TOP

Amatooke ngakolamu 2,000,000/- omwezi

By Musasi wa Bukedde

Added 16th October 2017

Leero tuwandiise ku Francis Kawuki omulimi w’ebitooke ne kooko e Bunjakko, Buwama- Mpigi.

Kawuki1 703x422

Kawuki mu lusuku mwe yasimba ne kooko.

KKAMPUNI ya Vision Group efulumya Bukedde, ekwataganye ne bbanka ya DFCU, ekitebe kya Budaaki mu Uganda ne kkampuni y’ennyonyi eya KLM okunoonya omulimi n’omulunzi asinga mu Uganda omwaka gwa 2017.

Abanaavuganya mu mpaka zino bajja kutuweereza amannya gaabwe ku omulimiasinga@ newvision.co.ug oba 0782006608 tubatuukirire tubawandiikeko buli Mmande.

Leero tuwandiise ku Francis Kawuki omulimi w’ebitooke ne kooko e Bunjakko, Buwama- Mpigi. 

OBUMALIRIVU, okusalawo n’okumanya ky’oyagala gwe musingi omuntu gw’alina okuzimbirako ssinga aba ayagala okulima n’afunamu.

Bino by’ebigambo Francis Kawuki 39, omutuuze w’oku kizinga ky’e Ssenyondo mu muluka gw’e Bunjakko mu ggombolola y’e Buwama mu disitulikiti y’e Mpigi bye yatandikiddeko bwe nabadde ntandika okunyumya ku mboozi y’obulimi bw’ebitooke ne kooko by’alimye emyaka ena egiyise.

ENTANDIKWA YA FAAMU

Kawuki agamba nti, mu kusooka alina ekitongole kye yali akolera kyokka n’ayagala bwe yabasaba okumwongeza ku musaala bakama be ne bagaana.

Bwe yalaba ng’omusaala tegukyasobola kumuyimirizaawo kwe kusalawo okunoonya omulimu ogunaamuwa omusaala ogwegasa, bwe gwabula n’ayingira obulimi. Mu ntandikwa nasooka kulima naanansi wabula nga abakozi be nalina tebasobola kukola okutuuka ku mutindo gwe nali njagala, nayagala okukyusa mu kirime naye ng’ettaka lintemawa.

Oluvannyuma nagenda ewa jjajja ne mmusaba okumpa ku kibira kye nnimireko kubanga yalina ettaka ddene.

Jjajja okunzikiriza okulima ku kibira kye yandagira okunoonya ebirime ebisobola okubeera n’emiti eminene kubanga ye yali tayagala kusanyaawo kibira kye.

Mu mbeera eno nakola okunoonyereza ku birime, era okukkakkana nga nsazeewo kutandika kulima bitooke, bino oluvannyuma nabigattako kooko ate naye akola bulungi ate n’emiti gya jjajja ne ngitaasa era mwegiri.

 awuki ku ddyo nomu ku bayambi be nga balaga kooko akuze Kawuki (ku ddyo) n’omu ku bayambi be nga balaga kooko akuze

 

EBIKA BY’EBITOOKE BYALIMA

Nsinga kulima ebika okuli Kisansa, Nakitembe ne Mpologoma, kuba ebika bino bigumira embeera y’obudde naddala omusana, wadde Mpologoma tagumira musana naye akola bulungi mu nkuba kuba assa enkota nnene naddala mu mbeera ng’omwanguyidde okumuwa ebigimusa.

OBUYIIYA

Ebisiikirize na birekamu lwa kigendererwa kubanga byonna bye nnima okuli ebitooke ne kooko byetaaga ebisiikirize kale ne nkiraba nga kya magezi okubirekamu kiyambe ebirime byange obutakosebwa nnyo musana ate nga bisigala bifuna ekitangaala ng’eno bwe nkuuma n’obutonde bw’ensi.

Ekirala mpalana nnyo omuddo, si kyangu kugusanga mu nnimiro yange. Kino kiyamba ebitooke obutalwanira bugimu na muddo olwo ne nsobola okufunamu enkoto nga nnene.

Mu ngeri y’emu nakiraba ng’okuleka ensukusa ennyingi ku kitooke kikosa obunene bw’amatooke bwe bissa, kwe kusalawo okuttira ebitooke nga ndeka endu bbiri ku buli kikolo, kino kitegeeza nti ekitooke kiba kisobola okussa enkota ennene obulungi, kuba nkozesa nkola ya maama, omwana n’omuzukkulu.

LWAKI WASALAWO KULIMA BITOOKE

Ebitooke bivaako emmere ate nga mu ngeri y’emu bivaamu ne ssente, kino kikulu okulima ekintu nga naawe okirya, ekirala amatooke tegabulwa katale ekiseera kyonna, wadde bbeeyi emanyi okukkamu naye akatale kasigala weekali okutuusa bbeeyi lw’erinnya.

Ebitooke byanguwa okussa Kawuki (ku ddyo) n’omu ku bayambi be nga balaga kooko akuze.

nga mu mwaka gumu n’emyezi esatu omuntu eyasimba ekitooke kiba kissa, ate buli mwaka ne kikuwa enkota ssatu ssinga oba olima mu nkola ya maama, omwana n’omuzzukulu, ekitegeeza nti buli mwaka kikolo kisobola okukuwa enkota ssatu ate olusuku ne luwangaala emyaka egisoba mu 10 okusinziira ku ndabirira, awo oba okyatoma ki?

Ekirooto kyange kyali kyakuba na kibira kya kooko ate nga kooko ayagala nnyo ekisiikirize kale kwe kusalawo okusimba ebitooke bikole ekisiikirize ate nga bw’afunamu n’ensimbi ezikola emirimu emirala.

 awuki ngalaga emmwaanyi zalima okwongereza ku nnyingiza Kawuki ng’alaga emmwaanyi z’alima okwongereza ku nnyingiza.

 

OBUNENE BWA FAAMU

Ettaka kwe nkolera liriko yiika 170 wabula nga nze njagala kukozesaako yiika 150 nga mmaze okutereeza buli kye njagala. Ku zino nsuubira okusimbako emiti ku yiika 100 ate yiika 50 nga mmere.

Ebitooke by’atemako amatooke biri ku yiika 15, wabula nnina n’ebito ebitannatandika kuvaako mmere ku yiika 10. Njagala okuba n’ebitooke yiika 30 obutasukka myaka ebiri okuva kati.

Ate kooko kati nnina yiika 10 naye era nkyasimba kuba njagala yiika 100 eza kkooko gye bujja.

Kale abantu abamu banneesiimisa nga bagamba nti nnina ennimiro nnene naye ate nze ndaba ago gakyali mabaga.

Okusobola okutambuza faamu eno, ngezaako okukuuma enkolagana ennungi n’abakozi bange kinnyambe okulabirira ffaamu eno.

Omukozi buli lw’omukwata obulungi naye akozesa maanyi wabula buli bw’omuyisa ng’ekisolo aba tasobola kuwaayo kyonna okukkakkana nga faamu egudde.

Kyokka era omukozi alina okumanya enjawulo ye ne mukama we n’amanya ne w’alina okukoma, eyo ye bizinensi.

Wano ntambulira ku njogera egamba nti, ‘Ebigere kye kigimusa ekisooka’ noolwekyo obudde bwange obusinga mbumala mu nnimiro, era kizibu omukozi okunjiiya ng’enjogera y’ennaku zino bw’eri kubanga buli kimu mba mmanyi bwe kitambula.

OKUKOLA SSENTE

Ssente eziva mu lusuku zimmala okusasula abakozi ne nfissaako ezikola emirimu emirala.

Agamba nti, ku nkuba ntema enkota z’amatooke 100 nga buli nkota ngitunda 10,000/- n’okudda waggulu. Olw’okuba mu bitooke mulimu kooko, mu kifo kya yiika okugisimbamu ebitooke 450 nasimba 400.

Kati okukola ssente mbala ebitooke 350, ekitegeeza enkota 350 buli mu yiika 15 ntema 52,500 nga bwentunda 10,000/- mba nfuna obukadde 52.

Ate ku kyeya ntema enkota 50 ku 75 wabula nga enkota ngitunda 10,000/- n’okudda waggulu ku mugogo, okusinziira ku bunene bwalyo.

Kino kitegeeza nti nfuna ssente ezitakka wansi wa bukadde bubiri buli mwezi. Ng’oggyeko okutunda amatooke ate ntunda n’ensukusa nga buli emu tekka wansi wa 1,000/-.

OKUYAMBA ABALALA

Faamu eno eyamba abantu abalala kuba nninako abakozi 6 nga bano tebavaawo, buli omu mmusasula 150,000/- buli mwezi kale nga okubaawo kwayo kwa mugaso eri abalala.

Mu ngeri y’emu abantu bangi bajja wano okusobola okubaako bye bayiga naddala engeri gye balima ebitooke ate nga bwe bakuuma obutonde bwensi, abalala mbaguza endu z’ebitooke n’amatooke nabo ne bagenda ne basimba n’okukola ssente.

OKWONGERAKO OMUTINDO

Essaawa eno amatooke ngatunda nga naakagatema ku mugogo era mu njogera ennyangu sirina kye nyongerako.

Wabula ate ye kooko mmwanika okusobola okumutunda nga omutindo gweyongeddeko.

Ono nsooka kumuyisa mu mitendera gy’okukatuuka okumala ennaku musanvu, bw’aba amaze okukaatuuka ne ndyoka mmwanika bw’akala olwo ne ntunda nga mu kiseera kino kkiro enkalu egula 9,500/-.

Wabula nnina essuubi nti gye bujja kooko nja kutandika okumukolamu wayini ne cokoleeti mbeere nga mmufunamu ku ssente eziwera.

ENDU N’ENDOKWA ZA KOOKO

Endu z’ebitooke nzifuna okuva mu kkampuni ya AGT e Buloba kuba baba n’ebitooke ebissa amatooke amanene, ssinga oba ogalabiridde bulungi. Ekirala oba mukakafu ng’ogula nti obulanga buno tebuliimu bulwadde bwonna, bubufuna butuuse mu nnimiro.

Ate zo ensigo za kooko nzifuna okuva e Bundibugyo kuba kino ky’ekimu ku bitundu mu Uganda gye basinga okulima kooko.

 awuki ngalaga ensigo za kooko gwakungudde Kawuki ng’alaga ensigo za kooko gw’akungudde

 

OKUKUUMA OBUTONDE BW’ENSI

Obutonde bw’ensi nkitwala nga kyamakulu era nfuba okulaba nga mbukuuma, kuba nkimanyi bulungi obulimi bwange okusinga bukyayimiridde ku nkuba ate awatali butonde enkuba oba ogisiibudde.

Sitema miti kugimala mu nnimiro era we njogerera nkakasa nga mu Uganda nze omu ku bantu abalina ennimiro mu kibira nga abamu bwe batera okwogera.

Ekirala nsimba emiti emipya kuba nasimba kalittunsi okwetooloola ettaka lyaffe lyonna emiti egisukka mu 2000.

Mu kukola kino nali nkola lukomera okubugiriza ettaka lyaffe ate mungeri y’emu nga bwe nkuuma obutonde bw’ensi.

Ebyo nga bikyali awo me kooko yennyini miti era nga jjajja bwe yayagala ekibira kye nange nasalawo okusimba ekibira ate nga bwe nfunamu ssente.

AKATALE

Akatale kanene ddala era siyinza kukamalawo. Amatooke ngatundira waka sigatwala mu katale oba mu bibuga.

Ekirala ab’emikolo wano nze abakoowa kuba kumpi buli wiiki wabaawo abaagala emmere ey’emikolo, kuba oludda luno teri nnyo balimi b’amatooke era kino ngenze nkiteekamu amaanyi abantu abalala nabo batandike okugalima.

Olw’okuba akatale kanene y’ensonga lwaki njagala okwongerako olusuku olwo ndowooza lwe naagezaako okuwa bakasitoma bange emmere ebamala.

Ye kooko aba kkampumi ya Agro Sunshine Projects be bamutwala, bano nabo batwala obungi bwonna omuntu bw’aba nabwo.

OKWERINDA AKATYABAGA

Embuyaga kimu ku bintu ebikoz- Kawuki ng’alaga emmwaanyi z’alima okwongereza ku nnyingiza. esa loosi mu bitooke wadde nga kirabika nga eky’olusaago, nfuba okulaba nga nzizika ebitooke ne bitagwa nga kibuyaga azze.

Ebiwuka nga kayovu sibirina olw’okukuuma obuyonjo, ne kiwotokwa mbadde sinnaba kufuna buzibu buli awo. Wabula nfuba okubyerinda.

Ekyeya ekitera okugwiira abalimi nakyo katyabaga kanene wabula njagala kutandikawo nkola ey’okufukirira, nga ku ssente ze ntereka njagala omwaka ogujja okuteeka amazzi mu nnimiro yonna.

BBANKA ZIKWESIGA ZIYINZA OKUKUWOLA?

Mbadde sinnabeerako mu mbeera egenda mu bbanka oba SACCO okwewola, naye okusinziira ku bye nnina sirowooza nti nsobola okuleeta omuwozi yenna ku faamu yange n’agaana okumpola kubanga aba alaba ssente ze we zijja okuva ziddeyo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabaka 220x290

Mayiga atongozza olukiiko olutegeka...

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga alagidde akakiiko akagenda okutegeka olunaku lw’abantu ba Kabaka ababeera ebweru...

Lab1 220x290

Omusolo gutabudde aba Takisi bakubaganye...

Omusolo gutabudde aba Takisi bakubaganye katono battingane!

Mariach5 220x290

MC Mariach akiggadde! Kabiite we...

MC Mariach akiggadde! Kabiite we Mirembe Lydia Bogere amwanjudde mu bakadde be

Kaba 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO AFULUMYE...

Tukulaze ebyakoleddwa okumatiza amagye okuyimbula muka Mugabe. Ate agenda okusikira Mugabe bamulagidde annyonnyole...

Mak1 220x290

Buganda esiimye emirimu gya AD...

Obwakabaka bwa Buganda busiimye emirimu gya AD Lubowa