TOP

Engeri gye nfuna ssente mu bwana bw’embizzi

By Edward Sserinnya

Added 25th September 2017

OKULUNDA embizzi abantu bongedde okukwettanira wabula okulunda ng’olina ekigendererwa kikwanguyiza okufunamu amagoba mu bwangu.

Bwana1 703x422

Omu ku bakozi ku DJ Paul Mixed Farm ng’ayonja embizzi.

KKAMPUNI ya Vision Group efulumya  Bukedde, ekwataganye ne bbanka ya  DFCU, ekitebe kya Budaaki mu Uganda ne  kkampuni y’ennyonyi eya KLM okunoonya  omulimi n’omulunzi asinga mu Uganda  omwaka gwa 2017.

Abanaavuganya mu  mpaka zino mujja kutuweereza amannya  gaabwe ku omulimiasinga@newvision.co.ug  oba 0752628931 tubatuukirire tubawandiikeko  buli Mmande.

EDWARD SSERINNYA leero awandiise ku Paul Bbaale owa  DJ Paul Mixed Farm e Kabonera- Kyotera  ng’alaga bw’afuna mu mbizzi. 

OKULUNDA embizzi abantu bongedde okukwettanira  wabula okulunda ng’olina ekigendererwa  kikwanguyiza okufunamu amagoba mu  bwangu. 

Paul Bbaale, omutabuzi w’emiziki mu Kampala  agasseeko okulunda embizzi n’okulima  olusuku.

Ffaamu ye eya D.J Paul Mixed Farm  esangibwa Kikakala mu muluka gw’e Kyamuliibwa  mu ggombolola y’e Kabonera ku ludda  e Kyotera mu Disitulikiti y’e Masaka.

Alunda  mbizzi enzaazi nga bw’atunda n’ezimu okuzikuza  n’atunda ennyama, kimuyambye okubaako  ne kye yeekolera era ebbanga ery’emyaka ebiri  lye yaakamala mu bulunzi talina kye yejjusa. 

mbizzi enzaazi giwe emmere waakiri kkiro bbiri nekitundu olunakuEmbizzi enzaazi giwe emmere waakiri kkiro bbiri n’ekitundu olunaku.

 

OKUKOLA SSENTE 

Ffaamu yange eriko embizzi 200, ku zino  kuliko 50 ezizaala naye nga omulimu gwange  omukulu gwa kutunda mbizzi ez’ennyama  n’obwana okusinziira oli ky’aba ayagala. Ntunda  embizzi okuva ku bwana obw’omwezi ogumu.    

Buli mwezi ebintu nga bitambudde  bulungi nsobola okutunda embizzi  enkulu 7 okuva ku mitwalo  70 okudda waggulu okusinziira  ku sayizi, kyokka obubizzi  obw’omwezi ogumu mbutunda  emitwalo 15. 

Obuyiiya 

Olw’okuba ndi muvubuka  atandika, nakiraba ng’okusooka  okuzimba ekiyumba ekya bbulooka  nga ssente sijja kuzisobola kwe kutandika  n’ekiyumba eky’embaawo. 

Ekirala nakola omukutu oguva  mu kiyumba ky’embizzi ng’amazzi  gonna agooza ebiyumba ate gatambula  ne gagenda mu lusuku nga  ssongeddeemu maanyi na bakozi  kuba natema emyala nga gitambula  bulungi era geetwala gokka. 

Mu kaweefube w’okukendeeza  ku ssente ze nkozesa mu mmere  y’embizzi natandika okwerimira  kasooli, ono mmufunamu ccacu,  ate nnyongerezaako n’omuddo. 

Olw’obutabonaabona na mazzi,  kye nakola kwe kusima ttanka  y’omu ttaka, eno nasuulamu ppampu  eyamba okusindika amazzi mu  ttanka ya waggulu gye gava ne  gatambula n’olupiira okugenda  mu biyumba by’embizzi okunywa  n’okubyoza kubanga mayonjo ate  tegaggwaamu. 

Enkozesa y’ettaka  Ettaka kwe nkolera lya famire,  wabula nze nkozesaako ffuuti 100  ku 50 kwe nazimba ebiyumba  by’embizzi, ate yiika bbiri kuliko  lusuku. 

Okugattako omutindo  Sinnaba kutandika kugattako mutindo, naye  nnina ekirowoozo okutandika okwesaliranga  ennyama nga ntunda kuba nkizudde okutunda  embizzi ennamba nga tomaze kupima kumanya kkiro mmeka z’otunda osobola  okwebba oba okubba agula. 

Ennunda ey‘omulembe  Kye nasooka okumanya ku mbizzi, tezaa gala kifo kijama, wadde abamu balowooza  nti zo njama.

Ebiyumba buli lunaku birina  okwozebwa ate amazzi agavuddemu ne  gagenda mu nnimiro. Obusa nabwo waliwo  ekifo kye bukuhhaniramu, bwe buwola ne  butwalibwa mu nnimiro. 

Embizzi ezizaala zirina okulya emmere  emala, waakiri kkiro bbiri n’ekitundu  olunaku, kubanga obubizzi buziyonka nnyo  ate tolina kuzipimira mazzi, ziwe zinywe  zikoowe zokka. 

Nfuba okulaba nga ngema obulwadde  okusinziira ku mitendera omusawo gy’aba  ahhambye, buli luvannyuma lwa wiiki bbiri  ssinga tewabaawo buzibu omusawo alina  okuyita ku ffaamu ate ssinga wabaawo  ekiriwo bamukubira n’ajja okulaba ensolo. 

Ku biyumba tulinako ekitundu we  tuteeka embizzi endwadde, wabula obulwadde  obuwona nga bwe tumala okuzijjanjaba  olwo ne zidda mu ndala ennamu kino  tukikola okwerinda obulwadde. 

Okuyamba abalala  Waliwo abavubuka babiri bwe tukuba  ebidongo be nawa embizzi, buli omu bbiri  ne batandika okulunda, ate ne ku kyalo  abantu bajja wano ne bafuna amagezi. 

Ntunda n’embizzi ez’olulyo okwo gattako  okubaguza ez’ennyama ne bafunamu  ensimbi. 

Mu ffaamu yange ebigimusa bye nkozesa  mu nnimiro byonna biva mu mbizzi, okwo  gattako okukozesa omusulo ogumu ku  birime ne mba nga sikozesa ddagala lya  butwa.

Kino kiyamba okukuuma ettaka.  Okubikka n’okutema ensalosalo kiyamba  okukuuma ettaka nga terikulugguka. 

 tanka yomu ttaka baale gye yasuula yingini esindika amazzi mu ttaka eya waggulu Ttanka y’omu ttaka, Bbaale gye yasuula yingini esindika amazzi mu ttaka eya waggulu.

 

Akatale 

Ekimu ku birungi ebiri ku mulimu  gw’okulunda embizzi ke katale okukusanga  awaka, abantu abagula ez’ennyama bangi  n’obungi bwe baagala toyinza kuba nabwo  wabula abagula ento ate bo batonotono,  naye nga nazo zitambula. 

Nze ntabula miziki gwe mulimu gwange  e Kampala, era kwe nagenda nkekkereza  ne nkola ffaamu, wabula n’amagoba ge  nkola ku ffaamu sigalya gonna, ezimu nzizzaamu  ate endala ne nzitereka okwerinda  ekizibu eky’amangu. 

Ababbi bavaako ffaamu okukola loosi,  naye nze nasibawo akatimba ate ekiro  wabaawo omukuumi. Amataala ge nateeka  mu biyumba byonna gaaka ekiro, waakiri  omuntu afunamu ensonyi. 

Buli mugenyi ayingira ku ffaamu alina  okusooka okulinnya mu ddagala, kino  kinnyamba okuziyiza obulwadde kubanga  tomanya oli gy’aba ayitidde. 

Okuzimba ekiyumba 

Okuzimba ekiyumba olumu kisinziira ku  busobozi bwo, osobola okukozesa amakooko  agavudde ku mbaawo nga ekyange  kye nazimba oba okukozesa embaawo oba  amatoffaali ssinga oba weesobola. 

Bino obikuba ku mabbali g’empagi z’oba  osimbye , ate waggulu osobola okukozesa  ekiveera n’ebiwempe ssinga oba tolina  zigula mabaati, ekikulu mu byonna kuba  na kiyumba nga tekitonnya. 

Wabula olina okuleka ekiyumba nga oluva mu mbizzi lulina okufuluma  ekiyumba ate bwe lutafuluma embizzi  ziggyamu ndwadde.

Empewo  eyamba embizzi okussa obulungi  n’okuba nga zeeyagala.  Munda mu kiyumba mulina  okubaamu ekifo we ziriira, we  zinywera amazzi, we zigenda  okweyamba n’okuwummulira, era  olina n’okuteekawo omukutu ogutwala  omusulo ne kazambi bw’oba  ng’olongoosa ekiyumba ky’embizzi. 

By’ogoberera ng’olunda  embizzi enzadde  Waliwo ebintu by’olina okugoberera  ng’olonda embizzi enzaazi,  olulyo kikulu ate ne ku ffaamu  kw’ozigula balina okukulaga ebikwata  ku mbizzi eyo, engeri  gye bazze bagigobereramu  okulaba nga bakuuma  olulyo lwayo.

Nze nnunda  embizzi kika kya Camborough  nga luno lw’e South  Afrika era lukola bulungi  mu kuzaala. 

Olina okubala amabeere,  kuba omuwendo  gw’amabeere gutera okulagula  obubizzi bw’esobola  okuzaala.

Okugeza ssinga  embizzi eba n’amabeere  12 kiba kizibu okuzaala  obubizzi nga busukka 12  ne bw’eba ebusussizza  emikisa giba mingi obumu  okufa kubanga bwe buba  buyonka obumu bufikkira  ne butafuna mabeere.  Kyandibadde kirungi  okufuna embizzi erina  amabeere waakiri 16. 

Embizzi gy’ogenda  okulunda n’ekigendererwa  ky’okuzaala kisaanye  okubeerako nayo okumala ekiseera,  kyandibade kirungi okugifuna  nga ya myezi esatu kuba ku myezi  munaana eba esobola okuwaka,  eggwako n’emala nalyo emyezi ebiri  n’ezaala. 

Ng’eneetera okuzaala bw’oba  tolina byuma mw’ezaalira kuba  bino biyamba embizzi obuteebakira  bwana, kyandibadde kirungi mu  nkola ey’ekyavu n’okugisalirayo  essanja n’oliteeka mu kiyumba  n’ezaalira okwo. 

Naawe kyandibadde kirungi  n’obaawo ng’ezaala okusobola  okuggyawo obwana obuzaaliddwa  nga bunafu, kuba esobola okubwbaakira  n’ebutta.  Ng’emaze okuzaala olina  okugirabirira obulungi okusobola  okufuna amabeere, kirungi  okugifumbira ku mukene ayamba  nnyo mu kugiwa amabeere. Leka  obubizzi buyonke okutuuka ku  mwezi gumu n’ekitundu olwo ate  obuggyeko.” 

Embizzi z’atunda ento azitundira  ku myezi ebiri n’ekitundu oba esatu  kuba eyo eba emaze okuvaamu  obulungi nga n’omuntu gw’agiguza  tegenda kumutawaanya. Zino azitunda  wakati w’emitwalo 15 ne 25. 

Endiisa  Bbaale agamba nti, ekimu ku  bintu ebisobola okulya ne bitwaliramu  n’amagoba y’embizzi, kuba  yo w’ogiweera emmere tegaana  wabula ekikulu ggwe agirabirira  kugipimira. 

 baale ngalaga kasooli gwe yakungula sizoni ewedde gwaliisa embizzi ze Bbaale ng’alaga kasooli gwe yakungula sizoni ewedde gw’aliisa embizzi ze.

 

Buli lunaku embizzi enkulu aziwa  kkiro y’ebikanja n’ey’emmere  entabule emu okusobola okukekkereza  okwo kw’ayongera emmere  endala eba edibye, amalalagala,  ebikoola by’amayuuni n’ebirala  era zirya ne zikkuta okwo  kw’ayongereza amazzi. 

Enzijanjaba  Ng’oggyeeko omusujja guno  ogwa ‘Swine Fever’ ogutalina  ddagala, endwadde endala ezisinga  okutawaanya embizzi ziva ku bucaafu  era ye gamba nti ku ffaamu  ye akulembeza buyonjo.

Kyokka  embizzi aziwa eddagala ly’ebiwuka  buli mwezi, okuziwa vitamiini  naddala ezo eziba zimaze okuzaala  n’okuzifuuyira okugoba enkwa  n’endwadde endala. 

Ebiruubirirwa bye  Bbaale agamba nti, ng’aggyeeko  okutunda obubizzi obuto, mu  biseera ebijja alina essuubi okutandika  okwetundiranga ennyama  y’embizzi abasuubuzi baleme  kumufootola. 

Asuubira nti ayinza n’okutandika  okugattako omutindo ng’akola  sosegi n’ebintu ebirala. Wabula alina  n’essuubi okutandika okulunda  ebyennyanja kuba alina ekitundu  okuli amazzi ku yiika ze omunaana  kw’akolera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Looya1 220x290

Lukyamuzi ne Bwanika basabye kkooti...

EYALI omubaka Ken Lukyamuzi atutte akakiiko k’ebyokulonda mu kkooti Enkulu ng’ayagala ekalagira kayise ekiragiro...

Kasimba 220x290

Abeddira akasimba basonda za kuzimba...

Yategeezezza nti ekika kirina enteekateeka y’okuzimba ekizimbe gaggadde ekituumiddwa 'Akasimba Plaza' okukolerwa...

Seb1 220x290

Hanson Baliruno akubye abawagizi...

Hanson Baliruno akubye abawagizi be omuziki ne yeebaza Katonda olw'ekirabo eky'obulamu

Cot1 220x290

Abalamuzi bayimirizza akeediimo...

ABALAMUZI bakyusizza obukodyo bw’okusaba Gavumenti ebongeze emisaala ne bayimirizza n’okwekalakaasa kwe babadde...

Fdc1 220x290

Salaamu Musumba alangidde ababaka...

OMUMYUKA wa Ssabawandiisi wa FDC Salaamu Musumba alangidde ababaka ba Palamenti ‘’obufere’’ n’ategeeza ng’ekibiina...