu. Ebisubi ebyeyambisibwa mu kubikka bwe bivundira mu nnimiro nabyo bikola obugimu ekiyamba ebitooke okussa enkota ennene.

Olusuku olubikke terutawaanya kulimamu buli kiseera anti omuddo tegumala gamera kuba guba tegulina we guyita olw’ebisubi.

OKUTEMA ENSALOSALO

Ensalosalo ziyamba okukwata amazzi mu lusuku, enkuba bw’etonnya amazzi galegama mu nsalosalo zino bw’ekya amazzi gasigala mu ttaka ne kiyamba ebitooke okusigala nga byeyagala n’okutereka amazzi ate zikwata n’ettaka obutakulugukka.

OKUTTIRA

Okuleka ensukusa ennyingi ku kitooke si kirungi kuba zirwanira amazzi n’ekigimusa ate n’ekifo we zikulira waba wafunda ne zitasobola kwegazaanya kugejja migogo ekivaamu ebitooke bikuwa enkota ntono. Kino kitegeeza buli kitooke lekako ebitooke bisatu.

OKUSALIRA

Okusalira tekuyamba kunyiriza lusuku kyokka, wabula kuyamba ekitooke okunywa obulungi amazzi ne gasobola okuyingira mu migogo, wabula kirungi okuggyako ebyayi n’essanja byokka okuziyiza okutambuza obulwadde obukaza ebitooke.

EBIRUNGI MU KULIMA OLUSUKU

Nabaweesi yannyonnyodde nti ekirungi ekisinga ku lusuku kiri nti teruliiko sizoni nga birime birala.

Bw’otandika okutema amatooke ogatema kumpi buli wiiki okutuusa olusuku bwe lukaddiwa ekitali ku birime birala ebirinda sizoni.

Ekirala olusuku lugoba enjala awaka. Olima amatooke n’ekigendererwa ky’okugatunda wabula mu ngeri y’emu era omuntu alina olusuku tayinza kulumbibwa njala anti amatooke gabaawo ate mu bungi.

Tegagwa katale:

Nabaweesi yategeezezza nti amatooke tegagwa katale kuba abantu abasinga bagettanira okugalya mu kyalo ne mu kibuga.

“Nze abaguzi bannoonya, oluusi abamu mbagoba na bugobi,” bwe yagambye.

EBISOOMOOZA

Enkyukakyuka y’embeera y’obudde etutaataaganya newankubadde tugirwanyisa nga tubikka ate n’okutema ensalosalo mu lusuku.

Ebiwuka ebikaza ebitooke nabyo weebiri naye nga tubirwanyisa era nga tumaliriza tubigobye olwo ne tufuna enkota ezeegasa nga tweyambisa obukugu bwe tuggya mu misomo egy’enjawulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wano 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO YAFULUMYE...

Basindise abakessi okwongera okuyigga musajja wa Gen. Kayihura eyabulira mu Algeria.Balooya ba Kitatta basobeddwa,...

Upa 220x290

‘Asooka okumalawo y’alya eya munne...’...

BASSENTEBE e Semuto-Nakaseke olwamaze okusabirwa ne badda mu kugabula abalonzi baabwe nabo abataalutumiddwa mwana...

Uni 220x290

Yiiii.... Maama gano mazina ki?...

OMUZIKI ogwabadde gusindogoma gwanyumidde abavubuka b’e Lukaya.

Beb1 220x290

Bebe Cool asoomoozezza bayimbi...

Bebe Cool asoomoozezza bayimbi banne; Ategese Concert ey'okuyamba abalwadde b'emitima

Sha 220x290

Sharitah avuddeyo gy’abadde yeekukumye...

SHARITAH Mazzi Mawanvu avuddeyo gy’abadde asirikidde n’agendako mu jjiimu n’okuwuga ndowooza akkakkanye ku situleesi...